Anita Beryl
Anita Beryl yazaalibwa 11 Ogusooka 1986 munayuganda munnabyamisono era omutandisi w'emirimu. Muyiiya wa byamisono ebya Beryl Qouture, Ugandan Fashion House. Magazini eyitibwa Satisfashion Uganda,yalonda Beryl ng'omu ku "The 40 Movers and Shakers of 2016", mu Ogwe kumineebiri 2016.
Obulamu bwe obwasooka n'obuyigirize
[kyusa | edit source]Anita yazaalibwa Rev. ne Muky. Ahabwe ow'omu disitulikiti eye Bushenyi, era ye mwana asooka ku baana mukaaga bwebazaalibwa abafumbo bombi. Yasomera ku Bweranyangyi Girls fku daala erya ne A-level n'avaayo mu 2005. Oluvannyuma yeegatta ku Uganda Christian University, Mukono, okufuna diguli esooka mu by'enjigiriza mu 2009. Yafuna okutendekebwa kwe okwasooka mu by'emisono mu Uber Glam, mu Johannesburg, South Africa, nga tanaeegatta ku French Fashion University, ESMOD.
Omulimu gwe
[kyusa | edit source]Mu 2011, yatandikawo Beryl Quoture By Anita Beryl, ng'omutendesi wa Haute Qouture era nga mwetegefu okwambala engoye n'ebigenderako nga bya buli kikula. Ekitongole kye kyayitibwa okwenyigira mu misono ku mitendera egy'ensi yonna egy'omuggwanga, ebitundu awamu n'egy'ensi yonna omuli "Accra Fashion Week", mu Ghana ne "Swahili Fashion Week" mu Tanzania, mu 2016 mwokka. Mu 2017, yayitibwa okulaga emisono gye mu World Fashion Week 2017, mu Kuala Lampur, Malaysia. Abasuubuzi be beeyongera okugaziwa mwe muli abasuubuzi mu Uganda, Kenya, Tanzania, South Africa, United Kingdom n'amawanga amalala.[1][2] Era yalaga ebifaananyi bye mu firimu z'engoye mu Nigeria, Addis Ababa, Barcelona ne Mombasa.
Emizannyo gy'okwambala
[kyusa | edit source]Omwaka | Emizannyo gy'okwambala | Ekifo |
---|---|---|
2019 | East African Wedding Show | Kigali, Rwanda |
2018 | Swahili Fashion Week | Dar es Salam, Tanzania |
Abryanz Style and Fashion Awards 2018 | Kampala, Uganda | |
Africa Fashion Week | Barcelona, Spain | |
Abryanz Fashionpreneur Summit | Kampala, Uganda | |
Malengo Hot Pink Catwalk | Kampala, Uganda | |
2017 | World Fashion Week | Kuala Lumpur, Malaysia |
2016 | Paple Rayne Fashion Show | Kampala, Uganda |
Ebirabo n'okusiimibwa
[kyusa | edit source]Omwaka | Okusiimibwa |
---|---|
2018 | Omuwanguzi w'ekirabo, eky'omulazi w'emisono ekya Fashion Designer Chamber of Young Entreprenuers |
Yafuna ekirabo, ey'ekibinja ekya FashionCategory for the Young Achievers Awards | |
2017 | Yaliko ku CNN's African Voices |
Yafuna ekirabo ekya Fashion Designer of the Year ku Pearl of Africa Fashion Awards | |
2016 | Omuwanguzi w'ekirabo kya Outstanding Fashion Designer of the year, ku Uganda Entertainment Awards |
Yafuna ekirabo ekya Fashion Designer of the Year(Uganda) ku Abryanz Style & Fashion Awards |
Ebyawandiikibwa
[kyusa | edit source]Enkolagana ez'ebweru
[kyusa | edit source]- Ebifaananyi: Uganda Anita Beryl Akyaala mu Fashion Week mu Barcelona Nga 11 Ogwomusanvu 2017.