Annette Nkalubo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Colonel Annette Nkalubo, munayuganda omukulu mumagye g'eggwanga. Ye munnamagye ow'okubiri ku ntikko mu Uganda People's Defence Forces (UPDF).

Okusoma[kyusa | edit source]

Nkalubo alina diguli esooka mu mateeka okuva mu yunivaasite eye Makerere, era alina ne Dipulooma mu Legal Practice okuva mu Law Development Centre, nayo mu Kampala.

Omulimu gwe[kyusa | edit source]

Nkalubo, ng'ali ku mutendera ogwa lieutenant, yaweerezako ng'omubaka wa palamenti, akiikirira UPDF mu palamenti ey'omukaaga (1996 okutuuka mu 2001). Mu Ogw'ekkumi 2008 yasukulumizibwa okuva ku mutendera gwa Major okutuuka ku lieutenant colonel. Mu 2010, ng'alina ekifo kya lieutenant colonel, yaweerezako mu kitongole ky'amawanga amagatte. Mu Ogw'Okusatu 2011, Annette Nkalubo, ng'ali ku kifo ekya lieutenant colonel, yaweerezako nga dayirekita w'ensonga z'abakyala mu UPDF. Mu Ogwasooka 2013, yasumuusibwa okuva ku lieutenant colonel okudda ku colonel, n'afuuka omukyala omukulu ow'okubiri mu magye, ng'agoberera Major General Proscovia Nalweyiso.

Ebirala bye balowoozaako[kyusa | edit source]

Mu Ogw'Owokusatu 2011, y'omu kubalondebwa ku "Uganda's Top 50 Women Movers", mu kiseera ekyo.

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijulizidwa[kyusa | edit source]


Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]