Proscovia Nalweyiso

Bisangiddwa ku Wikipedia

Proscovia Nalweyiso, munnamagye omukulu mu Uganda People's Defence Forces (UPDF). Ku mutendera ogwa lieutenant general, ye mukulu w'abakyala, mu magye g'eggwanga.

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Ogwomukaaga 1954, mu disitulikiti y'e Mpigi, mu maka agalimu abaana 20. Mu 1979, yatandika okukola ng'omusomesa w'essomero n'omuwandiisi mu kitundu ky'ewaabwe. Mu kiseera kye, yafuuka omukulembeze w'ekibiina kya Uganda Democratic Party.[1][2]

Oluvannyuma lw'okulonda kw'eggwanga lya Uganda mu 1980 n'okutondebwawo kw'eggye erya National Resistance Army (NRA), Nalweyiso yeegatta ku baserikale mu kibira mu 1982.

Emirimu gye egy'amagye[kyusa | edit source]

Mu 1983 ekibinja ky'abakyala mu NRA kyatandikibwawo era Nalweyiso yalondebwa okuba omuduumizi waakyo. Omwaka ogwaddirira, ekibinja kyasengulwa okuva mu Luweero District mu Central Uganda, okudda mu Western Uganda.

Mu 1985, ekibinja Nalweyiso kye yali akulira, kyayingira amagye aga NRA agaalumba ekkuumiro ly'amagye ery'e Mbarara. Oluvannyuma lw'okusindikibwa okwo, ekitongole kya NRA Women's Wing kyatuula mu Fort Portal okutuusa olutalo lwe lwaggwa mu 1986.

Mu 1986, NRA bwe yafuna obuyinza, Nalweyiso yaweebwa ekifo kya kapiteeni era n'alondebwa okuba omuduumizi w'ekibinja ky'abakyala 800 mu magye, mu kiseera ekyo. Yatandika okulinnya mu bifo era mu mwaka gwa 2000 yali mu kifo kya lieutenant colonel.

Okumala emyaka egisukka mu kkumi nga tannafuuka Major General, yakolako mu Uganda State House ng'omuyambi era omwogezi w'amagye owa pulezidenti wa Uganda.

Mu Gwokubiri 2019, mu kutongozebwa okwaliko abasajja n'abakazi abasukka mu 2,000 okuva mu UPDF, yakuzibwa okuva ku mutendera gwa Major General okudda ku Lieutenant General.

Obuntu bwe[kyusa | edit source]

Mu 1974, ng'akyali mulamu, Nalweyiso yafumbirwa omuserikale. Oluvannyuma yayawukana n'omwami we. Ye maama w'abaana bana.

Laba era[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named About
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named Rank

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]