Jump to content

Annie Logiel

Bisangiddwa ku Wikipedia
Annie Logiel
Yazaalibwa 27, Ogwokusatu,1968
Yafa 14, Ogwokubiri, 2017
Gyebaamuziika Ku kyalo kye Nakapelimen, mu Ggombolola y'e Nadunget, Disitulikiti y'e Moroto
Eggwanga lye Munnayuganda
Gye yasomera Lotome Girls Primary School

Kangole Girls Secondary School

Gye yasomera Kampala International University

Nsambya Nursing Training School and Health Administration and management University of Copenhagen

Omulimu gwe munnabyabufuzi, munnamateeka, ate omusawo omutendeke
Ekibiina ky'eby'obufuzi National Resistance Movement
Baawe Eric Joe Logiel
Abaana 2







Annie Logiel yazaalibwa 27 Ogwokusatu, 1968.[1][2] Yali Munnayuganda, munabyabufuzi, naansi omutendeke, ng'era yeeyatandikawo ekibiina kya Karamoja Traditional Healers Association ekyali kijanjaba abantu nga kiyita mu dagala ly'ekinaansi,[3]era omubaka omukyala eyali akiikirira Moroto mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi wansi w'ekibiina kyeby'obufuzi ekya National Resistance Movement .[4] Yalondebwa mu mwaka gwa 2016 wabula naafa mu mwaka gwa 2017.[4] Yafiira kumyaka 48 mu ddwaliro lya Rigshospitalet mu kibuga Copenhagen ekisangibwa mu Denmark gye baali baamutwala okulongoosebwa ekizimba eky'okubwongo.[4][5]Aba Famire banyonyola nti yalongosebwa bulungi, wabula oluvannyuma n'afunamu obuzibu obw'amuviirako okufa.[4]

Siniya yagisomera ku Kangole Girls nga yagimaliriza mu 1986 ne Lotome Girls Primary School gyeyatuulira P.7 (PLE) mu mwaka gwa 1982.[4] Alina diguli mu by'obusawo oba mu by'okubeera naansi gyeyatikirwa okuva kutendekero lya Kampala International University, mu 2014.[4] Alina ne dipulooma endala bbiri mu bwa nnaansi n'okuzaalisa okuva mutendekero lya Nsambya Nursing Training School and Health Administration and Management. Yafuna ne diguli ey'okubiri mu by'obulamu munsi yonna eya master's degree in International Health gye yafuna okuva kutendekero lya University of Copenhagen mu Denmark.[4]

Eby'afaayo mu by'obufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Logiel yali mu kisanja kye ekyali kisooka ng'omubaka mu Paalamenti ey'ekkumi.[4] Nga tanaba kwegata ku Paalamenti, Logiel yeeyali akulira pulojekiti ya Karamoja Indigenous and Modern Health project okuviira ddala mu mwaka gwa 2008 okutuusa mu 2016.[4][2] Yaweerezaako ng'omusawo omukugu mu ddwaliro lya Moroto Regional Referral Hospital wakati wa 2006 ne 2008.[4] Yeeyali omumyuka wa ssentebe w'akakiiko ka Paalamenti akaali kavunaanyizibwa ku by'obulamu, era nga mmemba ku kakiiko akalwanyisa ekirwadde kyamukenenya mu Paalamenti.[2]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Yaleka bamulekwa babiri okuli omulenzi nomuwala.[4][2] Yali yafumbirwa Eric Joe Logiel.[6] [2] Museveni yeeyama okutuukiriza ebyeetaago by'esomero eby'abaana ba Logiel.[6]

Mu kaseera ke ak'okufa, Logiel yali ayamba ku bayizi abawera 101 ku 106 mu bitundu kitundu kye ng'ayita mu nkola ya basale gye yali yatandikawo mu Moroto.[2][7] Ku bano, kwaliko abaana bbe ababiri, abeenganda zze 12, abantu b'omu kitundu 87 abaali ku mitendera egy'enjawulo mu okusoma kwabwe. Mu bano, munaana baali basoma kufuna diguli, 20 baali basoma koosi za dipulooma, 16 nga basoma satifikeeti. Waaliwo n'abayizi 10 abaali mu S.6, 41 nga bali mu S.4, bana nga bali mu pulayimale, ate omu ng'ali mu nnassale.[2]

Annie yaziikibwa ku Sande mu maka g'abajjajja bbe ku kyalo ky'e Nakapelimen, mu Ggombolola y'e Nadunget mu Disitulikiti y'e Moroto ku luguudo lw'e Moroto okudda e Soroti.[2][7]

Ebijuliziddwaamu w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Moroto Woman MP, Annie Logiel Dies in DenMark". Western Uganda's Biggest radio. 2017-02-14. Archived from the original on 2023-03-21. Retrieved 2021-04-04.
  2. 1 2 3 4 5 6 7 8 URN. "Fallen Moroto Woman MP was supporting 101 students". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2021-04-04.
  3. Eninu, Olive Nakatudde and Edward. "Moroto Woman MP Annie Logiel Dead". Uganda Radio Network (in Lungereza). Retrieved 2021-04-04.
  4. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 "Annie Logiel Was a Mother Figure - MPs :". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2021-04-04.
  5. "MP Logiel dies in Denmark due to brain tumor complications". Capital FM (in American English). 2017-02-14. Archived from the original on 2017-06-26. Retrieved 2021-04-04.
  6. 1 2 https://chimpreports.com/museveni-pledges-to-meet-education-needs-of-fallen-mp-logiels-children/
  7. 1 2 "Parliament bids MP Logiel farewell". Daily Monitor (in Lungereza). Retrieved 2021-04-04.