Jump to content

Apac

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Apac

Apac kibuga mu Disitulikiti y'e Apac mu Bukiikakkono bwa Uganda .KYe ‘kibuga ekikulu’ mu disitulikiti eno era nga n'ekitebe kya disitulikiti kisangibwa eyo. Disitulikiti eno yatuumibwa erinnya ly’ekibuga. [1]

Ekifo wesangibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Apac esangibwa mu kilometres118 (73 mi), ku luguudo, mu bukiikaddyo bwa Gulu, ekibuga ekisinga obunene mu Bukiikakkono bwa Uganda. [2] Ekifo kino kiri mu kilometres 62(39 mi), ku luguudo, mu bukiikaddyo bw’amaserengeta ga Lira, ekibuga ekisinga obunene mu kitundu kya Lango . [3] Ensengeka z'ekibuga kino ku maapu ze zino:1°59'06.0"N, 32°32'06.0"E (Latitude:1.9850; Longitude:32.5350). [4] Apac Municipal Council esangibwa ku buwanvu bwa 3,540 feet (1,079 m) waggulu w’obugulumivu bw’ennyanja obutuufu . [5]

Obungi bw'abantu

[kyusa | kolera mu edit source]

Okubala abantu mu mwaka gwa 2002 kwatebereza nti abantu mu kibuga kkino baali bakunukiriza 10,140. Ekitongole ky'ebibalo(UBOS) mu gwanga kyalaga nti mu mwaka gwa 2010 omuwendo gw'abantu mu Apac gwali gukunukiriza 13,300. Mu mwaka gwa 2011 wakati, UBOS yatebereza nti omuwendo gw'abantu gwali gukunukiriza 13,700.[6]

Okubala abantu mu mwaka gwa 2014 kwalaga nti abantu mu Apac baali baweza omuwendo gwa bantu 14,972. Mumwaka gwa 2024 omuwendo gw'abantu mu munisipaali ya Apac gwali 49,593.[7]  

Ebintu ebikwata ku nsonga eno

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebifo bino wammanga ebikulu biri mu kibuga oba okumpi n’ensalo z’ekibuga: (a) ekitebe kya Apac District Administration (b) ofiisi za munisipaali ya Apac(c) Eddwaliro ekkulu mu Apacl, eddwaliro lya gavumenti ery’ebitanda 120, eriddukanyizibwa minisitule y’ebyobulamu eya Uganda (d) Alenga Primary School, essomero lya gavumenti erya pulayimale ku njegoyego z’ekibuga (e) Apac Central Market, . gyebatunda ebintu by'okozesa ebyabulijjo (f) Oluguudo lwa Rwekunye–Apac–Aduku–Lira–Kitgum–Musingo Oluyita mu kibuga mu kudda olw’amaserengeta okudda ebuvanjuba olw’awamu. [8]

Abantu ab’amaanyi

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://ugandaradionetwork.com/story/excitement-as-apac-municipality-becomes-operational
  2. https://www.google.com/maps/dir/Apac/Gulu/@2.2765066,32.3327001,100399m/data=!3m1!1e3!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177a7a76e6cce0fd:0xe9be115d131577fc!2m2!1d32.5344456!2d1.9850906!1m5!1m1!1s0x1771a65c0fc42a27:0xce6ef3d1c3d80e06!2m2!1d32.2880726!2d2.7724038!3e0
  3. https://www.google.com/maps/dir/Apac/Lira/@2.1407388,32.4201562,10z/data=!4m15!4m14!1m5!1m1!1s0x177a7a76e6cce0fd:0xe9be115d131577fc!2m2!1d32.5344456!2d1.9850906!1m5!1m1!1s0x1770b09fcc01830f:0xddfcd30f83eb2797!2m2!1d32.8874067!2d2.2580829!3e0!5i2
  4. https://www.google.com/maps/place/1%C2%B059'06.0%22N+32%C2%B032'06.0%22E/@1.985,32.535,15z/data=!3m1!4b1!4m2!3m1!1s0x0:0x0
  5. https://apacmc.go.ug/our-profile/
  6. Uganda Bureau of Statistics (2012). "Estimated Population of Apac In 2002, 2010 And 2011" (PDF). Uganda Bureau of Statistics. Archived from the original (Archived from the original on 7 July 2014) on 7 July 2014. Retrieved 23 July 2021.
  7. https://www.citypopulation.de/en/uganda/cities/
  8. https://www.google.co.ug/maps/place/1%C2%B059'05.0%22N+32%C2%B031'59.0%22E/@1.9849115,32.5311643,522m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d1.9847222!4d32.5330556

Ebiyungo eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]