Jump to content

Apollo Makubuya

Bisangiddwa ku Wikipedia

  

Apollo Makubuya
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga1960s Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waUganda Kyusa Wikidata
Omulimumunnamateeka Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raUniversity of Cambridge, Ssettendekero wa Makerere Kyusa Wikidata

Apollo Nelson Makubuya munnamateeka omutendeke era omuwandiisi munnayuganda, ng'akola nga ssentebe w'olukiiko olukulembera ku Equity Bank Uganda Limited emu ku zi bbanka za Uganda ez'ebyobusuubuzi.[1] Yalondebwa ku kifo ekyo mu Gwokusatu mu 2017.[2]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Makubuya yazaalibwa mu Uganda mu gy'ekaaga 1960. Oluvanyuma lw'okusomera mu masomero ga Pulayimale ne Siniya aga wano yaweebwa ekifo ku Bbanguliro ly'amateeka erya Yunivasite y'e Makerere, gye yafunira Ddiguli esooka ey'amateeka. Yeeyongerayo okufuna dipulooma mu by'amatteeka okuva mu ttendekero lya Law Development Centre, erisangibwa mu Kampala ekibuga kya Uganda ekikulu. Oluvannyuma yakkirizibwa okuwoza emisango mu kkooti za Uganda nga puliida. Oluvannyuma yafuna ddiguli eyokubiri mu by'amateeka okuva mu University of Cambridge, mu Bungereza.[3]

Apollo Makubuya y'omu ku bannamatteeka ba kkampuni ya MMAKS Advocates, kampuni y'amateeka ey'amaanyi esangibwa mu Kampala, Uganda. Era mmemba w'akakiiko akawabuzi ku Kampuni era aweereza ng'omu ku bannannyini abaddukanya kampuni ya MMAKS Advocates.[3]

Alina obumanyirivu obugazi mu kisaawe ky'amateeka g'ensi yonna agakwata ku ddembe ly'obuntu . Awabula zi bbanka, kkampuni ezisima eby'obugagga ebyomuttaka, Bamusiga Nsimbi ku aba wano ne mu nsi yonna ku nkolagana mu mirimu , amateeka g'ebyobusuubuzi n;ensonga z'emisolo.[3]

Nga tannatandika kukola yekka, yali muwabuzi ku by'amateeka ku bbanka ey'obwannanyini. Era yaweerezaako ng'omumyuka w'akulira ekitongole ki Financial Sector Adjustment Credit (FSAC) ekitondole mu Bank of Uganda bbanka y'eggwanga enkulu. N'era yaweerezaako ng'eyeebuuzibwako ku ddembe ly'obuntu, enkulaakulana n'amateeka agafuga enkoloagana yebitongole n'amakampuni n'akakiiko ka Uganda ak'eddembe ly'obuntu, DANIDA ne UNDP.[3]

Apollo Makubuya yali mufumbo n'omugenzi Stella Nansikombi Makubuya (wakati wa 11 Ogwekuminogumu 1967 – 5 Ogwomwenda 2018), munnamateeka munne era omulwanirizi w'eddembe ly'abakyala. Bombi bazadde ba baana basatu ab'obuwala (a) Athena Mulungi Nakku (b) Angela Kitiibwa Nakimuli ne (c) Andrea Kwagalakwe Nabakka.[4] Mufumbo ne Anne Juuko, akulira Stanbic Bank Uganda Limited, okuva Ogwoluberyeberye 2022.[5][6]

Ebirala eby'okulowoozaako

[kyusa | kolera mu edit source]

Apollo Makubuya era akola ng'omuwi w'amagezi omukulu ku nsonga z'olubiri eri Kabaka wa Buganda obwakabaka obuli mu mateeka,nga ye Ronald Muwenda Mutebi II mu kiseera kino .Yalondebwa ku kifo ekyo mu Gwokubiri 2019, oluvannyuma lw'okuweereza ng'omumyuka wa Katikkiro wa Buganda Owokusatu, Minisita w'obwenkanya n'ensonga za Ssemateeka ne Ssaabawolereza.[7][8][9]

  • Yawandiika ekitabo, 'Protection, Patronage, or Plunder? Imperial Machinations and (B)ugandas Struggle for Independence.[10]

Kaweefube w'okulwanyisa obufuzi bw'amatwale

[kyusa | kolera mu edit source]

Makubuya amanyiddwa nnyo mu kulwanyisa obufuzi bw'amatwale mu Afirika era mu Gwomukaaga nga 25,2020 yatwala ekiwandiiko eri Sipiika wa Paalamenti nga kiriko emikono gy'abantu 5,200 nga basaba okuggyawo ebintu byonna ebirina amannya g'abafuzi b'amatwalwe n'addala enguudo, ebibumbe, n'ebirala ebyongera okulaga omukululo omubi ogw'okufugibwa omuli okuwambibwa, okufugibwa, okubba eby'obugagga, okukozesebwa n'obwa nantagambwako bw'abafuzi b'amatwale.[11][12]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ Dispatch Uganda (3 August 2018). "Equity Bank marks 10 years in Uganda". Kampala: Dispatch Uganda. Retrieved 25 February 2019.
  2. ↑ Kamau, Macharia (20 March 2017). "Equity Bank prepares for Munga exit as it appoints new directors". The Standard (Kenya). Nairobi. Retrieved 25 February 2019.
  3. 1 2 3 4 Africa Legal Network Uganda (2016). "MMAKS Advocates: Apollo Makubuya: Partner". Kampala: Africalegalnetwork.com. Retrieved 25 February 2019.
  4. ↑ Mazinga, Mathias (17 September 2018). "Nansikombi Laid to Rest As Tributes Flow". New Vision. Kampala. Retrieved 25 February 2019.
  5. ↑ New Vision (24 August 2022). "Stanbic Bank CEO engaged to Lawyer Makubuya". New Vision. Kampala, Uganda: The New Vision Printing and Publishing Company Limited. Retrieved 24 February 2022.
  6. ↑ New Vision (14 March 2022). "Stanbic Bank CEO, lawyer beau flaunt love at Rotary event". New Vision. Kampala, Uganda. Retrieved 14 March 2022.
  7. ↑ The Independent (24 February 2019). "Details of Buganda cabinet reshuffle". The Independent (Uganda). Kampala. Retrieved 25 February 2019.
  8. ↑ Kabengwa, James (24 February 2019). "Kabaka goes for full-time cabinet". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 25 February 2019.
  9. ↑ Namutebi, Victoria (22 February 2019). "Buganda King Reshuffles Cabinet". New Vision. Kampala. Retrieved 25 February 2019.
  10. ↑ Amazon. Protection, Patronage, or Plunder? Imperial Machinations and (B)ugandas Struggle for Independence. ISBN 1527513459.
  11. ↑ Bamulanzeki, Nicholas (1 July 2020). "Will Makubuya's drive on decolonisation bear fruit?". Observer Media Ltd. Observer. Retrieved 21 February 2022.
  12. ↑ Bhalla, Nita. "Ugandans Join Global Push to Rename Colonial-Era Landmarks". Global Citizen. Thomson Reuters Foundation. Retrieved 21 February 2022.