Jump to content

Asuman Kiyingi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Asuman Kiyingi Munnayuganda, Munnamateeka era Munnabyabufuzi. Ye yali Minisita omubeezi ow'emirimu mu Kabineeti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo ekyo nga 1 Ogwokusatu, 2015, nga yadda u bigere bya John Byabagambi, nga ono yali yalondebwa ku kifo kya Minisita w'emirimu n'eby'entambula.[1] Ebyo nga tebinnabaawo, okuva nga 27 Ogwokutaano, 2011 okutuusa nga 1 Ogwokusatu 2015, ye yali Minisita omubeezi ow'ensonga z'ebweru nensonga ezikwata ku bitundu. Yaweebwa ekifo kino nga 27 Ogwokutaano 2011. Yadda mu bigere bya Isaac Musumba, eyasuulibwa okuva ku Kabineeti.[2] Gy'ebyasookera, yali aweereza nga Minisita omubeezi ow;ensonga z'ettaka okuva mu 2009 okutuusa mu 2011.[3] Y'akiikirira Essaza ly'e Bugabula ery'Obukiikaddyo nga eno esangibwa mu Disitulikiti y'e Kamuli, mu Paalamenti ya Uganda. Aweerezza mu kifo ekyo okuva nga 23 Ogwokubiri 2006.[4]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Kamuli nga 27 Ogwekkumineebiri 1963.[5] Yasomera ku Ssettendekero wa Makerere, nga ye Ssettendekero esinga obukulu mu Uganda era yatandikibwa mu 1922. Yafuna Diguli bbiri, Diguli Esooka mu By'amateeka ne Diguli Ey'okubiri mu Mateeka. Alina Dipulooma mu Kukola amateeka era nga eno yagifunira ku ttendekero ly'abannamateeka erya Law Development Center mu Kampala.[5]

Obumanyirivu mu mirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga tannaba kuweebwa kifo mu Kkabineeti ya Uganda mu Gwokubiri 2009,[6] Kiyingi yali akola mu bifo eby'enjawulo ebikola mu mateeka. Yatandika nga omuyambi w'abannamateeka mu kkampuni emu eya bannamateeka esangibwa mu Kampala eyitibwa Ntume, Nyanzi & Company Advocates. Oluvannyuma, yafuna endala mwe yadda nga eyitibwa Mugenyi & Company Advocates. Bwe yali mu kkampuni eyo yakuzibwa nadda ku kifo ky'Omuwolereza. Bwe yavaayo, yafuuka Munnamateeka w'ekibiiina Ky'ekittavvu. Bwe yava eno, yafuuka Munnamateeka w'ekitongole kya National Medical Stores, nga kino kikola ku Kufuna ddagala erikozesebwa mu Uganda. Omulimu gweyasembayo okukola nga tannaba kuyingira by'abufuzi yeeyali Munnamateeka Omuwabuzi ow'ekitongole ekikola ku kukuba ppulaani z'eggwanga.[5] Yalondebwa okuweereza mu Paalamenti ya Uganda mu Gwokubiri gwa 2006, era naanyiza oyo eyaliko Salaamu Musumba ow'ekibiina kya Forum for Democratic Change, nga kino kibiina ekivuganya gavumenti.[7]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Asuman Kiyingi mufumbo. Ali mu kibiina ky'eby'obufuzi ekya National Resistance Movement. Ayogerwako ng'omuntu ayagala ennyo okukuba empawa, okutambula, ebifo awazannyirwa firimu, n'ebyobutontomi.[5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]