Augustine Nshimye
Augustine Nshimye Munnayuganda, mulamuzi era nga memba wa Kkoti ensukulumu mu Uganda okuva mu mwaka 2015. [1]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Emirimu gye yagitandiika mu 1967 nga kilaaka omukulu. Okuva mu 1986 okutuusa mu 1988, yaweereza ng’omumyuka w’omuwandiisi omukulu. Mu 1988, yagenda mu kukola emirimu gy’obwannannyini. [1]
Mu 2008, yalondebwa okuba Omulamuzi wa kkooti ejulirwamu era ekola nga kkooti ya Ssemateeka. Mu 2010, yaweerezaako ng’omulamuzi wa kkooti ensukkulumu okumala akaseera. [1] Yalondebwa mu kkooti ensukkulumu mu Gwomwenda 2015. [1]
Wakati wa 1988 ne 2008, yaliko omubaka mu Paalamenti owa Konsityuwensi y'e Mityana ey'Obukiikaddyo. Era yaweerezaako nga Minisita wa kabineeti ow’emirimu gy'ebitundu mu gavumenti ya NRM. [1]
Obuvunaanyizibwa obulala
[kyusa | kolera mu edit source]Y’omu ku baatandikawo ekibiina ky’ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement . [1] Mu 2015, yalondebwa nga kalabaalaba w'abalamuzi ba Kkooti, obuvunaanyizibwa bw’akola mu kiseera kye kimu n’omulimu gwe mu Kkooti ensukkulumu. [1] [2]