Azawi
| Ekikula | mukyala | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Priscilla | |
| Nickname | Azawi | |
| Yazaalibwa nga | 2 Gwakubiri (Mukutulansanja) 1996 | |
| Gy'azaalwa | Kampala | |
| Native language | Luganda | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza, Luganda | |
| Omulimu | musician, Songwriter, Omuzinyi | |
| Gyeyasomera | Buganda Road Primary School, Mother Kevin Primary School, Lubiri High School, Ssettendekero wa Makerere | |
Priscilla Zawedde (yazaalibwa nga 2 Ogwokubiri 1996) amanyikibwa nnyo nga Azawi, muyimbi-muwandiisi wa nnyimba, omuzinyi era Munnayuganda, ng'ayimbira mu kibiina ya Swangz Avenue eyamuwandiika mu 2019.[1] Ayimba ennyimba ez'ekika kya Afrobeats[2] mu Luganda n'Oluzungu.
Ye Munnayuganda omuyimbi omukyala eyasooka okulabikira ku ntimbe (billboards) okuli eya New York city "Times Square" ne Los Angelos.[3][4]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Priscilla Zawedde yazaalibwa nga 2 Ogwokubiri 1996 mu Kampala. Bakadde be omugenzi Walusimbi Samuel ne Nakamatte Mary. Yasomera ku Buganda road primary mu kusoma kwe okwasooka,[5] oluvanyuma ne yegatta ku Mother Kevin Primary School mu disitulikiti y'e Mukono gye yamalira Pulayimale ye (P.7). Yegatta ku St Henry’s college e Ggangu Masajja, Lubiri secondary school, London college e Nansana, St Janani Luwum secondary school gye yamalira Siniya ey'omukaaga (S.6), gye yava ne yeyongerayo ku Yunivasite y'e Makerere gye yafunira diguli y'esooka mu by'obusuubuzi.[6][7]
Okuyimba kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Emirimu gy'egyasooka
[kyusa | kolera mu edit source]Azawi yatandiika okukola mu 2005 ng'omuzinyi mu kibiina kya Kika dance Group.[5] Baakola omulimu guno nga guluupu mu bifo ebiwerako.Oluvannyuma lw'emyaka ena, yegata ku kibiina kyamazina ekirala ekiyitibwa Crane Performers nga bino byonna yabikola akyali mu ssomero. Oluvanyuma lw'okukizuula nti yali takola bulungi mu ssomero, ebyokuzina yasooka n'abiwummuza. Wabula mu kiseera ekyo yagenda e China enfunda bbiri nga bagenze okw'oleesa n'ekibiina kye.
Omulimu gw'okuyimba
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2011, yatandika okuwandiika ennyimba,[8] mu kusooka yakikolanga nga ekintu kyayagala, nga tanakizuula nti asobola okukyikolamu ssente. Kitaawe yafa mu 2012, n'asigaza obuvunanyizibwa obw'okulabirira maama we ne baganda be babiri, ekyamuleetera okukola omulimu gw'okuwandiika ennyimba n'ekigendererwa eky'okufunamu ssente.[8]
Obukugu bwa Azawi mu kuwandiika ennyimba kwamuleetera okusisinkana n'omuyimbi Eddy Kenzo eyamuyamba okumugatta ku bayimbi abalala. Awandiikiddeko abayimbi okuli Kenzo, Nina Rose, Lydia Jazmine, Carol Nantongo, ne Vinka.[9]
Azawi oluvanyuma yegatta ku bbandi emu ey'abayimbi mu 2015, era nga bwakola ogw'okuweereza mu kirabo ky'emmere ekyali kyakatandikibwawo Maama we.[5]
Oluvanyuma lw'okuva ku mulimu gw'okuweereza mu kirabo ky'emmere, yawandiika oluyimba "Quinamino" n'ekigendererwa eky'okulutunda,[10] wabula bwe yagenda mu Swangz Avenue omulundi gwe ogw'asooka, mu Ogwomunaana 2019, ate gye yafunira omukisa okwegatta ku Kampuni eno ng'omuyimbi.[8]
Okumannyikwa kwa Azawi mu bantu, kwaliwo mu Ogwolubereberye 2020 oluvanyumma lw'okufulumya oluyimba lwe olw'asooka olwa, "Quinamino".[11][12][13]
Mu mwaka gw'egumu mu Ogwekkuminoogumu, abakulira Swangz Avenue baamuwandiika mu butongole. Era yakafulumya oluyimba lwe olw'asooka wansi w'ekibiina kino mu Ogwolubereberye 2020.[14][15] Mu kiseera kino akyali wansi wa Swangz Avenue n'ennyimba ezisoba mu 20.[16]
Ennyimba ze
[kyusa | kolera mu edit source]Entambi z'ennyimba ze
[kyusa | kolera mu edit source]Ezitafulumidde ku ntambi
[kyusa | kolera mu edit source]- Fwa Fwa Fwa
- Party mood
- Gimme
- Craving you heavy
- Bamututte[19]
- Thankful ft Benon
- Majje ft Fik Fameica,
- Slow dancing[20][21]
- Face Me ft A Pass
- Fwa Fwa Fwa
- Ku Kido,
- My Year
- Tubatiisa
- Party Mood
- Nkuchekele ft Eddy Kenzo,
- Love you is easy,
- African Music
- Ache for you.
- Quinamino
- Repeat it
- Lo Fit[22]
- Crazy lover
- Toast to 75
- Mbinyumirwa
- Envision
- Craving You Heavy Remix ft. Chike
- Masavu
- 10 over 10
source:[23]
Engule n'okusiimibwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Yawangula engule y'omuyimbi w'omwaka omukazi eya Janzi awards 2021.[24]
- Yawangula engule y'olutambi lw'omwaka olwasinga eya – African Music Janzi awards 2021[25]
- Yawangula engule ya Afro Beat/Pop Artist Janzi awards 2021[24]
- Engule y'omuyimbi w'omwaka eya Buzz Teeniez awards 2021[22]
- Engule y'omuyimbi omukazi asinze mu mwaka eya Buzz Teeniez awards 2021
- Engule y'omuwandiisi w'ennyimba asinze eya Teenz Hottest Songwriter Buzz Teeniez awards 2021[22]
- Engule y'oluyimba olusinze mu mwaka eya Teenz Hottest Song of the year – ‘Slow Dancing’ Buzz Teeniez awards 2021[22]
- Yawangula eya vidiyo esinze eya Teenz Flyest video – ‘Slow Dancing’ Buzz Teeniez awards 2021[22]
- Engule y'omuyimbi omukazi asinze mu mwaka eya Zzina Awards 2021/22[26]
- Yawangula ey'omuwandiisi w'ennyimba asinze mu mwaka eya Best Song Writer of the year Zzina Awards 2021/22[26]
- Yawangula ey'oluyimba olwasinga okukwata ku mitima gy'abantu eya Best Inspirational Song – Majje ft Fik Fameica Zzina Awards 2021/22[26]
Ebirala byakoze ne byatuseeko
[kyusa | kolera mu edit source]Azawi kati akola nga kitunzi wa kkampuni y'omwenge aya Guinness.[27][28][29] nga kino akikola n'omuyimbi Omu Nigeria Fireboy DML. Kino era kyeyolekera mu vidiyo ye ey'oluyimba MAJJE lwe yakola n'omuyimbi Fik Fameica.[30][31][29] ne kukivvulu kye eyali ekyamannyi gye buvuddeko e Lugogo,Kampala mu Ogwomusanvu 2022.[32]
Azawi mu 2021 yalabikira ku ntimbe gaggadde okubeera abantu ab'ettuttumu okuli olwa New York ne Los Angelos "Times Square",[33][34][35] n'afuuka omukyala eyasooka era Munnayuganda ow'okusatu oluvanyuma lwa Eddy Kenzo ne Bobi Wine.[4]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Ray, Lee (2019-12-31). "BRAND NEW: Swangz Avenue Set Date To Release New Signing, Azawi's Song". Routine Blast : Gossip, Showbiz, Breaking News in Uganda. Retrieved 2023-02-19.
- ↑ Bm, B. (2021-10-11). "African Music by Azawi is the Album of the year!". Galaxy FM 100.2. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "Azawi shines brightest on billboards in New York and London". Nile Post. 2021-10-23. Retrieved 2022-03-25.
- 1 2 Witness, Eye (2021-10-23). "Azawi becomes the first UG female artist to appear on Times Square". Galaxy FM 100.2. Retrieved 2022-03-25.
- 1 2 3 Okereke, Caleb (30 November 2020). "Meet Priscilla Zawedde aka Azawi, Uganda's rising star". The Observer – Uganda. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "I almost quit my course at campus just after year one – Azawi reveals". MBU. 2020-06-24. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "Swangz Avenue's New Singer Azawi Graduates with a Bachelor's Degree". blizz.co.ug. 15 January 2020. Retrieved 2022-03-25.
- 1 2 3 "Interview: Meet Azawi, Uganda's Rising Star". OkayAfrica. 2020-11-19. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "Azawi". Music in Africa. 2020-08-14. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "10 Things you didn´t know about Azawi". Hard Rock Media. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ Dash, Phame (2021-08-09). "Songs That Made These New Ugandan Artists Famous, Number 3 will Surprise You". PHAME DASH. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "Uganda's Azawi: 40 minutes that changed my life — East African Herald". EastAfricanHerald. 13 December 2021. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "Milestone: Azawi's 'Quinamino' features on Major Lazer's mix". PML Daily. 2020-10-03. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ Ray, Lee (2019-12-31). "BRAND NEW: Swangz Avenue Set Date To Release New Signing, Azawi's Song". Routine Blast. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "Fresh Talent: Swangz Avenue to release Azawi in January 2020". MBU. 2019-12-31. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "Swangz Avenue signs new artiste Zafarani". New Vision. 18 March 2022. Retrieved 2022-03-26.
- ↑ "Azawi on MTV Base list of artistes to look out for this year". New Vision. 2 March 2022. Retrieved 2022-03-26.
- ↑ Troy, Kevin. "Azawi's Sankofa Album – a Melodic Tapestry of Memories and Dreams". Capital Radio. Retrieved 2024-03-16.
- ↑ BAMUTUTTE, 2021-10-09, retrieved 2023-02-19
- ↑ "Music Review: Slow Dancing – Azawi & Myko Ouma (acoustic version)". New Vision. 7 December 2021. Retrieved 2022-03-26.
- ↑ "Jinja Hippos invite Impis with Azawi vibes to dance". Monitor. 2022-03-03. Retrieved 2022-03-26.
- 1 2 3 4 5 "Full List of Buzz Teenz Award Winners 2021". ChimpReports. 2021-12-21. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "Azawi". Deezer. Retrieved 2023-02-19.
- 1 2 "Who won what at the Janzi Awards 2021?". MBU. 2021-12-13. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "The good, the bad and the ugly of the maiden Janzi Awards". New Vision. 13 December 2021. Retrieved 2022-03-25.
- 1 2 3 Bm, B. (2022-03-26). "Zzina Awards 2021/22 Full List Of Winners". Galaxy FM 100.2. Retrieved 2022-03-30.
- ↑ Ruva, Roy. "Swangz Avenue Singer Azawi Signs Mega Guinness Deal – Chano8". Retrieved 2022-03-25.
- ↑ Mugisha, Mugibson (2021-08-16). "Azawi Lands Very First Brand Endorsement of Her Career. Joins Fireboy DML, Beverly Naya As Guinness Brand Ambassador – MUGIBSON". Retrieved 2022-03-25.
- 1 2 "Azawi Joins Celebrities Fireboy, Meji Alabi as New Guinness Ambassador". ChimpReports. 2021-08-14. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "Guinness teams up with Azawi for new, jaw-dropping "Majje" video". Nile Post. 2022-03-04. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "Guinness and Azawi collaborate on a new, jaw-dropping "Majje" video". Bazzup.com | Get Connected. 2022-03-04. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ Katungulu, Amon (2022-07-23). "Azawi throws unforgettable performance at maiden concert". Nile Post. Retrieved 2023-02-19.
- ↑ "Azawi 'Shines Brightest' on Billboards in London, New York". ChimpReports. 2021-10-23. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "Ugandan singer Azawi conquers New York, Los Angeles". Watchdog Uganda. 2021-10-23. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "Azawi on NY billboards". The East African. 2022-02-26. Retrieved 2022-03-25.