Jump to content

Baby Gloria

Bisangiddwa ku Wikipedia
Baby Gloria
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya eriweereddwaGloria, Baby Kyusa
Erinnya lya famireGloria Kyusa
Yazaalibwa nga28 Gwakkumi(Mukulukusabitungotungo) 2001 Kyusa
MaamaBetty Nakibuuka Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimumuyimbi wa nyimba ez'eddiini Kyusa

Gloria Mulungi Senyonjo (yazaalibwa nga 28 Ogwekkumi 2001) amanyiddwa nga Baby Gloria Munnayuganda omuyimbi w'ennyimba z'eddiini. Yatandika okuyimba ku myaka ebiri n'ekitundu. Mu 2010 yawangula awaadi ya Tumaini Musical Award ne Olive Musical Award mu 2011.[1][2]

Obuto bwe n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa John Senyonjo ne Betty Nakibuuka, naye nga Munnayuganda omuyimbi w'ennyimba z'eddiini.[1] John Senyonjo y'akwasaganya ensonga za Baby Gloria ne Betty Nakibuuka.[1] Baby Gloria ye mwana omubereberye mu maka era yasomera ku Apollo Kaggwa primary school Mengo era oluvannyuma yeegatta ku Life international school. Asabira ku kkanisa ya Omega healing church e Namasuba, mu disitulikiti y'e Wakiso omusumba Kyazze gy'akulira.[1]

Gloria yafulumya oluyimba lwe olwasooka oluyitibwa "Mummy" mu 2005 era mu mwaka gwe gumu n'afulumya oluyimba olulala oluyitibwa "Sisobola kukyawa".[3] Ku myaka14, Gloria yakola ekivvulu kye ekisooka ku Sir Apollo Kaggwa primary school era ng'ayita mu kivvulu kino, yasolooza ssente okuyamba abaana abali mu bwetaavu mu bifo by'e Luzira.[3] Ekivvulu kye ekyaddako yakitegeka ku Uganda National Museum mu 2011.[1][4][5] Muzinyi, musunyi wa ggita, era omubaka w'ebyamaguzi bya Movit.[6][7] Yali omu ku banjuzi b'empaka za MTN Pulse Awards mu 2020.[1][8] Yalabikira mu pulogulaamu ya Pearl Magic Prime eya Kampala Creme mu 2024; oluvannyuma yava ku pulogulaamu eyo, ng'agiyita ey'obulimba era eyawandiikibwa.[9]

Baby Gloria y'akulira ekitongole ky'obuyambi ekiyitibwa Gloria Hearts ekiyamba abaana abetaaga okubeerwa ky'eyatandikawo mu 2016.[3]

Ezimu ku nnyimba ze:[1][10]

  • Mummy, 2005
  • Sisobola kukyawa, 2005
  • Mbu ndi lubuto, 2015
  • Okusaba, 2016
  • God win
  • Remote control
  • Talanta
  • I will never forsake you
  • Luyimba lwo
  • Mujje tusanyuke, 2016
  • Daddy wange
  • Church swag
  • Happy birthday
  • I have a friend
  • Mwooyo wange
  • Nazukuse nga nyimbye
  • Ooh holy high

Ennyimba z'ayimbye n'abalala kuliko;[11]

Obulamu bw'omuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 29 Ogwomunaana 2025 Gloria yagattibwa mu bufumbo obutukuvu n'omwami we Jonas Mbaleka mu kkanisa ya Redeemed e Makerere mu Kibuga Kampala.[12][13][14]

Awaadi n'okusunsulwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Buzz Teenz Awards, Oluyimba lw'eddiini olusinze, 2019
  • Hipipo MUSIC Awards 2018 (yasunsulwa).
    • Omuyimbi w'ennyimba z'eddiini asinga.[15]
    • Vidiyo y'oluyimba lw'eddiini esinga(Mbu Ndi Lubuto, yasunsulwa).[15]
  • Yasunsulwa mu London African gospel awards.[16]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 7 Uganda, Flash (2020-11-28). "Baby Gloria: Biography, Songs, Mother and Age of Gloria Mulungi Senyonjo". Flash Uganda Media. Retrieved 2022-03-11.
  2. "THE YOUNG INSPIRING BABY GLORIA". FAMGUIDE. 2015-05-14. Retrieved 2022-03-16.
  3. 1 2 3 "Who Is Baby Gloria? Here's Everything You Need to Know About Her". Lifestyle UG. 2020-11-24. Retrieved 2022-03-11.
  4. "Baby Gloria, the glory to fellow kids". New Vision. Retrieved 2022-03-12.
  5. "Baby Gloria launches new album tomorrow". Monitor. 2021-01-04. Retrieved 2022-03-12.
  6. "'Baby' Gloria: Bye bye teens, hello 20s". Archived from the original on 2022-05-17. Retrieved 2022-03-12.
  7. Muhindo, Clare. "Baby Gloria to hold a concert in September". Retrieved 2022-03-12.
  8. "Another chapter in Baby Gloria's life, graduates from high school". Vine Pulse. 2019-10-08. Retrieved 2022-03-11.
  9. "Baby Gloria leaving 'Kampala Creme' reality show?". New Vision. Retrieved 2024-03-19.
  10. "Baby Gloria sings, releases music video". New Vision. Retrieved 2022-03-12.
  11. "Baby Gloria Biography, Wiki, Profile, Life Story". www.howwebiz.ug. Retrieved 2022-03-11.
  12. Tendo, Elizabeth. "Baby Gloria's Wedding to Be Streamed Live Exclusively on NBS Music on AfroMobile". Nilepost News. Retrieved 2025-11-20.
  13. Benjie (2025-08-24). "Baby Gloria to wed as virgin, following mother's example". MBU. Retrieved 2025-11-20.
  14. "Bride & Groom Expo". brideandgroomexpo.co.ug. Retrieved 2025-11-20.
  15. 1 2 J, lukwago (2019-01-04). "Baby Gloria Nominated Twice In Hipipo MUSIC Awards 2018". Newslex Point. Retrieved 2022-03-13.
  16. "London African gospel awards nominations released". Music In Africa. 2018-05-01. Retrieved 2022-03-16.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]