Jump to content

Balaam Barugahara

Bisangiddwa ku Wikipedia

Nkwenyumirizaamu nnyo Minisita wange

Ggwe kifaananyi kituufu eky'omulembe gwaffe

Mwebale nnyo omulimu.

Balaam Barugahara Ateenyi [1][2] amanyiddwa ennyo nga Balaam [3] [4] yazaalibwa 28 Ogwomusaanvu 1979. Munnayuganda, munnabyabufuzi, musuubuzi era mutegesi w'abuvulu. [5] [6] [7] Ye minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu, abakozi, n’enkulaakulana y’embeera z’abantu avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana n’abavubuka eyalondebwa Pulezidenti Yoweri Museveni .[8] [9]

Balaam era ye mukkulu wa Kkampuni ya Balaam group of companies, ekibiina ekirina amattabi mu Uganda ne South Sudan [10][11][12] [13] era ssente ezisiinga yaziteeka mu by’eby’amasanyu, okuweereza ku mpewo, eby’amayumba, eby’amakolero, wooteeri, n’ebifo ebisanyukirwamu . [14] [15] [16] [17]

Obuto bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Balaam Barugahara Ateenyi yazaalibwa 28 Ogwomusanvu, 1979 mu maka g’omugenzi Yinginiya David Balaam Byenkya Akiiki ow’e Kijura mu Disitulikiti y’e Masindi ne Gladesi Byenkya Abwooli ow’e Kalisizo mu Buganda ey’omu masekkati . [18] Kitaawe omwami Davidson Balaam Byenkya Akiiki yafa mu 1991 nga akyali muto. [19]

Yasomera mu massomero nga Namasagali, St. John Bosco Senior Secondary School ne Original Progressive Senior Secondary School gyeyasomera mu siniya ey'omukaaga. [20] Oluvannyuma yeewandiisa ku Ssettendekero wa Makerere okusoma diguli mu by’obusuubuzi oluvannyuma, n’akola diguli eyookubiri mu by’obusuubuzi eya Master of Business Administration ku Cavendish University. [21]

olugendo mu bizinensi

[kyusa | kolera mu edit source]
Balamu Barugahara.jpg

Balaam ye nnannyini kkampuni ya: Original Best Water company esangibwa mu South Sudan, Radio One mu South Sudan, laadiyo y'obwannanyini eyasooka nga yagitandiikawo mu 2009. Era ye nnanyini Radio4 mu Uganda, Radio 7 e Masindi, Radio8 e Masaka ne Radio8 mu bitundu bya Elgon era nga ye musaasaanya wa MTN Uganda mu bendobendo lye'Kigezi. [22]

Balaam Muzimbi w'amayumba n'okukulakulanya ettaka ng’alina wooteeri mu Kampala ne South Sudan, omuli ne woteri matiribona ey'ekika kya 5 star e Masindi, eyagulibwawo Pulezidenti Yoweri Museveni mu Gwomwenda mu 2022. [23]

Emirimu gy’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Yalondebwa Yoweri Museveni nga minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu ng’avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana n’abavubuka nga 21 Ogwokussatu 2024.

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Ye mwana ow'okutaano mu baana kkuminabana. Balaam alina abaana basatu Benta Karuhanga Abwooli, Biden Kamusiime Amooti ne Brennan Kamukama Akiikil. Yafiirwa mutabani we eyasooka olw’obulwadde bwa kookolo mu 2013. [24]

Engule n'Ebitiibwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Nga 21 Ogwokusatu, 2023, Balaam yaweebwa diguli ey’ekitiibwa mu by’obuntubulamu okuva mu Zoe Life Theological College, USA olw’okukyusa n’okukwata ku bulamu bwa Bannayuganda. [25]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

 

  1. "Balaam Graduates With a Doctorate in Humanities". www.howwe.ug (in Lungereza). 2023-02-22. Retrieved 2023-11-19.
  2. Eye, The Cavendish (2023-02-22). "CUU Alumnus Awarded Honorary Doctorate for Impacting Lives". Cavendish University Uganda (in Lungereza). Retrieved 2023-11-19.
  3. https://observer.ug/lifestyle/76509-balaam-on-what-it-takes-to-organise-a-show
  4. https://www.galaxyfm.co.ug/2019/11/18/helpless-music-promoter-balaam-reveals-why-he-decided-to-invest-over-20-million-us-dollars-in-south-sudan-as-he-closes-in-on-losing-all-his-properties-to-greedy-citizens/
  5. https://chimpreports.com/balaam-barugahara-elected-president-of-promoters-federation/
  6. https://web.archive.org/web/20231119114008/https://www.kampalasun.co.ug/events-promoter-balaam-gets-phd-in-theology-from-us-college/
  7. https://www.pulse.ug/news/balaam-commissions-maiden-mk-movement-chapter-in-london/q040bn4
  8. Kyama, Eric (2023-04-03). "Balaam commissions maiden MK movement chapter in London". Pulse Uganda (in Lungereza). Retrieved 2023-11-19.
  9. https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_184091
  10. "Events promoter Balaam Barugahara appointed Minister". NTV Uganda (in Lungereza). 2024-03-22. Archived from the original on 2024-03-23. Retrieved 2024-03-23.
  11. "Cabinet reshuffle: Kitutu, Ssempijja dropped as Barugahara, Mbadi appointed". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-03-23.
  12. https://observer.ug/news/headlines/62673-how-sudanese-generals-grab-ugandan-businesses
  13. https://web.archive.org/web/20231119114012/https://www.elixnews.com/2023/04/from-sweet-bananas-vendor-to.html
  14. https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_143329
  15. https://nilepost.co.ug/2022/09/18/uganda-would-be-out-of-poverty-if-all-youth-copied-balaam-museveni/
  16. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-17. Retrieved 2024-09-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  17. "Archive copy". Archived from the original on 2023-11-29. Retrieved 2024-09-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  18. https://web.archive.org/web/20221012001049/https://pearlpost.co.ug/#:~:text=Balaam%20is%20the%20founder%20of,FM%20Radio%20in%20South%20Sudan.
  19. https://flashugnews.com/balaam-barugahara-biography-age-wife-tribe/
  20. https://hardrockmedia.org/2022/07/10-things-you-need-to-know-about-balaam-barugahara/
  21. https://observer.ug/lifestyle/71773-balaam-barugahara-that-striped-t-shirt-simply-dries-faster
  22. "Archive copy". Archived from the original on 2024-08-11. Retrieved 2024-09-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  23. https://chimpreports.com/museveni-speaks-out-on-muhoozi-birthday-celebrations/
  24. https://www.spyuganda.com/heres-what-you-didnt-know-about-the-one-t-shirt-man-balaam-barugahara-ateenyi-behind-his-simplistic-humble-life-style-lies-a-budding-young-business-tycoon/
  25. https://www.bukedde.co.ug/articledetails/BUK_131704