Jump to content

Bbuulwe

Bisangiddwa ku Wikipedia

Bbuulwe (Balaeniceps rex) kye kimu ku binyonyi ebisangibwa mu Uganda nga kinene kumpi okwenkana kalooli. Kirina langi eya bbululu kyokka nga ekito kiba kya langi ya kitaka. Kirina omumwa mugazi ogwakula nga engatto nga ku kino kwe kuva erinnya lyakyo ery'olungereza erya shoebill. Ku mumwa gwakyo oludda olwa waggulu kuliko eddobo erikisobozesa okuvuba ebyennyanja n'emmere yaakyo endala omuli ebikere ko n'emisota.

Ekinyonyi kino kibeera mu ntobazi nga mwe kisula, mwe kiyiggira era mwe kizaalira. Ekinyonyi kino kyagala nnyo ebifo ebisirifu era nga kitambula kisooba nga kigezaako okuyigga ate era emirundi mingi kisobola okuyimirira mu kifo kimu okumala essaawa eziwerako. Ekinyonyi kino kisangibwa mu bitundu ebiriraanye ennyanja Nnalubaale, mu olutobazi nabajjuzi, olutobazi olwa Mabamba, mu kkuumiro ly'ebisolo erya Mburo ko n'erya Murchison Falls.

Omuko guno kitundutundu. Bw'oba ng'oyagala okugugaziyako yingira awagamba nti kyusa.