Olutobazi nabajjuzi
Nabajjuzi
[kyusa | edit source]Olutobazi Nabajjuzi lusibuka ku kyalo Kijonjo mu ggombolola y'eBuwunga, mu disitulikiti y'eMasaka. Olutobazi luno mugga era nga guyiwa amazzi gaagwo mu mugga Katonga, ate ggwo ne guyiwa mu nnyanja Nnalubaale. Olutobazi luno lwe luvaamu amazzi agakozesebwa mu kibuga ky'eMasaka anti ekitongole ky'amazzi kyazimba essengejjero ly'amazzi kumpi n'olutobazi luno e Kijjabwemi mu Masaka. Lusangibwamu eby'obutonde era eby'obulambuzi omuli enjobe, enngonge, bbuulwe n'ebika by'ebinyonyi ebirala bingi era nga 2 November 2006 lwawandiikibwa nga olutobazi olw'omugaso mu nsi yonna. Olutobazi luno lusomboola abalambui okuva mu nsi yonna okusobola okujja okwelabira ku makula agalulimu.
Kigambibwa nti omugga guno baazaala muzaale. Nti omukazi omu erinnya lye Nabajjuzi yali lubuto, kyokka bweyagenda okufukamira okuzaala, mu kifo ky'omwana yazaalamu mugga ne gutandika okukulukuta. Eyo nno y'ensonga lwaki omugga guno gwatuumibwa Nabajjuzi.
Abantu abaluliraanye lubayimirizaawo mu bintu bingi. Abamu balukimamu amazzi ge bakozesa awaka, okunywesa ebisolo byabwe, okufukirira ennimiro zaabwe, abalina emmerezo z'emiti basenamu amazzi ag'okufukirira. Ebirala ebivaamu mulimu ebbumba, enku, enkoma, eby'enyanja nga emmale, ensonzi n'ebirala bingi. Abakola eby'emikono nabo balufunamu ebikozesebwa nga ebitoogo, ensansa, essubi, okukolamu ebiwempe, enkoofiira, ensawo, enjeyo n'ebirala bingi.