Beatrice Lamwaka

Bisangiddwa ku Wikipedia

Beatrice Lamwaka (yazaalibwa era n'akulira mu Alokolum, Gulu ) muwandiisi munnayuganda. Yasunsulwamu okuwangula ekirabo kya Caine mu 2011 olw'emboozi ye "Butterfly Dreams".

Emirimu emirala[kyusa | edit source]

Ye mutandisi era dayirekita w’ekitongole kya Arts Therapy Foundation, ekibiina eky'obwa nnakyeewa ekibudaabuda abantu mu by’omwoyo n’ebirowoozo nga kiyita mu bujjanjabi obw’ekikugu obw’obuyiiya. Ye muwandiisi omukulu mu kibiina kya PEN Uganda Chapter era mmemba omukulu mu kibiina ekya Uganda Reproduction Rights Organization (URRO). Abadde ku lukiiko olufuzi olwa Uganda Women Writers Association (FEMRITE), gy’abadde mmemba okuva mu 1998. Yawandiikako emboozi mu kitongole kya Global Press Institute ku nsonga ezikwata ku bakyala, omuli mukenenya/siriimu, ebiva mu lutalo eri abakyala, n’obwenkanya mu bantu. Emboozi ze ennyimpi n’obutabo essira liziteeka kunsonga zino. [1]

Mu 2009, yali muwandiisi ng'asula mu Château de Lavingny, Switzerland. Mu Ogwe Kkuminogumu 2013, yali asula nga bw'akola ku katabo ke, Sunflowers, mu Rockefeller Foundation ’s Bellagio Center. Yafuna engule ya Young Achievers Award mu 2011 mu mutendera gw’eby'emikono, eby’obuwangwa n’emisono. Yafuna ensimbi okuva mu kitongole kya HF Guggenheim Foundation okunoonyereza ku nkaayana z’ettaka mu mambuka ga Uganda oluvannyuma lw’olutalo.

Yasunsulwa mu mpaka z'ekirabo kya Caine Prize for African Writing mu 2011 era yali yatuuka ku ntikko mumpaka eza PEN/Studzinski Literary Award 2009. [2] [3]

Gyenvudde n’Okusoma[kyusa | edit source]

Lamwaka yazaalibwa era n'akulira mu kibuga Alokolum, Gulu, Uganda. Yasomera mu Uganda Martyrs Secondary School, Namugongo, nga tannaba kwegatta ku yunivasite y’e Makerere okufuna diguli esooka mu by'enjigiriza. Yakuguka mu by’ebiwandiiko n’Olungereza. [4] Yagenda mu maaso n’asoma diguli ey'okubiri mu ddembe ly’obuntu okuva mu yunivasite y’e Makerere. [5]

Emirimu gy’okuwandiika[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwe ogwokusatu mu yunivasite y’e Makerere, yeegatta ku FEMRITE, ekibiina ekigenderera okukulaakulanya n’okutumbula abakyala abawandiisi. Mu mwaka gwa 2001, emboozi ye ennyimpi eyasooka, "Vengeance of the Gods", yafulumizibwa mu kitabo ekiyitibwa Words From A Granary . Oluvannyuma yawandiika "Queen of Tobacco", emboozi y'omukyala eyasinzanga okunywa taaba. Emboozi eno yasitulwa olukiiko lwa Bungereza oluvannyuma lwa Lamwaka okugiwaayo eri Gowanus Books ku yintaneeti mu pulojekiti egenda mu maaso eya "Crossing Borders". [4]

Yasunsulwamu okuwangula ekirabo kya Caine mu 2011 olw'emboozi ye "Butterfly Dreams". [6] Emboozi ze ennyimpi zifulumiziddwa mu bitabo eby’enjawulo, omuli ebitabo ebikuŋŋaanyiziddwa eby’ekirabo kya Caine, To See the Mountain n’ebirala ne African Violet and Other Stories (2011). Era ye muwandiisi w'ekitabo mu 2019 ekiyitibwa Daughters of Africa ekyasunsulwa Margaret Busby . [7] Mu bitabo ebirala omulimu gwa Lamwaka mwe gufulumye mulimu Buttterfly Dreams and Other Stories from Uganda, New Writing from Africa 2009, Words from A Granary (2001), World of Our Own, Farming Ashes, Summoning the Rains, Queer Africa: New and Collected Fiction (2013), ne PMS poememoirstory journal. Akola ku kitabo kye ekisooka, Sunflowers, n’emboozi ennyimpi eziwerako. [8]

Emirimu egifulumiziddwa[kyusa | edit source]

Ebitabo by’emboozi[kyusa | edit source]

Emboozi ennyimpi[kyusa | edit source]

  • "Chief of the Home", in {{cite book}}: Empty citation (help)(2013). Queer Africa: New and Collected Fiction. MaThoko's books. ISBN 9781920590338.
  • "Butterfly Dreams", in Hilda Twongyeirwe. {{cite book}}: Missing or empty |title= (help)(2012). Word of our own and other stories. Femrite Publications. ISBN 9789970700257.
  • "Bonding Ceremony", in {{cite book}}: Empty citation (help)(2012). Summoning the rains. Femrite Publications. ISBN 9789970700257.
  • "Butterfly Dreams" and "Bottled Memory", in {{cite book}}: Empty citation (help)New Internationalist Publications LTD. 2011. ISBN 9781906523862.
  • "Pillar of Love", in {{cite book}}: Empty citation (help)New Internationalist Publications LTD. 2011. ISBN 9781780260747.
  • "Butterfly Dreams", in {{cite book}}: Empty citation (help)(2010). Butterfly Dreams and Other Stories from Uganda. Typhon Media. ISBN 9789881516589.
  • "The Garden of Mushrooms", in Violet Barungi. {{cite book}}: Missing or empty |title= (help)(2009). Faming Ashes: Tales of Agony and Resilience. Femrite Publications. ISBN 9789970700202.
  • "Village Queen", in {{cite book}}: Empty citation (help)(2009). Talking Tales. Femrite Publications. ISBN 9789970700219.
  • "The Family of Three"; "The Bully"; and "The Garden of Mushrooms", in {{cite book}}: Empty citation (help)Femrite Publications. 2009.
  • "The Star in My Camp", in {{cite book}}: Empty citation (help)(2009). Writing from Africa 2009. Johnson and Kingjames Books. ISBN 9780620434287.
  • "I Always Know", in {{cite book}}: Empty citation (help)Femrite Publications. 2009. ISBN <bdi>978-9970-700-18-9</bdi>.
  • "Vengeance of Gods", in {{cite book}}: Empty citation (help)(2001). Words from a Granary. Femrite Publications. ISBN 9789970700011.
  • "Butterfly Dreams"
  • "Queen of Tobacco", Gowanus Books, 2002

Ebitontome[kyusa | edit source]

  • "Mwoc Acoli", "Nyeri", mu  (2014) (2014) nga bano. A Thousand Voices Rising: Ekitabo ky’ebitontome eby’omulembe gwa Afirika . Ekitongole ky'ebitontome ekya BN. ISBN <bdi>978-9970-9234-0-3</bdi> .
  • "Emmunyeenye e Gulu", mu  Ebitabo bya Femrite. 2009. ISBN <bdi>978-9970-700-18-9</bdi> .

Awaadi n'okusiimibwa[kyusa | edit source]

  • Engule za Janzi 2021 ( Ebirooto by'ekiwujjo )
  • Engule y'abavubuka abatuuse ku buwanguzi 2011 (omutendera gw'ebyemikono, obuwangwa n'emisono.
  • Omuwanguzi w’ekirabo ky’olukiiko olukulaakulanya ssaayansi w’embeera z’abantu Democratic Governance Institute 2012 </link>[ <span title="This claim needs references to reliable sources. (May 2022)">okujuliza kwetaagisa</span> ]
  • Shortlisted for the Caine Ptize for African Writing,2001.
  • Finalist for the PEN/Studzinski Literary Award 2009. [9]
  • Omuyambi w'ekitongole kya Harry Frank Guggenheim Foundation, 2009. [5]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. Beatrice Lamwaka, transculturalwriting.com. Retrieved 26 January 2014.
  2. "Writivism Mentorship Programme", Caceafrica, 23 January 2013. Retrieved 1 April 2014.
  3. Beatrice Lamwaka – 2011 Caine Prize Nominee. Tuesday, 2 August 2011, femriteuganda.blogspot.com. Retrieved 7 April 2014.
  4. 4.0 4.1 Racheal Ninsiima, "Babe of the week: Lamwaka, the princess who loves words", The Observer (Uganda), 11 October 2013. Retrieved 26 January 2014.
  5. 5.0 5.1 "Beatrice Lamwaka", Global Press Journal. Retrieved 26 January 2014.
  6. Mildred Barya, "Beatrice Lamwaka on the 2011 Caine Prize Shortlist", 23 May 2011. Retrieved 26 January 2014.
  7. Odhiambo, Tom (18 January 2020), "'New Daughters of Africa' is a must read for aspiring young women writers", Daily Nation (Kenya).
  8. Nsengiyunva, Beverly Nambozo, "The Butterfly Effect: An interview with Caine Prize-nominee Beatrice Lamwaka", Start Journal, 1 November 2011. Retrieved 1 April 2014.
  9. "2009 PEN/Studzinski Literary Award Finalists Announced", BooksLive, 5 February 2009. Retrieved 26 January 2014.

Ebiyungo eby’ebweru[kyusa | edit source]

Lua error: Invalid configuration file.