Benjamin Josses Odoki
Benjamin Josses Odoki (yazalibwa nga 23 Ogw'okusatu 1943) yeyali Ssabalamuzi wa Uganda owe 10 [1] okuva mu mwaka gwa 2001 okutuusa 2013.[2]
Ebyafaayo bye n'okusoma kwe
[kyusa | edit source]Yazalibwa ku kyaaalo Dhaka mu, Disitulikiti ye Busia, mu buva Njuba bwa Uganda, nga 23 Ogw'okusatu 1943 mu maka amafuna mpola. Siniya ye yasomera ku King's College, Budo, mu Disitulikiti ye Wakiso. Yaweebwa ekifo ku University College, Dar es Salaam, mu Tanzania, gyeyatikirwa digiri mu mateeka mu 1969. Oluvanyuma yafuna Dipulooma mukukola amateeka okuva ku Law Development Centre mu Kampala.[3] Mu 1974, yafuna satifiketi mukukola amateeka n'enkulakulana "Certificate in Development Studies" okuva mu Yunivasite ye Sussex, Satifiketi mateeka g'ensi yonna okuva mu Geneva mu 1975 ne Digiri eyokusatu mu mateeka okuva (LL.D) (Honoris Causa) okuva mu Commonwealth University Belize mu London.[4]
Emirimu gye nga tanafuuka mulamuzi
[kyusa | edit source]Yakomawo e Uganda nga amaliriza emisomo gye e Tanzania. Mu mwaka gwa 1969 yafuuka puliida wa kkooti enkulu eya Uganda era n'akirizibwa okutandika okuwulira emisango. Omwaka ogwaddako yalondebwa okubeera omuwabi wa gavumenti era n'alinyisibwa eddala n'afulibwa siniya nga wakayita emyaka mitono. Yawerezaako nga dayirekita wa Uganda Law Development Centre.[5]
Emirimu gye nga omulamuzi
[kyusa | edit source]Mu 1978, nga alina emyaka 35, yalondebwa okubeera omulamuzi wa kkooti enkulu eya Uganda. Okuva mu mwaka gwa 1981 okutuusa 1984 yawagirwa okuwereza nga Ssabawaabi wa gavumenti. Mu 1986 yalondebwa okubeera omulamuzi wa Kkooti ensukulumu e ya Uganda. Okuva mu 1996 okutuusa 2000, yeyali sentebe w'akakiiko k'essiga Eddamuzi akavunanyizibwa ku kugaba emirimu wamu n'okulondola enkola n'eneyisa y'abalamuzi ka "Judicial Service Commission".[6] Yafuuka Ssabalamuzi wa Uganda mu 2001, ekifokyeyawererezamu okutuusa emyaaka bweyaweza emyaaka 70 omuntu kw'alina okuwumulira nga 23 Ogw'okusatu 23, 2013. Yawereza emyeezi emirala 3 egyenyongereza okutuusa nga 23 Ogw'omukaaga 2013[3] wabula okwongezebwayo kw'obuwereza bwe kwalimu ebirumira era kwayogeza Banayuganda ebikikinike.[7][8] Kati akola nga mumyuuka wa pulezidenti oba Omulamuzi w'akakiiko akakwasisa empisa owa African Development Bank era omulamuzi wa kkooti ensukulumu e Swaziland.[9][10]
Famile
[kyusa | edit source]Yafumbiriganwa ne Veronica Odoki, era nga balina abaana bana okuli Peter Odoki, Phillip Odoki, Dorah Odoki and Joshua Odoki.[3]
Ebirala by'oyinza okutunulira oba okumumanyaako
[kyusa | edit source]Yasomesaako ku Yunivasite e Makerere ku somero lyabanamateeka ne ku bbanguliro lya banamateeka erya Law Development Centre. Yawerezaako nga ssentebe w'akakiiko akakola ku kukunganya okusunsula n'okufulumya alipota z'amateeka ka "Editorial Board of the Uganda Law Reports". Awandiise obutabo bungi obwenjawulo era nga awandiise n'emiko egyenjawulo egikwata ku nsonga ezenjawulo okuli okukula kwa Ssemateeka Eddembe ly'obuntu ne obenkanya misango gya naggomla.[3]
Awaadi
[kyusa | edit source]Mu 2012 yafuna "Gusi Peace Prize International Award e Manila okuva mu lukungana lwa mawanga gona e Philippine olukwata ku bwenkanya n'amateeka ku ddembe ly'obuntu oluyitibwa "Philippine International Convention Centre for Social Justice and Humaritarian Law".[11] Benjamin Josses Odoki era alina awadi eyenjawulo mu mateeka n'okuwandiika ku mateeka eyamuwebwa ba Puliida okuva mu Ggwanga lya abeggatira mu kibiina kyabwe ki Nigerian Association of Democratic Lawyers.[4]
osobola okulaba
[kyusa | edit source]Gyebigidwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/chief-justice-odoki-retires--1538636
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1116348/odoki-blasts-politicians
- ↑ 3.0 3.1 3.2 3.3 ttp://www.monitor.co.ug/Magazines/PeoplePower/Odoki-s-long-journey-to-retirement/-/689844/2413428/-/3q7eesz/-/index.html
- ↑ 4.0 4.1 https://lirauni.ac.ug/chancellor/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/ldc-get-new-director-as-wante-retires-1513342
- ↑ https://www.judicialintegritygroup.org/the-hon-justice-benjamin-joseph-odoki
- ↑ https://www.parliament.go.ug/cmis/browser?id=cc4f8823-113d-4eb2-b9fd-987eb15fd0fb%3B1.0
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-29. Retrieved 2022-12-10.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.afdb.org/en/about-us/organisational-structure/administrative-tribunal
- ↑ https://www.icj.org/cijlcountryprofiles/swaziland/swaziland-judges/swaziland-appointment-and-promotion-of-judges-security-of-tenure/
- ↑ http://www.life.lk/article/uncategorized/deepika-to-receive-gusi-peace-prize-next-week/83/3591