Beti Kamya-Turwomwe

Bisangiddwa ku Wikipedia


Beti Olive Namisango Kamya-Turomwe, abangi gwebaanyi nga Betty Kamya oba Beti Kamya, mukyala muna byabusubuzi ate munabyabufuzi mu Uganda, egwanga eryokusatu mubyenfuna mu kwegata kwamawanga ga buvanjuba bwa Africa ( East African Community.) ye minista we byetaaka, ebya mayumba ne nkula kulana yebibuga okuva nga 14 ntenvu 2019.Nga tanaba minista webyetaka, okuva nga 6 Sebo aseka 2016 okutusa Ntenvu 2019, yawereza nga minista wensonga za kampala capital city authority.

Entandikwa neby'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Kamya yatandikawo era ye mukulembeze wa Uganda Federal Alliance(UFA) ekimu ku bibiina byebyobufuzi mu uganda. yali omu kubesimbawo mu kalulu kokulonda omukulembeze wegwanga aka 2011, yakwata kifo kya kutano ngalina obululu 52,782. yakikirirako esaza lya Lubaga North mu lukiiko lwa Uganda nga'akyali mukibiina kya Forum for democratic change(FDC) okuva 2006 okutusa 2010.[1]


Bamuzalira Nakuru mu Kenya nga 30 Musenene 1955. kitaawe ye George Wilson Kamya, ate mama we ye Margaret Wairimu Kamya, omuna Kenya. Beti yali wa'kuna mubaana mwenda. mu 1961, nga Beti alina emyaka mukaga, famile ye yakomawo mu Uganda.[2]

Yasomera McKay memorial school mu kamapala ne St. Hellens primary school mu bugwanjuba bwa Yuganda. Yagenda Wanyange Girls school weyasomera siniya esoka paaka ku yokuna namala nagenda Kings college Budo weyasomera siniya yo'kutaano neyo'mukaga weyava nayingira Setendekero ye Makerere okusoma ebyobusubuzi nobutaale.[3]


Obumanyirivu Bwe[kyusa | edit source]

mu myaka gye' 80 , Yayingira Uganda Leather and Tanning Industries Limited mu Jinja mu kitongole ekinnonya akatale , gye'yakolela okutusa 1988. yayingira Nyanza Textiles Industries Limited, nakolerayo nga akulira ebyokunonya akatale okutusa 1992.

okuva 1996 okutusa 1999, yakola nga omukulu wakabondo akanonya akatale ku Uganda Breweries Limited mu Port Bell, okuva 1999 okutusa 2004, yali akulira Uganda Wildlife Education Centre (UWEC) mu Entebbe abangi gyebamanyi nga zoo, esangibwa kumpi ne Lake Victoria.[4]

mumakati ga 2001 ne 2004, bweyali akyakola ku UWEC, yafuka mutongole mu kibiina kya Reform Agenda, ekyamala nekivamu ekibiina kyebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change(FDC). okuva 2005 okutusa 2010, Yawereza ngo'mukungu owenjawulo owo'mukulembeze wa FDC Kizza Besigye. Yawereza ngomubaka wa Lubaga north ku kakonge ka FDC. mu Gatonya wa 2010, ya'yabulira FDC nakolawo Uganda Federal Alliance(UFA) nafuuka omukulembeze wakyo.[5]

Okulondebwa kubwa Minista[kyusa | edit source]

Nga 6 Sebo aseka 2016, yalondebwa nga Minista omugya owa Kampala Capital City Authority. mu'kukyusa kwaba minista okwaliwop nga 14 Ntenvu 2019, yalondebwa nga minista we'byetaaka, amayumba ne'nkulakulana y'ebibuga, kyeyakyusa ne Betty Amongi, eyamudira mubigere ku Kampala Capital City Authority.[6]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Kamya yali mukyala wa Spencer Turwomwe eyali omusilikale mumagye ga Yuganda eyafa mu 2003. balina wamu abaana mukaga.

Ebijulizo[kyusa | edit source]