Betty Awori Engola

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Betty Awori Engola (yazaalibwa nga 24 Ogwekuminogumu mu mwka gwa 1960) era ayittibwa Awor Betty Engola Munnayuganda ow'Ebyobufuzi. Ye mubaka omukyaala akiikirira Distulikitti y' Apac wansi w'ebiina eky'obufuzi ekifuga ekya National Resistance Movement mu Paalamenti ey'ekumi (2016 to 2021).[1][2]

Ebimukwatako n'emisomo[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 1974, yamaliriza ebigezo bya Primary Leaving Examination ku Shimon Demonstration School. Mu mwaka gwa 1978, yafunasatifikeeti ya Uganda Certificate of Education ku St Josephs Girls School, Nsambya. Awori yamaliriza Uganda Advanced Certificate ye okuva mu Tororo Girls School Mu mwaka gwa 1981. Mu mwaka gwa 1984, yegatta ku Yunivasitte y' e Makerere, natikibwa ne diguli ya Bachelor of Arts in Social Science.[3]

Omubanyirivu mu mirimu[kyusa | edit source]

Okuva mu mwaka gwa 2009 okutuusa 2010, Betty Awori Engola yaweereza nga Governing Council Mmemba ku Uganda Technical College, Lira. Era yaweereza nga Board Mmemba wakati wa 2005 ne 2008 ku National Agricultural Advisory Services. Yakola ku Uganda Advisory Board of Trade nga Commercial Offiisa okuva mu mwaka gwa 1986 okutuusa 1987. Okuva mu 1988 okutuusa 2001, yali akola nga offiisa w'ebyobusubizi ebiva mu mawanga g'ebweru ku Minisitule y'ebyobulambuzi, Obusuubuzi n'amakolero. Okuva mu 2016 okutuusa kati, abadde aweereza nga Mmemba wa Paalamentti mu Paalamenti ya Uganda.[4]

Emirimu emirala[kyusa | edit source]

Betty Awori Engola akola omulimu omulala mu Paalamentti ya Uganda nga mmemba ku kakiiko ka Sayansi ne Tekinoloogiya.[5] Yettaba mu lukungaanya olw'ekkumi n'ennya olwa United Nations Conference on Trade and Development mu Nairobi, Kenya olwaaliwo okuva nga 17–22 Ogwomusanvu 2016.[1] Awori era yeenyigira mu nkulaakulana y'enteekateeka y'embalirira eya Gavumentti ez'ebitundu eya Local Government Budget Framework Paper eya Distulikitti eye Apac.[2]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

  1. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=412
  2. http://parliamentofuganda.nwtdemos.com/find-an-mp
  3. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=412
  4. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=412
  5. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=412