Betty Mpeka

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Betty Asiimwe Mpeka Tusubira, (1 Ogwoluberyeberye 1954 – 6 Ogwomukaaga 2021; née Betty Asiimwe Mpeka), asinga okumanyibwa nga Betty Mpeka, yali Ugandan physician and public health specialist, nga mukiseera kyeyafiilamu, yali omumyuuka wa sentebbe wekibiina kya Uganda Indoor Residual Spraying Project Phase II, ku Uganda Minisitule y'ebyobulamu, mu Kampala, ekibuga kya East African country ekikulu.[1]

Obulamu bwe obw'emabega n'okusomo kwe[kyusa | edit source]

Mpeka yazaalibwa mu Bugwanjuba bwa Uganda circa 1954. Pulayimale yagisomera mu somero lya bulijjo. O-Level ye yagisomera ku Maryhill High School mu kibuga kye Mbarara. Yakyuusa nadda ku Gayaza High School mu Disitulikiti ye Wakiso okusoma A-Level. Yyingizibwa ku Ssetendekero lya basawo e'Makerere mu 1974, jyeyatikirwa ne Diguli mu by'eddagala n'okulongoosa .(Bachelor of Medicine and Bachelor of Surgery mu 1979. Omu ku beyasoma nabo mu somero lye'eddagala, yali Professor James Gita Hakim (14 Ogwokutaano 1954 – 25 Ogwoluberyeberye 2021), naye yaffa ekilwaddw kya COVID-19, mu Harare, Zimbabwe.[2] Oluvanyuma, yatikirwa okuva mu Liverpool School of Tropical Medicine, ne diguli y'Obukugu mu Sayansi n'ebyobulamu (Master of Science in public health. Omu kubeyasoma nabbo mu Kkoosi eno yali Dr. [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Ian_Clarke_(physician) Ian Clarke (physician)], eyatandikawo Clarke International University mu Uganda.[3]

Emirimu[kyusa | edit source]

Nga amaliriza diguli ye esoooka, Mpeka yatendekebwa mu ddwaaliro lya Mulago National Referral Hospital. Okutendekebwaakwe nga kuwedde, bamusigaza e'Mulago, mu Dipaatimenti y'abaana Pediatrics. Yaweerezaako nga omusawo akulira eddwaliro lya Kasangati Health Centre IV, ekitongole ekisomesa ekya Makerere University College of Health Sciences (MCHS).[3]

Munkomelero ye mwaka jya 1980 Minisitule ye by'obulamu mu Uganda yamuwa omulimu, nayambuka ku daala lya commissioner we by'obulamu. Essira yaliiteeka nnyo ku kujanjaba nokweewala malaria. Yaliko memba wa ttiimu ya Uganda eyeetaba mu Uganda Program for Human and Holistic Development (UPHOLD), wakati wa 2002 paka 2008. Pulogulaamu yatandikibwaawo ekitongole kya United States Agency for International Development (USAID). Okuva 2012 okutuusa okufa kwe, yaweereza nga omumyuuka wa ssentebbe wa Uganda Indoor Residual Spraying Project Phase II.[4]

Ebirala eby'okumanya[kyusa | edit source]

Mpeka yali memeba wa Malaria Consortium esangibwa mu kibuga London(United Kingdom). Asiimibwa n'ebiwandiiko bya sayansi kumi na bitaano ebifulumiziddwa nga ekitundu ku mirimu gye ne sayansi atakolelera magobba(scientific non-profit).[5]

Eby'obulamu bwe[kyusa | edit source]

Mpeka yali maama w'abalenzi babiri n'omuwala omu.[3]

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijulizidwaamu[kyusa | edit source]

Ebijulizidwaamu wabweeru wa Wikipediya[kyusa | edit source]