Budaka (disitulikit)


Budaka disitulikit mu Yuganda. Obugazi eri ku: 410.4 km2. Abantu bawera: 178 900 (2012).
Ekifo gyesangibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Disitulikiti y’e Budaka egabana ensalo ne Disitulikiti y’e Pallisa mu bukiikakkono, Disitulikiti y’e Mbale mu buvanjuba, Disitulikiti y’e Butaleja mu bugwanjuba, ne Disitulikiti y’e Kibuku mu maserengeta. Akabuga k'e Budaka kali mu 36 kilometres (22 mi) mu maserengeta ga Mbale, nga kye kibuga ekisinga obunene mu kitundu kino. [1]
Okulambika okwawamu
[kyusa | kolera mu edit source]Disitulikiti eno gyetusanga Budaka County ne Iki-Iki County .
Omuwendo gw'abantu
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mwaka gwa 1991, okubala abantu mu ggwanga lyonna kwatebereza nti omuwendo gw’abantu mu disitulikiti eno gwali mu100,300. Okubala abantu okwakolebwa mu ggwanga lyonna mu mwaka gwa 2002 kwatebereza nti omuwendo gw’abantu guli 136,500, nga omuwendo gw’abantu gweyongera ebitundu 2.8 ku buli 100 buli mwaka . Mu mwaka gwa 2012, abantu baali babalirirwamu obungi bwa178,900.
Emirimu gy’ebyenfuna egikolebwa yo
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mwaka gwa 2009, kkampuni ya Uganda Clays Limited yaggulawo ekkolero lya tiles n’amatafaali e Kamonkoli. Ekkolero lirina abakozi abasoba mu 200. [2]
- ↑ "Road Distance Between Mbale And Budaka With Map". Globefeed.com. Retrieved 16 May 2014.
- ↑ Muwanga, David (12 April 2009). "Uganda Clays Opens New Factory". New Vision. Archived from the original on 17 May 2014. Retrieved 16 May 2014.