Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia
Genda ku: Ndagiriro, kunoonya
Boeganda.png
Bendera

Buganda bwe Bwakabaka bw'Abaganda muUganda.

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

Buganda erina ebyafaayo bingi ebiviira ddala eyo mu mirembe egyedda ennyo. Ssekabaka eyasooka kato kintu ye yagireetera okwegatta awamu eyo mu kyasa eky'ekkumi n'ennya, era nga y'eyatandikawo ennono y'Abaganda bazzukulu ba Kintu. Buganda yagenda yeeyongera amaanyi n'efuukira ddala obwakabaka obumu ku businga obunene n'okuba obw'amaanyi mu buvanjuba bwa Afirika wakati w'ekyasa eky'ekkumi n'omusanvu n'kyekkumi n'omwenda. Mu biseera by'obufuzi bw'amatwale, Buganda yagezaako okulwana obutaggyibwako bwetwaze naye Abangereza ne bagisinza amaanyi. Bwekityo nno Buganda yafuulibwa entabiro y'obufuzi bw'amatwale mu Uganda mu mwaka gwa 1894. Erinnya Uganda, mu luswayiri eritegeeza Buganda abangereza lye baasalawo okuyita ettwale lino. Mu bufuzi obw'amatwale Abaganda bangi baafuna obwami obw'okuba ababaka b'abafuzi b'amatwale mu bitundu eby'enjawulo era Buganda yayitimuka nnyo mu kulima ppamba n'emmwanyi.

Oluvannyuma lwa Uganda okufuna obwetwaze mu mwaka gwa 1962, obwakabaka bwa Buganda bwaggyibwawo Ssaabaminista wa Uganda omubereberye Milton Obote mu 1966. Oluvannyuma wajjawo obufuzi obubi ku mulembe gw'Obote ne nnaakyemalira Idi Amin n'emyaka egy'okweyawulayawulamu mu kibiina ekiri mu bukulembeze ekya National Resistance Movement ekikulemberwa Yoweri Museveni, akulembedde eggwanga erya Uganda okuva mu 1986 era nga yeeyazzaawo obwakabaka mu butongole mu mwaka gwa 1993. Kaakano Buganda bwakabaka obutambulira ku bukulembeze obw'ennono era nga erina obwetwaze obw'ekigero okuva ku gavumenti eya wakati. Kizibu okwogera ku by'obufuzi mu Uganda n'otoyogera ku bugulumbo wakati wa gavumenti eya wakati n'ey'emengo.

Okuva obwakabaka lwe bwaddizibwawo mu 1993, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II y'abadde alamula Obuganda na guno guliko. Ye Kabaka ow'amakumi asatu mu omukaaga mu lubu lwa bassekabaka ba Buganda. Nnaabagereka aliko ye Maama Sylvia Nagginda.

Okuva obwakabaka lwe bwaddizibwawo mu 1993, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II y'abadde alamula Obuganda na guno guliko. Ye Kabaka ow'amakumi asatu mu omukaaga mu lubu lwa bassekabaka ba Buganda. Nnaabagereka aliko ye Maama Sylvia Nagginda.