Jump to content

Buluba Hospital

Bisangiddwa ku Wikipedia

Eddwaliro ly'e Buluba nga erinnya lyalyo mu butongole ye St. Francis Hospital Buluba mu Uganda . Ddwaliro eriddukanyizibwa essaza mu Ekelezia Katolika e Jinja [1]

Endagiriro

[kyusa | edit source]

Eddwaliro lino lisangibwa ku kyalo Buluba, mu ggombolola Baitambogwe, Bunya west constituency mu Disitulikiti y’e Mayuge mu bwa Kyabazinga bwa Busoga, mu Buvanjuba bwa Uganda. Ekifo kisangibwa kiromita nga 16 okuva mu kifo awasangibwa ekitebe kya disitulikiti yaMayuge. [2] Eddwaaliro eddene eriri okumpi n'eddwaliro lino erya Buluba Hospital liyitibwa Iganga General Hospitalerisangibwa mu kibuga Iganga era nga amalwaliro gano gawulwa kiromita 21 [3] Bwogenda ku maapu, ensengeka z'eddwaliro ly'e Buluba ziri 0°29'32.0"N, 33°23'06.0"E (Obusimba:0.492222; Obukiika33.385000). [4]

Ebikwata ku ddwaliro ly'eBuluba

[kyusa | edit source]

Eddwaliro lya St. Francis Hospital Buluba, ddwaliro erisangibwa ku kyalo Buluba. Lino liwa obuweereza n'obujanjabi eri abantu b'omu Disitulikiti y'e Mayuge n'ebitundu ebiriraanyewo. Lino era lye ddwaaliro ekkulu lyokka(eriri ku ddala lya Hospital) mu disitulikiti eno. Olw’omutindo omulungi ogw’obuweereza awamu nebika byendwadde ebijjanjabirwa ku ddwaliro lino, abalwadde bangi bava mu bitundu by’eggwanga ebirala okufuna obuweereza wamu n'obujanjabi obw'ekikugu mu kifo kino.

Ebyafaayo

[kyusa | edit source]

Eddwaliro lino lyatandikibwawo mu mwaka 1934 ekibiina ky'Abasiisita mu Ekeleziya Katolika ekiyitibwa Franciscan Missionary Sisters for Africa.Ekibiina ky'Abasiisita kino kyatandikibwa omukyala Teresa Kearney kyokka nga yasinga kumanyibwa nnyo nga Mother Kevin oba Mama Kevina mu mwaka 1903.[5][6]

Mama Kevina

Oluvannyuma abasiisita bano eddwaliro baalikwasa Essaza lya Ekeleziya Katolika e Jinja mu Busoga obuvunanyizibwa ku ddwaliro lino olwo essaza nalyo obuvunnanyizibwa bw'okuliddukanya nebulikwasa ky'Abasiisita ab'omukitundu ekya Little Sisters of St. Francis. Mu ntandikwa eddwaliro lino lyasinga kujjanjaba bulwadde bwa bigenge, obwali busasaanidde mu bitundu bya Busoga era nga lyayitibwanga St. Francis Leprosy Center nga terinasuumusibwa kutuuka ku ddaala lya ddwaliro ddene mu mwaka 2003.[7][8] [9]

Wanda Blenska omukugu mu kujanjaba ebigenge

Munnansi wa Poland Wanda Błeńska, (mu kifananyi) yali mukugu mu kujjanjaba endwadde y'ebigenge era yakolera e Buluba okuva mu 1951 okutuuka 1994 era obujanjabi ye ne banne bwebawanga abalwadde mu ddwaaliro lino nebulifuula lya tutumu nnyo mu Uganda n'ensi eziriraanyewo. [10] Olwokuba nga obulwadde bw'ebigenge bwalumanga abantu oluusi nebutuuka okubalutulako ebitundu by'omubiri eby'enjawulo, omukugu Błeńska yatandikawo ekitongole mu ddwaliro lino ekifulumya ebitundu by'emibiri ebikolerere okusobola okugondeza abajanjabibwa obulamu. Obulwadde bw'ebigenge bwebwagenda bukendeera mu bantu eddwaliro lino lyayongera ku bunji bw'endwadde ezijanjabwa era kwekugattako akafuba . Woosomera bino nga eddwaliro lino lyaggulwawo eri abalwadde ab'endwadde zonna naye nga abalwadde b'endwadde nga akafuba wamu n'ebigenge baweebwa enkizo mu ddwaliro lino eririna ebitanda okujanjabirwa abalwadde ebiwera 120.[11]

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://web.archive.org/web/20141031034754/http://www.hopeinstituteuganda.org/medical-mission/buluba-hospital/
  2. Template:Google mapshttps://www.google.com/maps/dir/Mayuge/Buluba+Hospital/@0.4885553,33.3627631,12z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177e5e5f15195c8f:0x4ce2390c51f61a7a!2m2!1d33.4803889!2d0.4562893!1m5!1m1!1s0x177e61cf1d558897:0x7514e52186c8285b!2m2!1d33.3851337!2d0.4918682!3e0
  3. Template:Google mapshttps://www.google.com/maps/dir/Iganga+Hospital,+Main+St,+Iganga/Buluba+Hospital/@0.5919354,33.3214637,11z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177ef28a38228fed:0xccacb96023ec8515!2m2!1d33.4850604!2d0.6161948!1m5!1m1!1s0x177e61cf1d558897:0x7514e52186c8285b!2m2!1d33.3851337!2d0.4918682!3e0
  4. Template:Google mapshttps://www.google.com/maps/place/0%C2%B029'32.0%22N+33%C2%B023'06.0%22E/@0.4922238,33.3850104,196m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.4922222!4d33.385
  5. https://www.thebostonpilot.com/article.php?ID=174295
  6. https://www.fmsa.net/index.php?option=com_content&task=view&id=62&Itemid=58
  7. https://leprosyhistory.org/database/archive631
  8. https://www.ucmb.co.ug/hospital/st-francis-hospital-buluba/
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2017-02-24. Retrieved 2024-09-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. http://www.bmj.com/content/350/bmj.h640
  11. https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC3035960