Buvuma Island
Ekizinga Buvuma (ng'olumu kiyitibwa "Uvuma" wano awaka) ky' ekizinga ekisinga obunenne mu kajegere k'ebizinga bya Buvuma mu Nnyanja Nalubaale (Lake victoria) mu Afirika[1]
| Egwanga | Uganda | |
|---|---|---|
| Located in the administrative territorial entity | Buvuma, Central Region | |
| Located in or next to body of water | Nnalubaale | |
| Coordinate location | 0°13′0″N 33°16′0″E, 0°13′28″N 33°16′24″E, 0°14′31″N 33°16′37″E | |
| Heritage designation | National Cultural Site of Uganda | |

Gye kisangibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Akajegere k'obuzinga obumanyiddwa ng' Ebizinga by'e Buvuma kalimu obuzinga obusukka mu makumi ataano era nga busangibwa kiro mmita ntono nnyo okuva ku lubalama lw'ennyanja Nnalubaale, Uganda mu katundu akayitibwa Napoleon. Buvuma eri kiro mmita nga 25 (16 mi), bw'oba otambulidde ku mazzi, mu bukiika ddyo bw'ekibuga ekinene ekya Jinja,[2] era kiro mmita nga 90 (56 mi), mu bukiika ddyo bw'obuvanyuba bw'ekibuga ky'eggwanga ekikulu, Kampala.Ng'osaabalidde ku kidyeri ,Buvuma eri ng'essaawa emu okuva e Kiyindi.[3] Eri kitundu ku ttundutundu lya Buganda engazi, era yali ekulemberwa ng'ekitundu kya Mukono naye wano jjuuzi gavumenti ya Uganda yagifuula disitulikiti ku bwayo..

Enyinyonnyola
[kyusa | kolera mu edit source]Ekizinga ekikulu ye Buvuma, n'ettaka eriweza sikweya mayiro nga 200, n'obungi bw'abantu 20,000. kijudde ebibira, era kigendako nnyo abalambuzi abavumu abanyumirwa okulaba ebinyonyi. Ekibira kitemeddwa era ne kyokebwa okufunamu amanda wakati w'amaato asatu olunaku okutundibwa mu kibuga ekiriraanyewo e ky'e Jinja. Waliwo ebifo abiri mu mukaaga mu Buvuma ebyalekebwawo nga bya bibira.[4]
Eby'entambula n'ebyobulamu
[kyusa | kolera mu edit source]Waliwo ekidyeri ekikutuusa ku lukalu. Waliwo n'obuweereza bw'amaato amatono obutali butongole eKiyindi, omwalo omukulu oguli ku lubalama lw'enyanja Nnalubaale. Amaato agasaabaza abantu gatambula buli lunaku okuva ku bizinga okugenda e Masese omwalo oguliraanye Jinja. Waliyo amalwaliro abiri, naye ku kizinga tekuli masanyalaze. Obulwadde bwa Mmongoota n'ebivu byebisinga okweralikiriza abantu. Olwokukuba ebitundu byokukizinga byeesigama nnyo ku kukozesa amazzi g'e nnyanja agalimu obuwuka, abatuuze baakwo banguyirwa nnyo okukwatibwa obulwadde bw'Entumbi (Bilharzia).

Ebyenfuna
[kyusa | kolera mu edit source]Ekitundu kyavu nnyo bwogeraageranya ku bitundu ebirala ebya Uganda kubanga omutemwa gw'ensimbi oguba gukiweereddwa gutera okuzzibwa mu bintu ebirala nga tezinnatuuka ku kizinga.
Amazzi g'ekizinga gajjudde ebyenyanja era Abavuma n' Abasoga bavubi.
Mu 2012, Bidco Palm Oil Limited Kkampuni enkozi ya butto , yayanja enteekateeka z'okutandikawo ekiteeya 6500 (nga ze yiika 16,000) ez'esamba ly'ebinazi n'ekkolero elifulumya butto, okutandiikira mu 2013. Ne ekiteya endala 3,500, (nga ze yiika 8,600) mu nteekateeka y'abalimi ,ababirima mu ttaka lyabwe ng'omulimu enkola ya pulojekiti ya Bidco Palm Oil ku kizinga ky'e Buvuma esuubirwa okulima ekiteya 10,000 ( nga ze yiika 25,000) ng'ewedde.[5]
Ebyenjigiriza n'eddiini
[kyusa | kolera mu edit source]Ababakuzeemu abasinga tebaasoma era teboogera Lungereza (Olumu ku nnimi za Uganda entongole).
Kimu kyakusatu mu bawangaalirako basiraamu, kimu kyakusatu bakkiririza mu nnono, ne kimu kyakusatu ekirala banzikiriza ezisuusuuta Kulisitu. Pulojekiti esinze okutambula ebbanga eggwanvu ye ya Youth With A Mission (YWAM) ku kizinga Lingira.[6] Balina ebyobulamu ebisookerwako ne Pulojekiti y'ebyekulakulana ebadde etambula okuva mu 1991. Ku kizinga ky'e Buvuma, ab'ekibiina kya World Gospel Mission kikola okugema kw'abaana, Pulojekiti z'amazzi amayonjo, batendeka bamulerwa, era bavujjirira essomero lya Pulayimare.[7]
Abakiikirira mu Paalamenti
[kyusa | kolera mu edit source]
Omubaka wa Buvuma omulonde (2001-2006 ne 2006-2011 yali William Nsubuga. Yadda mu bigere bya John Richard Wasswa eyafuga okuva mu 1996 okutuuka mu 2001. Mu 2011 Migadde Robert Ndugwa yalondebwa okudda mu bigere bya Nsubuga. Mu 2016, Migadde Robert Ndugwa yaddamu naalondebwa ku kisanja ekyokubiri ekyggwako mu 2021.Yaddamu naavuganya ku kifo kye kimu mu kulonda kwa Uganda okwa bonna. okwa 2026 naawangula.[8]
Enkula y'ekizinga n'okutema ebibira
[kyusa | kolera mu edit source]Obuzinga bwakolebwa enjazi nga zaava mu biyinja eby'edda ezaakolebwa n'enjazi entono ezikutuka ku lwazi olunnene. Ebizinga ebirala y'e Bugaya, Lingira ne Namiti. Lusinga ne Mfangano biri ku nsalosalo z'e Kenya. Mu 1911 Britannica yagamba: "Ebizinga ebisinga kuno bikwatiridde ebibira ebikwafu, era ebimu ku bbyo biri ku nsozi. Obutonde bw'abwo busikiriza." Okugyako obuwanvu bw'ako, Rusinga ne Mfangano kaakano emiti gyabyo gitemeddwa.
Disitulikiti y'e Buvuma kifo kyanjawulo ekikute ebibira ebijudde ebiwuka ebyenjawulo, ebinyonyi, ebimera ebyenjawulo, nga kwotadde n'embalama z'omusenyu ku bizinga eby'enjawulo. Ebizinga birina ebyobulambuzi eby'obutonde ebiwerako ebitumbula : okwelolera ku ebinyonyi, okuba enkambi, okulaba ebisolo by'omunsiko, okutambula kw'okunyumirwa obutonde,okulambula, okuwalampa enjazi, okuvuga amaato, ebifaananyi eby'obutonde, emizannyo gy'okuvuba, emizaanyo gy'amazzi n'ebirala nkuyanja by'ogya okulaba ng'olambua mu bizinga by'e Buvuma.
Okunonyereza ku bintu eby'edda
[kyusa | kolera mu edit source]Rusinga elina obuggaga mu bintu by'edda, era Mary Leakey yavumbula akawanga ka Proconsul africanus ku kazinga kano. Okwekuusa ku kimera ky'akazinga ka Rusinga ne Mfwanganu bitwalibwa okuba essomo lya paleobotanists. Waliwo okuvumbula okwazuulibwa etterekero ly'ebyedda erya Tervuren Museum, Bubirigi, mu 1968 (ekyafulumizibwa mu 1971), ku kazinga ka Buvuma ne Bugaia mu Munyama Cave, Tonge Cave, ne Nakisito, gattako ebifo ebirala 47. Ebikozesebwa mu kubumba okuva mu 13,000 B.C. okutuuka mu 8,000 B.C. byazuulibwa.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]
- ↑ "Buvuma Island: All You Must Know Before You Go (2026) - Tripadvisor". Tripadvisor (in American English). Retrieved 2026-10-16.
- ↑ "Buvuma the united states of Uganda". New Vision. Retrieved 2022-03-05.
- ↑ https://observer.ug/business/buvuma-islands-are-the-next-frontier-for-long-term-investors/
- ↑ "Buvuma the united states of Uganda". New Vision
- ↑ BIDCO Plans 10,000 Hectare Pailm Oil Project In Buvuma
- ↑ About YWAM Buvuma Template:Webarchive
- ↑ About World Gospel Mission Buvuma
- ↑ chrome-extension://efaidnbmnnnibpcajpcglclefindmkaj/https://www.parliament.go.ug/sites/default/files/2026-06/MEMBERS%20OF%20THE%2012TH%20PARLIAMENT.pdf