Bwenyibungi=Feesinnyingi(Polyhedron)
Gakuweebwa Charles Muwanga !! Obwenyi(face) era kiba feesi. Mu sessomo ly'ekibalangulo( mu Okubala)tuzimba emiramwa mu byempimo oba essomampimo (geometry)nga tweyambisa obugambo "bwenyi" oba "feesi" ne tuzimba emiramwa:
(a) Feesinnyingi(Polyhedron)
(b) Bwenyibungi(Polyhedron)
Bwenyibungi nkula za mpimo satu(three dimensional shapes) ezirina safeesi ez'enjawulo ez'omuseetwe nga buli safeesi oba feesi "mpuyinnyingi"(polygon).Weetegereze:
(i) bwenyibungi oba Feesinnyingi(Polyhedron)
(ii)Mpuyinnyingi(Polygon)
Mu Bwenyibungi oba Feesinnyingi mulimu:
(a)Enkalubo za Polato(Platonic solids)
(b)Ekigulumiro
(e)Feesimunaana(Octahedron)
(f)Feesikuminabbiri(Dedocahedron)
(h)Feesabiri(Icosahedron)
(i)feesabirimumukaaga(Great Rhombicuboctahedron
(j)Feesinkaagamubbiri(Greatrhombicusidodecahedron)
(k)Ekigulumiro ekya feesimukaaga(Dodecagonal prism)
(l)Ekigulumiro ekya feesikumi((Octagonal prism)
(m)Ekigulumiro ekya Mpetosatu(triangular prism)
(n)Kyesatuza(cube)
Manya: Enkulungo(Sphere) n'eripuso(ellipse) si bwenyibungi kubanga enkula zino zirina feesi emu ennekulungirivu.