Charles Livingstone Mbabazi
Charles Livingstone Mbabazi (yazaalibwa 18 October 1980) mutendesi wa mupiira mu Uganda era nga tannafuuka mutendesi ya muzannyimu kiraabu ez'enjawulo okwali ne St Patrick's Athletic mu kibinja kya League of Ireland Premier Division liigi ey'okuntikko mu ggwanga lya Ireland Mbabazi era yazannyirako ne ttiimu y'eggwanga Uganda eyitibwa Uganda Cranes. Mbabazi yali wa kitone era nga asobola okuzannya nga omuteebi oba abo abaliikiriza abateebi ku njuyi ezenjawulo mu lulimi lw'omupiira abatera okuyitibwa ba winga. Ono weyazanyiranga omupiira nga ku mujoozi gwe kubeerako erinnya Mbabazi.
Emirimu gye nga omuzannyi
[kyusa | edit source]Mbabazi yeegatta ku kiraabu ya St. Patrick okuyita mu ageenti we John Fashanu era nga yava mu kiraabu ya Al Ahly SC mu liigi ya Misiri. Omupiira gwe ogwasooka mu kiraabu ya St. Patrick's athelitic gwaliwo ku lunaku lwa St Stephen's Day mu mwaka 1999 era kiraabu ye yazannya ne Athlone Town mu mpaka za Leinster Senior Cup . Mbabazi yayagalwa nnyo abawagizi ba St. Patrick bwe yateeba ggoolo ye esooka gyeyakuba kiraabu ya Longford Town mu mupiira gwa Liigi ku kisaawe ki Richmond Park. Mbabazi era ajjukirwa olwa ggoolo gyeyateba Bray Wanderersyadde nga waali waakayita ennaku nnya zokka nga afiiriddwa kitaawe ne muganda mu ggwanga Uganda.
Mu gw'omukaaga gwa 2002, Mbabzai yateeba ggoolo bwebaali bazannya HNK Rijeka mu mpaka za UEFA Intertoto Cup eza 2002 . [1] Omupiira guno gwayingira mu byafaayo eri St. Patrick's athletic oluusi eyitibwa Saints lwakuba nga bwebuwanguzi bwayo obwasooka mu mpaka za kiraabu ku lukalu lwa Bulaaya kiraabu ye bweyeyongera yo ku mutendera ogwaddako Mbabazi nateeba ggoolo endala nga yajikuba KAA Gent bwebaali bajikyazizza awaka . [2]
Mu 2003, yawalirizibwa okuwummula olw’obuzibu bweyafuna ku mutima ekyamuviirako n'okugwa nazirikira mu kisaawe mu mupiira gwa liigi bwebaali bazannya ne kiraabu ya Bohemians . Omupiira ogumusiibula ku St. Patrick's baguzzanya ne kiraabu eyalondebwa Brian Kerr mu gwekuminogumu gwa 2004 nga tannadda ku butaka mu Uganda. Mbabazi era yazannyira Uganda emipiira 36 .
Byeyawangula nga omuzannyi
[kyusa | edit source]St Patrick's Athletic
Nga Omutendesi
[kyusa | edit source]Livingstone Mbabazi y'omu ku batendesi abamanyi mu Uganda era nga kino kyeyolekera mu Kiraabu ezamaanyi zaatendese naddala mu kibinja ekyokuntiko ki Uganda Premier League. Ku kiraabu zatendese kuliko;
- Mbarara City (eno aliyo ku mulundi gwa kusatu)
- Vipers[2]
- Onduparaka (emirundi ebiri)
- Bright Stars
- Ttiimu y'eggwanga eya Somalia
- Wakiso Giants
- Lweeza
- Kyetume
- Arua Hills [1]
Okunywa omwenge
[kyusa | edit source]Mbabazi yavaayo naalangira mu June wa 2024 nti yali aludde ebbanga nga atawanyizibwa okunywa ennyo omwenge era nateegeeza nti kino kyava ku kwenyika mu birowoozo oluvanyuma lw'okufiirwa mukyala we mu mwaka 2010 bwatyo nasalawo okutandika okunywa omwenge omunji 'okuwumuza ebirowoozo' yeerabire mukyala we eyali yesse. Mbabazi yeetondera bonna beyakosa mu kiseera omwenge bwegwali gumufuukidde ekizibu era nategeeza nti yali wakyuusa okuva kwolwo.[3][4]
Ebiwandiiko ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 http://www.breakingnews.ie/sport/st-pats-through-to-intertoto-second-round-57864.html
- ↑ 2.0 2.1 http://www.breakingnews.ie/sport/st-pats-euro-dream-ends-despite-win-59611.html
- ↑ https://sports.mtn.co.ug/2024/06/26/livingstone-mbabazi-opens-up-about-addictions-and-depression/
- ↑ https://nbssport.co.ug/2024/06/26/livingstone-mbabazi-opens-up-about-decade-long-battle-with-depression/