Jump to content

Christine Apolot

Bisangiddwa ku Wikipedia

Christine Apolot musomesa wa Uganda era munnabyabufuzi. Yali ssentebe wa LC5 mu Disitulikiti y'e Kumi . Ekifo ekyo yakilondebwamu mu June wa 2016. Mu 2021 yavuganya ng’omubaka wa Palamenti akiikirira abakyala mu Disitulikiti y’e Kumi ku kibiina ekya National Resistance Movement nga asomooza Amoding Monicah.

Ebyafaayo n'obuyigirize[kyusa | edit source]

Apolot yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Kumi . Yafuna diguli esooka mu by'enjigiriza okuva mu yunivasite y'e Kumi . Alina ne Satifikeeti mu mateeka agafuga emirimu okuva mu Law Development Center (LDC). Mu March 2021, yasoma diguli ey'okubiri mu by’okuddukanya emirimu gya Gavumenti mu Uganda Management Institute (UMI).

Emirimu[kyusa | edit source]

Apolot yatandika emirimu gye ng’omusomesa wa siniya, oluvannyuma n’ayingira eby'obufuzi mu 2016 mu kibiina ekya National Resistance Movement (NRM) nga ssentebe wa Local Council 5 (LC5) mu Disitulikiti y’e Kumi . Teyakoma ku kufuuka mukyala asoose okubeera mu kifo kino mu teso sub-region wabula y'omu ku bakyala abasatu mu ggwanga lyonna abaafuuka ba ssentebe ba LC5 mu Uganda. Mu kiseera kino ye mubaka wa Palamenti akiikirira abakyala aba Disitulikiti y’e Kumi mu palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’emu.

Ebijulizidwa[kyusa | edit source]