Christine Dranzoa
| Ekikula | mukyala | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Christine | |
| Yazaalibwa nga | 1 Gusooka 1967 | |
| Gy'azaalwa | Adjumani | |
| Olunaku lwe yafa | 28 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 2022 | |
| Place of death | Kampala | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | academic, zoologist | |
| Omukozesa | Muni University | |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere | |
| Gyabeera | Arua | |
| Mmemba wa | Uganda National Academy of Sciences | |
| Awaadi z'afunye | Fellow of the Uganda National Academy of Sciences | |
Christine Dranzoa (1 Ogwoluberyeberye 1967 – 28 Ogwomukaaga 2022) yali Munnayuganda Pulofeesa mu Yunivaasite mu ggwanga, muddukanya w'ebyensoma, yali mu By'obutonde, mukugu mu bisolo eby'oku lukalu era nga mukulembeze ku kitundu. Weyafiira, yali ye Mukulu wa,[1] Muni University, emu ku yunivaasite za gavumenti mu ggwanga.[2]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu 1967, mu Disitulikiti y'e Moyo nga bwe yali emanyiddwa. Olwaleero ewaabwe wali mu Disitulikiti ya Adjumani. Christine Dranzoa yafuna Diguli esooka mu bya Saayansi mu Mbeera zeebisolo gye yafuna mu 1987, yagikolera ku Makerere University, yunivaasite esinga obukulu the oldest university mu Buvanjuba bwa Africa. Yafuna Diguli eyookubiri eya Master of Science (MSc), mu ssomo lyerimu, eno yagifuna mu 1991 era ku Makerere University. Ate yo Diguli ya Doctor of Philosophy (PhD) mu Biology nayo yagifunira ku Yunivaasite yeemu mu1997. Yafuna Satifeeki ezenjawulo mu masomo ag'enjawulo omuli mu kuddukanya emirimu, okukuuma obutonde ne mu Okutegeka bizinensi mu matendekero mu Uganda ne wabweru.[3]
Okukola kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1992 Christine Dranzoa yeeyunga ku Makerere University nga omusomesa mu Ttabi lya Faculty of Veterinary Medicine mu Department of Wildlife and Animal Resources Management,kitundu ekikwata ku Bulamu bw'omu nsiko n'emigaso egiri mu nsolo. Yali omu ku batandisi ba Wildlife and Animal Resources Department okuva mu 1992 okutuusa 2005 era yali mukulu. Ku ttabi eriyitibwa Faculty of Veterinary Medicine, yali omu ku baalitandika wamu ne banne.
Mu 2005, yeegatta ku bukulembeze bwa Makerere university gyeyalondebwa okubeera Omumyuka W'akulira ekitundu ekikkwata ku beeyongerayo mu misomo mu yunivaasite era wano yakolawo okuva mu 2005 okutuusa mu 2010. Mu 2010, Dr. Dranzoa yalondebwa ku kibinja ky'abantu basatu ekyalina okutegekera okutandika Muni University, nga eno ye Yunivaasite ya Gavumenti ey'omukaaga mu Uganda. Mu Gw'oluberyeberye gwa 2012, nga yunivaasite eno etandise okukola, Professor Dranzoa yafuuka Amyuka Omukulu waayo eyasooka.[3]
Obuvunaanyizibwa obulala
[kyusa | kolera mu edit source]Dr. Dranzoa yaweereza mu kitiibwa nga Ssabawandiisi w'ekitongole kya Forum for African Women Educationalists (FAWE). Kiddukanyizibwa bantu ba Africa era nga Ky'abwannayini nga ky'atandikibwawo mu 1992, era kikola mu nsi 32 eza African. FAWE egenderera kuwa abawala n'abakyala amanyi nga bayita mu kusoma okubawagira. KU na mmemba kuliko abalwanirizi be ddembe, abakugu mu nsonga zeekikula ky'abantu, abanoonyereza, abakozi baamabago agafuga ebyensoma, n'abakulu b'azi yunivaasite ne Minisita W'ebyensoma. Ettabi lyakyo ekkulu likyali mu Nairobi, Kenya naye nga kirina wooiisi mu mawanga agenj[4]awulo okugeza mu Dakar eangibwa mu Senegal.
Mu 2006, yali omu ku baatandikawo ekitongole kya Nile Women Initiative ekitongole ky'obwa nnakyewa nga Ky'abwannanyini ekigenderera okumalawo obuzibu obuviira ku kikula ky'abakazi mu kitundu kya Uganda ekya West Nile. Yaweereza nga Ssentebe w'ekitongole kino.
Professor Dranzoa yafulumya ebiwandiiko bingi eby'abayivu era awandiise ebitundu mu bitabo bya Saayansi nga byekuusa ku ebyo bye yakuguka mu. Ebifulumiziddwa bino byonna bisangibwa mu biwandiiko bye eby'obuyigirize.
Okufa kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 28 Ogwomukaaga 2022, Christine Dranzoa yassa ogwenkomerero ku ssaawa 9:30 ezeemisana ku Dwaliro Ekkulu Ery'e Mulago mu Kampala. Yafa alina emyaka 55.[5]
Laba na bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/prof-dranzoa-girl-rights-defender-passes-on-at-55-3863182
- ↑ http://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=39620
- 1 2 http://www.muni.ac.ug/downloads/2014/Resumes/Prof-Christine-Dranzoa-2014.pdf
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Forum_for_African_Women_Educationalists
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/muni-university-vice-chancellor-prof-christine-dranzoa-dead-3862058
Ebijuliziddwa ebweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Articles with hCards
- Abaazaalibwa mu 1967
- Abaafa mu 2022
- Abaasomerako ku Makerere University
- Abantu abava mu Disitulikiti y'e Moyo
- Abantu Abamadi
- Bannayuganda Akakulisitaayo
- Abamyuka b'abakulu ba yunivasite mu Uganda
- Bannayuganda abakyala abayivu abasibuka mu Disitulikiti y'e Moyo
- Abakozi ku ludda lw'ebyenjigiriza ku Ssettendekero wa Makerere
- Abantu abasibuka mu Kitundu kya West Nile
- Bannakibiina kya Uganda National Academy of Sciences
- Bannayuganda bannasayansi ab'ekyasa kyabiri mwekimu
- Abaasomera ku Makerere University
- Baminisita ba Uganda