Jump to content

Christopher Kakooza

Bisangiddwa ku Wikipedia

 Template:S-start Template:Succession box Template:EndChristopher Kakooza musumba mu Eklezia katulika, nga ye musumba w’essaza ly’e Lugazi, mu Uganda . Yalondebwa mu kifo ekyo nga 2 Ogwoluberyeberye 1999. [1]

Obulamu bwomubuto n’obusaserdooti

[kyusa | edit source]

Kakooza yazaalibwa nga 15 Ogwekkuminogumu 1952, mu ddwaaliro e Nsambya . Bazadde be baali babeera mu kitundu ekiyitibwa Lusaze, mu Divizoni ye Rubaga, mu Kampala, mu Ssaza ly'e Kampala . Yatuuzibwa ku busaserodooti nga 3 Ogwomukaaga 1983 mu St Mbaaga's Major Seminary, Ggaba, nga mmemba w'ekibiina kya ekyasookera ddala mu seminaliyo eyo. [2]

Yalondebwa okuba Omulabirizi omuyambi w'essaza ekkulu erya,bakatuliki erya Kampala, ne ku bwa Titular Bishop wa Casae e Numidia, nga 2 Ogwoluberyeberye 1999. [1]

Nga omusumba

[kyusa | edit source]

Yalondebwa okuba omusumba nga 2 Ogwoluberyeberye 1999. Yatukuzibwa ng’omusumba nga 17 Ogwokkuna 1999 mu Lutikko e Rubaga, entebe y’essaza ly’e Kampala, Kalidinaali Emmanuel Wamala, Ssaabalabirizi wa Kampala, ng’ayambibwako Omusumba John Baptist Kaggwa, Omusumba w’e Masaka n’Omusumba Matthias Ssekamaanya, Omulabirizi w’e Lugazi. [1] [2]

Christoper Kakooza yalondebwa okuba Omusumba w’e Lugazi nga 4 Ogwekkuminogumu 2014. Yatuuzibwa ku bwo busumba bwe Lugazi nga 3 Ogwoluberyeberye 2015 Omusumba Cyprian Kizito Lwanga Omusumba w’essaza ly’e Kampala. Yasikira Omusumba Emeritus Mattias Ssekamaanya eyawumulae, n’afuuka Owabulabirizi w’essaza ly’e Lugazi. [1] [2] [3]

Laba nabino

[kyusa | edit source]
  • Abajulizi ba Uganda
  • Obukatoliki bwa Roma mu Uganda

Template:S-start Template:Succession box Template:End

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]