Jump to content

Cindy Sanyu

Bisangiddwa ku Wikipedia
Cindy Sanyu
Munnayuganda omuyimbi Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamukyala Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeYuganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waCindy Kyusa Wikidata
Erinnya lya famireSanyu Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga28 Gwamunaana(Muwakanya) 1985 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waYuganda Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimusinger, actor Kyusa Wikidata
Inst­ru­mentvoice Kyusa Wikidata

Cinderella Sanyu ng'amanyikiddwa nga Cindy oba Cindy Sanyu erinnya erikola ensimbi nga munaayuganda omuyimbi.[1] Y'omu ku baatandikawo ekibiina kya Blu*3 ekyalimu Lilian Mbabazi ne Jackie Chandiru.[2] Ayimbyeko ne ba P-Square, Wahu, Beenie Man, Ne-Yo, Tiwa savage, Bobi Wine, Shaggy, Chameleon, Bebe Cool, Davido, Mr. G and Radio & Weasel.[3]

Obulamu bwe n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Cindy yazaaliwa nga 28 Ogwomunaana 1985 mu Kampala, Uganda[4] wabula ng'asibuka mu Disitulikiti y'e Mbale.[5]

Cindy Sanyu.jpg

Cindy yatandika okuyimba ng'alina emyaka mukaaga mu kkanisa y'okukyalo mu kabuga Ntinda. Yeetaba mu mpaka ezaategekebwa omukutu gwa Leediyo Capital ezaali ez'okunoonyezaamu ebitone ng'alina emyaka 16.[6] Yakwata kifo kya kusatu.Yakola n'afulumya ennyimba Steve Jean eyakakasa nti yeetaba mu mpaka z'okuyimba ezaali ziyitibwa "Coca-Cola Pop Stars", ekyavirako okutandikibwawo kwa Blu*3 mu 2003.[4] Ng'ali ne Blu*3, Cindy yafuna obuwanguzi mu kisaawe ky'okuyimba bwe yawangula eky'omuyimbi oba ekibiina ekisinga mu Uganda ne vidiyo eyali esinga mu Uganda ku 2005 ebya Kisima Music Awards, vidiyo y'omwaka "Hitaji" mu 2005 ku Pearl of Africa Music Awards[7], ne vidiyo y'omwaka "Burrn"mu 2007 mu Pearl of Africa Music Awards[8] n'alondebwa ne ku by'ekibiina ekyali mu 2005 ku Kora Awards, Olutambi lwa Hitaji olwaali lusinga mu Buvanjuba bwa Afrika 2005 mu Tanzania Music Awards[9]- Vidiyo ya 'Frisky' eyali esinga mu buvanjuba bwa Afrika mu 2006 ku Channel O Music Video Awards,[10] Ekibiina ekyali kisinga ate ekyasinga okuyimba mu bikujuko bya 2009 ebya MTV Africa Music Awards[11], n'oluyimba lwa ''Where you are'' olwasinga mu Buvanjuba bwa Afrika nga bali ne Radio & Weasel mu bikujuko bya 2010 ebya Tanzania music awards.

Cindy yava mu kibiina kino, mu 2008,[12] yadda mu kuyimba ng'ali yekka. 'Ayokyayokya' lwe luyimba lwe yasooka okufulumya mu 2009 ng'ali yekka olwakulembera ennyimba mu Buvanjuba bwa Afrika nga kwe kuli ''Mbikooye" ne "Nawewe", "Ayokyayokya", ne "One and Only".[13] Alina ennyimba endala ezaakwata abantu omubabiro nga "Selekta".

Okuzannya katemba

[kyusa | kolera mu edit source]

Cindy yatandika okuzannya katemba mu muzannyo gwa Bannayuganda ogwalimu n'okuyimba ogumanyikiddwa nga Bella mwe yazannyira nga Bella, ng'era ye yali akulmberamu. Okuzannya kwe kwamuviirako okulondebwa ku kya awaadi y'okubeera omuzannyi omuto asinga mu bikujjuko bya Africa Movie Academy Awards, omufirika eyali akulembera mu ffirimu nga si nzaalwa z'e Nigeria ku bikujjuko bya Nigeria Entertainment Awards, n'omuzannyi omukazi asinga ku bikujjuko bya mu 2018.[14][15][16] Oluvannyuma yakola ffirimu endala eyitibwa November Tear eyafulumizibwa mu 2019.[17]

Cinderella Sanyu yaliko mu mukwano ne Mario Brunetti ne bazaala n'omwaana ow'obuwala, Amani.[18] Yayanjula omuzannyi wa ffrimu, azifulumya wamu n'okuziteekateka Joel Okuyo Prynce mu Gwokusatu mu 2020 mu Kampala.[19] Yafumbirwa Joel Okuyo Prynce nga 11 Ogwekumineebiri mu 2021.[20][21] Yamuzaalira omwana we asooka[22] ng'era asuubira omwana ow'okubiri mu bwangu ddala.

Emirimu gy'obukulembezze

[kyusa | kolera mu edit source]

Cindy esaawa eno akola ng'omukulembezze w'ekibiina ky'abayimbi ekiyitibwa ''Uganda Musicians’ Association'' (UMA) oluvannyuma lwa Ykee Benda okulekulira omulimu guno, nga Cindy we yaviirayo okukwata mu ngatto zino nga pulezidenti wakyo.[23]

Cinderella Sanyu yaliko mu mukwano ne Ken Muyisa. Mu kuva mu Blu*3, abayimbi bane we baali mu kibiina kino, Jackie Chandiru ne Lillian Mbabazi baali bagamba nti, " teyali w'amazima ng'ate ssi mulambulukufu"[24] olw'ensonga eyamuviirako okugenda. Terwalwa nga Cindy atandise okuyimba yekka n'oluyimba lwe olwakwata abantu omubabiro nga; Ayokyayokya, Amateeka, Party, Selecta, Ndi mukodo, Run this city n'endala.

Ebika by'ennyimba

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Mbikoye
  • Amateeka
  • One and only
  • Party
  • Total satisfaction
  • Nawewe
  • Selekta
  • Tempo remix
  • Ndi mukodo
  • Samodat
  • Dat dat
  • Run this city
  • One by one ft Skales
  • Dancehall ft Eddy Kenzo
  • Onnina
  • Faded
  • Copicat
  • Boom party
  • The King Herself, 2019
  • Ayokyayokya, 2009

Awaadi n'ebyasimiddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Omuyimbi omukazi eyali asinga mu mwaka mu bikujjuko bya DIVA awards mu 2009[25]
  • Teenies' dancehall artiste in Buzz teenies awards, 2010[26]
  • Omuyimbi omukazi eyali asinga mu mwaka, mu bikujuko bya Buzz teenies awards, 2010[26]
  • Mu za Afrima awards ku ku ky'omuyimbi omukazi eyali asinga mu buvanjuba bwa Afrika mu 2016
  • Bingwa awards, omuyimbi eyali asinga okuva mu Uganda mu 2016

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2017-10-06. Retrieved 2022-11-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://fienipalyrics.appspot.com/node/1406
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-14. Retrieved 2022-11-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. 1 2 https://web.archive.org/web/20150707184501/http://www.newvision.co.ug/D/9/35/674151
  5. https://bigeye.ug/ugandan-music-artistes-and-their-districts-of-origin/
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-14. Retrieved 2022-11-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://web.archive.org/web/20070702053829/http://pamawards.com/pages/2005.php
  8. http://www.museke.com/node/1617
  9. https://web.archive.org/web/20060515123130/http://www.kilitimetz.com/2005/awards/vote.html
  10. http://africa.bizcommunity.com/Article/157/66/11163.html
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2009-10-14. Retrieved 2022-11-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2019-07-17. Retrieved 2022-11-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. https://web.archive.org/web/20131125181813/http://www.hipipo.com/people/45/CINDY/bio/125/2010-Review--Cindy-Consolidated-Her-Achievements-
  14. "Archive copy". Archived from the original on 2019-12-10. Retrieved 2022-11-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  15. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1481313/uganda-record-nominations-africa-oscars
  16. https://satisfashionug.com/uganda-film-festival-2018-see-official-list-of-nominees/
  17. https://chimpreports.com/cindy-sanyu-lands-on-lead-role-in-november-tear-movie/
  18. https://www.monitor.co.ug/artsculture/Heart-to-Heart/Mario-didn-t-want--marriage--so-I-left/691230-3109780-h1neyvz/index.html
  19. https://web.archive.org/web/20201017160618/https://www.mywedding.co.ug/real-stories/202003/singer-cindy-gets-engaged-to-movie-star-joel-atiku.html
  20. https://www.newvision.co.ug/articledetails/122189
  21. "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-27. Retrieved 2023-07-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  22. https://www.tuko.co.ke/entertainment/celebrities/441615-ugandan-singer-cindy-sanyu-husband-child-together/
  23. https://mbu.ug/2021/04/02/former-uma-president-amazed-by-cindy-sanyus-efforts/
  24. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-14. Retrieved 2022-11-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  25. https://archive.today/20150105204308/http://www.newvision.co.ug/D/9/34/704213
  26. 1 2 https://www.google.com/search?q=awards+and+recognitions+for+cindy+Sanyu