Jump to content

Dan Birikwalira

Bisangiddwa ku Wikipedia

Dan Birikwalira (yazaalibwa 5 Ogwolubereberye 1996) munna Uganda omuzannyi w'omupiira ku kiraabu ya Gaddafi FC mu liigi ya Uganda ey'okuntikko . [1] [2]

Obuto bwe n'okutandika okuzannya omupiira

[kyusa | edit source]

Dan Birikwalira yazaalibwa mu disitulikiti ya Mukono era olugendo lw’okuzannya omupiira yalutandika akyali muto ddala. Yadde nga Birikwalira aweza obuwanvu bwa mita emu n’ekitundu zokka, ono muzibizi omu ku abo abalina erinnya olw’obuvumu n’obukugu bwe mu kuzibira newankubadde nga abateebi nabazannyi abalala baatera okuzannya nabo bamusinga obuwanvu. Omupiira ogwensimbi yagutandikira mu kiraabu ya Vipers SC, era nga yazannyanga nga omuzibizi ku luuyi olwa kkono. Birikwalira yazannyirako ne kiraabu okuli Bright Stars FC ne Kyetume FC, ku buyazike nga anoonya obumanyirivu okumusobozesa okuzannya mu kibinja ekisinga okuba ekyawaggulu mu Uganda. [3] [4]

Kiraabu zazannyidde

[kyusa | edit source]

Vipers SC

[kyusa | edit source]

Birikwalira omupiira yagutandikira ku ssomero lya St. Mary's SS Kitende mu mwaka 2008 oluvannyuma n'agenda mu Rilley Packaging Mukono mu sizoni ya 2010/11. Yazannyirako ne ttiimu ya Kampala Junior Team (KJT) okuva mu 2011 okutuuka mu 2013 era bwatyo mu mwaka 2014 naweebwa endagaano ku kiraabu enkulu eya Vipers SC era nagizannyira okumala emyaka mukaaga [5]

Ku kiraabu enkulu eya Vipers SC, Birikwalira yazannya emipiira ku mutendera gwa Uganda kwossa negyo egiri ku ddaala lya ssemazinga Afirika era nga ali ku Vipers yasobola okuwangula liigi ya Uganda Premier (UPL) . Olwokuvuganya okwamaanyi ku kirabu ya Vipers SC Birikwalira teyafuna bulungi budde bumala kuzannya era bwatyo nayazikibwa ku kiraabu ezenjawulo asobole okukuza ekitone kye.

Bright Stars FC ne Kyetume FC

[kyusa | edit source]

Mu biseera bye yamala ku bwazike mu Bright Stars FC ne Kyetume FC, Birikwalira yayongera okwolesa obukugu mu kuzibira naddala ku luuyi olwakkono era nayongera okufuna obumanyirivu okuzannya mu kibinja kya liigi ya Uganda eyoku ntikko. [6]

Doves All Stars FC

[kyusa | edit source]

Mu mwaka 2020, Birikwalira yassa omukono ku ndagaano ya myaka ebiri okuzannyira Doves All Stars FC nga eno kiraabu ezannyira mu kibinja ekiddirira ekyokuntikko mu Uganda ekya FUFA Big League era nalaga obumalirivu okusobola okuyamba kiraabu eno okusuumusibwa okuzannyira mu liigi enkulu eya Uganda Premier League .

Gaddafi FC

[kyusa | edit source]

Mu mwaka 2022, Birikwalira yegata ku kiraabu ya Gaddafi FCera era agizannyidde mu mpaka za liigi ya Uganda n'ebikopo ebirala nga Uganda Cup.

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | edit source]
  1. https://www.footballdatabase.eu/en/player/details/289890-dan-birikwalira
  2. https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/score/vipers-miya-leads-top-stars-1611876
  3. https://kawowo.com/2020/09/02/dan-birikwalira-inks-two-year-deal-at-doves-all-stars-football-club/
  4. https://www.footballdatabase.eu/en/player/details/289890-dan-birikwalira
  5. https://chimpreports.com/arua-hill-unveils-former-vipers-left-back-birikwalira/
  6. https://www.flashscore.com/player/birikwalira-dan/CMyrP5Nl/