Daniel Kaluuya
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Great Britain | |
| Erinnya eriweereddwa | Daniel | |
| Erinnya lya famire | unknown value | |
| Yazaalibwa nga | 24 Gwakubiri (Mukutulansanja) 1989 | |
| Gy'azaalwa | Camden Town | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Field of work | film production | |
| Gyeyasomera | St Aloysius' College, Anna Scher Theatre, The Camden School for Girls, St Aloysius RC College | |
| Gyabeera | West London | |
| Ebbanga ly'akoledde (okutandika) | 2006 | |
| Awaadi z'afunye | Academy Award for Best Supporting Actor, Time 100, BAFTA Award for Best Actor in a Supporting Role | |
| Nominated for | Academy Award for Best Actor, Academy Award for Best Supporting Actor | |
| IMDb ID | nm2257207 | |
Daniel Kaluuya ( /k ə ˈ l uː j ə / ; yazaalibwa 24 Ogwokubiri 1989) muzannyi wa firimu Omuzungu.[1][2] Emirimu gye gizingiramu okulabikira ku butambi ne ku siteegi, era by'eyafuna ng'akasiimo olw'emirimu gye mulimu Awaadi nda Academy Award, BAFTA bbiri, Actor Awards bbiri, ne Golden Globe, okwongereza kw'ezo era yasunsulwamu mu mpaka z'awaadi ya Laurence Olivier Award ne Emmy Award. Mu 2021, ab'akatabo ka Time bamuwandiikako mu bantu 100 abasinga amaanyi mu nsi yonna.[3]
Kaluuya yatandika okuzannya katemba ng'akyali mutiini mu mizannyo emiyiiye egitalina biwandiiko bigobererwa.[4] Yazannya nga Posh Kenneth mu sizoni bbiri ezaasooka mu muzannyo gwa ttivvi ogwa Skins (2007–2009); era ye yawandiika ebimu ku bitundu ebyazannyibwa.[5] Kaluuya yasiimibwa olw'okukulembera mu firimu ya Sucker Punch mu Royal Court Theatre mu 2010.[6] Yagenda mu maaso n'okufaayo olw'emirimu gye egy'oku ttivvi mu Psychoville (2009–2011), The Fades (2011), n'ekitundu kya Black Mirror " Fifteen Million Merits " (2011).[7] Yalina elina ebifo by'eyazannya mu firimu nga Johnny English Reborn (2011), Kick-Ass 2 (2013), ne Sicario (2015).
Mu 2017, Kaluuya yasamba akaggi bwe yazannysa mu firimu ya Jordan Peele eyali ey'entiisa eya Get Out, eyamufunisa omukisa okusunsulwamu mu mpaka era n'okuwangula engule y'omuzannyi asinze eya Academy Award for Best Actor.[8] Kino kyaddirirwa emirimu n'ebifo bye yazannya mu firimu ya Ryan Coogler ey’abazira abakulu Black Panther (2018), filimu ya Steve McQueen eyitibwa Widows (2018), firimu ya Peele ey'entiisa Nope (2022), ne mu katuuni wa Sony Pictures Animation ow'abazira Spider-Man: Across the Spider-Verse (2023). Olw’okulaga omukulembeze w’ekibiina kya Black Panther Fred Hampton mu firimu ya Judas and the Black Messiah (2021), yawangula engule ya BAFTA ne Academy Award for Best Supporting Actor.[9] Okuva olwo abadde muyambi wa dayilekita w'omuzannyo gwa The Kitchen (2023).
Obuto bwe n'obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Kaluuya yazaalibwa nga 24 Ogwokubiri 1989 [10] mu kibuga London eri abazadde Bannayuganda, nga baali Basoga n'a Baganda okuva mu Divizoni y'e Makindye.[11][12] Maama we[13][14] yamukuliza mu council estate mu kibuga kye Camden, wamu ne mwannyina omukulu. Kitaawe yali abeera mu Balaka, eky'e Malawi, era baali tebawuliziganya okutuusa lwe yaweza emyaka 14.[15] Kaluuya yasomera mu ssomero lya Torriano Primary School, ne St Aloysius' College, Highgate.[14] Oluvannyuma yakola eby'afaayo okuzannya katemba ne bayologye mu A-level mu Camden School for Girls mu siniya yaayo ey’omukaaga ey’okusomera awamu.
Kaluuya yawandiika omuzannyo gwe ogwasooka ku myaka mwenda, oluvannyuma n’atandika okuzannya katemba ku siteegi.[4] Yatandika okuzannya katemba ng’akyali mwana muto mu ssomero lye erya Anna Scher Theatre School ne WAC Arts mu kitundu kye.[16]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]2006–2009: Entandikwa y’emirimu gye n'efirimu ya Skins
[kyusa | kolera mu edit source]Kaluuya yalabikira mu firimu ye eyasooka mu 2006 nga Reece mu muzannyo gwa BBC ogwabaddemu okusika omuguwa ogwa Shoot the Messenger.[4][14] Kaluuya oluvannyuma yegatta bazannyi mu firimu ya Skins nga Posh Kenneth; era yali muwandiisi mu sizoni ebbiri ez'asooka mu muzannyo guno, wamu n'okubeera omuwandiisi omukulu ow'ebitundu ebyatuumibwa "Jal" ne "Thomas".[17]
Oluvannyuma lwa Skins, Kaluuya yalabikira ng'omugenyi mu mizannyo gya ttivvi mingi egy'ettutumu nga Silent Witness, Doctor Who ey'enjawulo " Planet of the Dead ", ne Lewis. Era alabiseeko mu pulogulaamu ya That Mitchell and Webb Look emirundi ebiri era ng'omuzannyi asinga okwagalwa abalabi "Parking Pataweyo" mu Harry & Paul. Kaluuya era yakola eddoboozi ly'omuzannyi mu pulogulaamu ya BBC Radio 4 eya Sneakiepeeks.[18] Mu 2009, yafuuka omuzannyi w'olulango mu firimu ya katemba ku ITV comedy FM. Ku nkomerero ya 2009, magazini ya Screen International Magazine yalonda Kaluuya mu lipoota yaabwe ey’omwaka ng’emmunyeenye ya Bungereza ey’enkya.[19]
2010–2018: Siteegi, Get Out, ne Black Panther
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2010, Kaluuya yazannya ekifo ng'omuzannyi omukulu mu firimu ya Roy William Sucker Punch mu Royal Court Theatre e London; Kaluuya yawangula okusiimibwa ennyo olw’omuzannyo gwe era yawangula engule zombi omuli eya Evening Standard Award ne Critics’ Circle Theatre Award ng'omuzannyi omupya asukkulumye ku balala.[20] Okuva mu 2009 okutuuka mu 2011, yazannya Michael "Tea Leaf" Fry mu firimu ya BBC eya Psychoville . [21]

Wakati wa 2011 ne 2013, Kaluuya yalabikira mu firimu ennyimpi eziwerako, okusinga mu firimu ya Daniel Mulloy eya Baby, eyasooka okulagibwa mu bikujjuko bya firimu ebya Sundance Film Festival, era n'agenda n'awangula engule ya firimu ennyimpi ezisinga obulungi mu mpaka za Edinburgh International Film Festival, awamu n'engule ya firimu ennyimpi ezisinga obulungi mu mpaka za British Independent Film Awards.[20] Mu 2011, yalabikira mu bitundu ebyali by'ongereza ku firimu ya Johnny English, eya 2003 eyatuumibwa Johnny English Reborn, nga Agent Tucker.[20] Era mu 2011, yazannya ekifo kya Mac Armstrong mu muzannyo gwa BBC3 ogw'omuzannyo ogusukkulumye ku butonde ogwa The Fades.[20] Mu 2013, yalabikira mu firimu ya ‘superhero comedy’ eya Kick Ass 2.[22] Mu 2015, yazannya nga Agent wa FBI mu firimu ya Denis Villeneuve eya Sicario.[23][24]
Kaluuya yazannya ng'omu ku bazannyi abakulu ng'ali ne Jessica Brown Findlay mu "Fifteen Million Merits", ekitundu ky'omuzannyo gw'ebitabo Black Mirror, gwe yafuna endowooza ennungi okuva mu bakennenyi.[25] Ekitundu kino kyasooka kulagibwa ku Channel 4 mu 2011, kyokka kyafuna ettutumu oluvannyuma lw’okufulumizibwa ku Netflix mu Amerika.[26] Engeri gye yazannyamu mu Black Mirror gwe gwasikiriza Jordan Peele, ng'ono yamuteeka ku lukalala lw'abazannyi abaazanya mu firimu ye eya Get Out, ng'eno yeyamukubira akaggi mu kisaawe ky'okuzannya firimu.[27][28]
Engeri Kaluuya gye yazannyamu mu Get Out, eyafulumizibwa mu sinema nga 24 Ogwokubiri 2017,[29] gwasikiriza nnyo abasuutiriza.[30][31] Steven Gaydos owaVariety yawandiika nti "entiisa, okusika omuguwa, okusesa, n'obusungu bw'ekikolwa kino eky'amaanyi eky'okutebenkeza mu sinema byonna bibeera ku bibegabega bya munnakatemba ono omuto Omuzungu omugezigezi anyumya n'okwoleka okweraliikirira kw'ensi yonna nga tafiiriddwako ndagiriro ya waka enkulu ey'omuzira we Omufirika-Amerika eyali aziyiziddwa." [31] Richard Lawson owa Vanity Fair omuzannyo gwa Kaluuya yaguyita "muzannyo gwa katemba ogw'ekikugu."[32] Olw'engeri gye yalabikamu mu firimu eno, yafuna ebirabo bingi, omuli n'okusunsulwamu mu baali bavuganya ku ngule ya Academy Award ku kifo ky'omuzannyi asinze. Era yafuna okusunsulwamu okuwangula awaadi ya BAFTA,[33] Critics' Choice Award,[34] Golden Globe Award,[35] ne SAG Award[36] olw'omulimu gwe. Mu 2018, yafuna awaadi ya BAFTA Rising Star Award.[37]
Mu Gwekkumineebiri 2016, Kaluuya yali omu bazannyi abalabikira mu firimu ya Marvel Cinematic Universe eyatuumibwa Black Panther.[38] Firimu eno yafulumizibwa nga 16 Ogwokubiri 2018, mu Amerika.[39] Kaluuya era yalina ekifo eky'amaanyi era ekinene mu firimu y’obubbi eya Widows (2018), era yazannya mu firimu eyali atambulira ku luguudo/obumenyi bw’amateeka eya Queen & Slim (2019), ne Jodie Turner-Smith .
Mu 2018, yeegatta ku bakola amaloboozi mu firimu ya BBC ne Netflix eya Watership Down.[40]
2019–kati: Nope, Judas, Barney, ne The Kitchen
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwekkumi 2019, kyalangirirwa nti Kaluuya yali agenda kukola firimu ey’amaanyi ey'esigamiziddwa ku pulogulaamu ya ttivvi y’abaana eya Barney & Friends ng’ayita mu kkampuni ye eyaakatandikibwawo ekola firimu 59%, ng’ali wamu ne Mattel Films. Okusinziira ku Kaluuya, firimu ya Barney "yali yakwewunyisa abalabi n'okumenya ebisuubirwa." [41] Mu Gwokubiri 2025, kyalangirirwa nti Ayo Edebiri yali mu nteeseganya okuzannya firimu n’okuwandiika firimu eno mu A24.[42]
Mu 2020, Kaluuya yalangirirwa okufulumya n'okuzannya mu firimu eyakyusibwa okuva mu kitabo kya Femi Fadugba ekyasooka ekya The Upper World ku Netflix. Mu 2021, yazannya nga Fred Hampton omukulembeze w’enkyukakyuka mu by’obulamu mu muzannyo ogukwata ku bulamu bwa Judas and the Black Messiah. Omutindo gwe mu firimu eno gwasiimibwa bakalondoozi,[43] era n'awangula awaadi ya Academy Award for Best Supporting Act, BAFTA Award for Best Actor in a Supporting Role, Critics' Choice Movie Award for Best Supporting Actor, Golden Globe Award for Best Supporting Actor – Motion Picture ne Screen Actors Guild Award olw'okuzannya obulungi okwakolebwa munnakatemba omusajja mu kifo ekiwagira; [44][45] Kino kyamuguula omuzannyi yekka omwaka ogwo eyawangula engule zonna ettaano ez'amaanyi eza firimu. Ku myaka 32, Daniel Kaluuya yafuuka omuwanguzi omuto mu kifo eky'omusanvu okuwangula awaadi ya Academy Award Best Supporting Actor.
Ku ntandikwa ya 2021, Kaluuya yali omu ku bazannyi abaalabikira mu firimu ya Peele eya sci-fi horror Nope, ng'ali wamu ne Keke Palmer ne Steven Yeun. Firimu eno yafulumizibwa nga 22 Ogwomusanvu 2022 n’esiimibwa nnyo era yayogerwako ebirungi bingi.[46][47][48] Olw'obutakkaanya mu nteekateeka ne Nope, kyalangiriddwa nti Kaluuya yali tagenda kuddamu kuzannya kifo kye nga W'Kabi mu firimu ya Black Panther eyali egenda okuddako, Black Panther: Wakanda Forever.[49] Mu Gwokuna, Kaluuya yategeka ekitundu kya Saturday Night Live, ng’omugenyi omuyimbi St. Vincent.[50] Kaluuya era yagattibwa ku lukalala lwa Time ' 2021 olw'abantu 100 abasinga okubeera ab'amaanyi mu nsi yonna . [51]

Mu Gwokusatu 2022, kyazuulibwa nti Kaluuya yali awandiika katemba wa dystopian ku Netflix, gwe yatuuma The Kitchen, nga Kibwe Tavares agenda kubeera dayilekita. [52] Omuzannyo guno gw'azannyibwa Kane Robinson ne Jedaiah Bannerman, era ne guwandiikibwa Joe Murtagh, era gw'afulumizibwa Michael Fassbender.[53] Mu Gwomunaana 2023, ekitongole kya British Film Institute kyalangirira nti firimu eno yali y'akusooka okulagibwa ku mukolo ogwali guggalawo ebikujjuko bya firimu ekya London Film Festival eky'omulundi ogwa 67 nga 15 Ogwekkumi 2023.[54] The Kitchen yafulumizibwa ku Netflix nga 19 Ogwoluberyeberye 2024.[55]
Mu Gwokutaano 2022, kyalangirirwa nti Kaluuya ye yali omunyumya w'emboozi y'ebyemizannyo eya Amazon Prime All or Nothing: Arsenal, eyagoberera ttiimu ya Bungereza eya Premier League Arsenal emabega w'empenda mu sizoni yaayo yonna eya 2021–22.[56][57] Mu Gwekkuminogumu 2022, Kaluuya yakakasibwa okuzannya ekifaananyi kya Hobart "Hobie" Brown / Spider-Punk mu firimu ya Spider-Man: Across the Spider-Verse.[58]
Mu Gwekkumi 2024, ekibumbe kya Kaluuya kyazimbibwa mu kibuga London okussa ekitiibwa mu mulimu gwe yakola mu Get Out.[59]
Mu Gwomusanvu 2025, kyategeezebwa nti Kaluuya yali agenda kuwandiika screenplay ya firimu ya Spider-Punk spin-off eya katooni.[60]
Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | kolera mu edit source]
Kaluuya abeera mu West London.[61] Muwagizi wa Arsenal FC, okutuuka ku ddaala ly'okujuliza abavuganya Arsenal mu North London, Tottenham Hotspur FC, nga "tiimu etateekwa kuweebwa linnya" ne " Voldemort of the League".[62] Mu Gwomunaana 2022, Kaluuya yakola ng'omunyumya mu All or Nothing: Arsenal, ebiwandiiko ebikwata ku sizoni ya Arsenal eya 2021–22.[63] Mukristaayo era yakkirizza okukkiriza kwe mu kwogera kwe mu mpaka za Oscar.[64] Ye godfather wa mutabani w'eyali munne mu Skins Kaya Scodelario.[65]
Mu Gwokubiri 2022, kyategeezebwa nti Kaluuya yali agobye ba agenti be mu kitongole kya Creative Artists Agency "mu ngeri ey'ekikangabwa" wamu n'omukozi we ow'obuntu, omukugu mu by'amawulire n'abayambi be abawerako. Kyategeezeddwa nti mu kusalawo kuno yakwatibwako omuntu amanyiddwa nga "Heir Holiness" eyeeyogerako nga "personal manager" wa Kaluuya era "life strategist" wamu ne "Head Mistress" wa "The International Alma Mater, Blessed University." [66][67] Ayongedde okwewozaako nti alina diguli mu by'obulamu ebijjuvu ne "Parapsychic Science" okuva mu American Institute of Holistic Theology. Ensonda zaategeezezza Page Six ne Matthew Belloni nti yali ku siteegi mu kiseera ky'okukwata firimu ya Nope era enneeyisa ye "yaleetedde abantu ku siteegi okweraliikirira olw'obuyinza bwe yali ayolesa ku" Kaluuya. Mu kiwandiiko kye yafulumya mu Gwokusatu 2022, yeegaana Page Six nti amanyi Kaluuya.[67]
Ebiwandiiko by’okuzannya katemba n’okusiimibwa
[kyusa | kolera mu edit source]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Olukalala lwa bannakatemba Abazungu
- Olukalala lw'abawanguzi b'Awaadi ya Academy Award n'abasunsuddwa okuva mu Great Britain
- Olukalala lw'abavubuka abawangudde awaadi ya Academy Award mu kuzannya katemba asinga obuyambi
- Olukalala lwa bannakatemba abasunsuddwa ku awaadi ya Academy Award
- Olukalala lwa bannakatemba abasunsuddwa mu mpaka za Academy Award ezisukka mu emu mu biti by’okuzannya katemba
- Olukalala lw'abawanguzi ba Black Golden Globe n'abasunsuddwa
- Olukalala lw'abawanguzi ba Golden Globe
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Daniel Kaluuya | Movies, Skins, & Black Panther | Britannica". Encyclopædia Britannica (in Lungereza). Archived from the original on 2025-12-11. Retrieved 2026-01-16.
- ↑ Tilley, Margaret (2020-10-23). "Daniel Kaluuya". African Film and Arts Foundation (in American English). Retrieved 2026-01-16.
- ↑ "Daniel Kaluuya: The 100 Most Influential People of 2021". TIME (in Lungereza). 2021-09-15. Retrieved 2026-09-08.
- 1 2 3 Getz, Dana. "Who Is Daniel Kaluuya? The 'Get Out' Star Is Multi-Talented". Bustle (in Lungereza). Archived from the original on 27 February 2023. Retrieved 27 December 2017.
- ↑ "Teen writers show their 'Skins'". The Independent (in British English). 11 February 2008. Archived from the original on 22 August 2018. Retrieved 27 December 2017.
- ↑ "The London Film Critics' Circle Hands Out Nominations To Regina King, Cynthia Erivo And Daniel Kaluuya". SHADOW & ACT (in Lungereza). Archived from the original on 10 January 2020. Retrieved 28 May 2020.
- ↑ Adewunmi, Bim (1 April 2017). "Why I love... actor Daniel Kaluuya". The Guardian (in British English). ISSN 0261-3077. Archived from the original on 11 November 2020. Retrieved 28 May 2020.
- ↑ "Oscar nominee Daniel Kaluuya on 'Get Out': 'I was like, are you allowed to make films like this?'" (in Lungereza). ABC News. Archived from the original on 25 February 2021. Retrieved 10 March 2021.
- ↑ "Daniel Kaluuya becomes first Black british actor to win Academy Award". Channel 4. 26 April 2021. Archived from the original on 1 January 2023. Retrieved 1 January 2023.
- ↑ "Today in History, February 24: The calendar gets a massive makeover". The Tennessean. 24 February 2020. Archived from the original on 28 April 2021. Retrieved 24 July 2020.
- ↑ "I am proud of my roots, says Kaluuya". New Vision. 2 March 2018.
- ↑ "Oscar nod for Uganda's own Daniel Kaluuya". The Citizen (in Lungereza). 2021-04-02.
- ↑ Collin, Robbie (13 February 2018). "Black Panther star Daniel Kaluuya: 'Nobody says a word when a white actor goes to LA'". The Daily Telegraph. Archived from the original on 11 January 2022. Retrieved 10 August 2018.
- 1 2 3 "Daniel Kaluuya's Journey from the Streets of London to Hollywood". Vice (in American English). 24 February 2017. Archived from the original on 27 December 2017. Retrieved 27 December 2017.
- ↑ Sulcas, Roslyn (4 January 2018). "Daniel Kaluuya Isn't Waiting for Your Approval". The New York Times (in American English). ISSN 0362-4331. Archived from the original on 10 March 2018. Retrieved 7 January 2018.
- ↑ Osley, Richard (19 February 2018). "Daniel Kaluuya thanks north London arts centres as he wins BAFTA". Camden New Journal. Archived from the original on 15 March 2018. Retrieved 14 March 2018.
- ↑ Green, Chris (11 February 2008). "Teen writers show their 'Skins'". The Independent. Archived from the original on 22 August 2018. Retrieved 27 October 2016.
- ↑ Guide, British Comedy. "Sneakiepeeks - Radio 4 sitcom". British Comedy Guide (in Lungereza). Retrieved 2026-09-08.
- ↑ "Daniel Kaluuya". Screen Daily. 30 June 2009. Archived from the original on 28 October 2016. Retrieved 27 October 2016.
- 1 2 3 4 "Daniel Kaluuya" (in American English). Film Independent. Archived from the original on 26 October 2018. Retrieved 27 December 2017.
- ↑ Adewunmi, Bim (1 April 2017). "Why I love... actor Daniel Kaluuya". The Guardian (in British English). ISSN 0261-3077. Archived from the original on 26 December 2017. Retrieved 27 December 2017.
- ↑ Obenson, Tambay A. (1 April 2013). "Characted Poster For Black Death (Played By Daniel Kaluuya) In 'Kick-Ass 2'" (in American English). IndieWire. Archived from the original on 27 December 2017. Retrieved 27 December 2017.
- ↑ "Exclusive: Daniel Kaluuya Talks 'Sicario,' 'Black Mirror,' and His Favorite Role". The Knockturnal (in American English). 18 September 2015. Archived from the original on 27 December 2017. Retrieved 27 December 2017.
- ↑ "'Skins' Star Daniel Kaluuya to Co-Star in Denis Villenueve's 'Sicario' (Exclusive)". The Hollywood Reporter (in Lungereza). Archived from the original on 16 June 2018. Retrieved 27 December 2017.
- ↑ Wollaston, Sam (11 December 2011). "TV review: Black Mirror; Piers Morgan's Life Stories: Peter Andre; This is Justin Bieber". The Guardian (in British English). ISSN 0261-3077. Archived from the original on 27 December 2013. Retrieved 27 December 2017.
- ↑ "Actors on Actors: Timothee Chalamet and Daniel Kaluuya". Variety (in American English). 1 December 2017. Archived from the original on 27 December 2017. Retrieved 27 December 2017.
- ↑ Clark, Ashley (18 March 2017). "Get Out star Daniel Kaluuya: 'This is 12 Years a Slave: The Horror Movie'". The Guardian (in British English). ISSN 0261-3077. Archived from the original on 28 December 2017. Retrieved 27 December 2017.
- ↑ Baron, Zach (4 December 2017). "Daniel Kaluuya Realized 'Get Out' Was a Big Deal When Nas Instagrammed It". GQ (in Lungereza). Archived from the original on 27 December 2017. Retrieved 27 December 2017.
- ↑ Pederson, Erik (4 October 2016). "'Get Out': Universal Dates Jordan Peele's Blumhouse Chiller & Unleashes Trailer". Deadline Hollywood. Archived from the original on 12 June 2018. Retrieved 4 October 2016.
- ↑ Friedlander, Whitney (4 October 2017). "10 Actors to Watch: Daniel Kaluuya Goes From 'Get Out' to 'Black Panther'". Variety (in American English). Archived from the original on 27 December 2017. Retrieved 27 December 2017.
- 1 2 Chuba, Kirsten (21 December 2017). "Daniel Kaluuya to Receive Creative Impact in Acting Award at Palm Springs Film Festival". Variety (in American English). Archived from the original on 27 December 2017. Retrieved 27 December 2017.
- ↑ Lawson, Richard (23 February 2017). "Get Out Is Thrilling, Terrifying, and Timely". Variety. Archived from the original on 26 November 2017. Retrieved 3 January 2018.
- ↑ "The Shape of Water leads Bafta nominations". BBC News. 9 January 2018. Archived from the original on 9 January 2018. Retrieved 9 January 2018.
- ↑ "Critics' Choice Awards: 'The Shape of Water' Leads With 14 Nominations". The Hollywood Reporter. 6 December 2017. Archived from the original on 6 February 2018. Retrieved 13 December 2017.
- ↑ Rubin, Rebecca (11 December 2017). "Golden Globe Nominations: Complete List". Variety. Archived from the original on 14 December 2017. Retrieved 11 December 2017.
- ↑ "2018 SAG Awards Nominations". Deadline Hollywood. 13 December 2017. Archived from the original on 12 June 2018. Retrieved 13 December 2017.
- ↑ "Bafta Film Awards 2018: All the nominees". BBC News. 9 January 2018. Archived from the original on 14 January 2018. Retrieved 9 January 2018.
- ↑ "Forest Whitaker, Daniel Kaluuya and Florence Kasumba join Black Panther". Empire. 10 September 2016. Archived from the original on 15 January 2017. Retrieved 14 February 2017.
- ↑ "Reactions from the Black Panther premiere". The Hollywood Reporter. 29 January 2018. Archived from the original on 30 January 2018. Retrieved 30 January 2018.
- ↑ Szalai, Georg (1 November 2018). "Daniel Kaluuya, Rosamund Pike Join Animated Netflix/BBC Miniseries 'Watership Down'". The Hollywood Reporter (in American English). Archived from the original on 12 May 2021. Retrieved 12 May 2021.
- ↑ "'Barney' Movie in the Works From Mattel, Daniel Kaluuya". The Hollywood Reporter. 18 October 2019. Archived from the original on 18 October 2019. Retrieved 18 October 2019.
- ↑ Grobar, Matt (2025-02-25). "Ayo Edebiri Tapped To Write Live-Action Barney Movie For Mattel, A24, Producer Daniel Kaluuya; Also In Talks To Star". Deadline (in American English). Retrieved 2025-02-25.
- ↑ "Judas And The Black Messiah director: 'I wouldn't have made the film without Daniel Kaluuya – he's one of the best actors in the world'" (in Lungereza). Sky News. Archived from the original on 10 March 2021. Retrieved 10 March 2021.
- ↑ "Oscars 2021: The winners in full" (in British English). BBC News. 26 April 2021. Archived from the original on 15 March 2021. Retrieved 26 April 2021.
- ↑ "The 27th Annual Screen Actors Guild Awards | Screen Actors Guild Awards" (in Lungereza). Screen Actors Guild Awards. Archived from the original on 4 February 2021. Retrieved 24 February 2021.
- ↑ Kit, Borys (16 February 2021). "Keke Palmer, Daniel Kaluuya to Star in Jordan Peele's New Movie". The Hollywood Reporter (in American English). Archived from the original on 18 June 2022. Retrieved 24 June 2022.
- ↑ D'Alessandro, Anthony (9 November 2020). "Universal Sets Release Date For Jordan Peele's Next Movie". Deadline (in American English). Archived from the original on 23 July 2021. Retrieved 24 June 2022.
- ↑ "Nope – Rotten Tomatoes". Rotten Tomatoes. 22 July 2022. Archived from the original on 8 August 2022. Retrieved 28 July 2022.
- ↑ Grobar, Matt (13 July 2022). "Daniel Kaluuya Won't Reprise Role As W'Kabi In 'Black Panther: Wakanda Forever'". Deadline Hollywood. Archived from the original on 13 July 2022. Retrieved 28 July 2022.
- ↑ Love, Matthew (4 April 2021). "Saturday Night Live Recap: Daniel Kaluuya Wants You ... Vaxxed". Vulture. Archived from the original on 28 July 2022. Retrieved 28 July 2022.
- ↑ Trepany, Charles (15 September 2021). "Time 100 revealed: Harry and Meghan, Britney Spears, Simone Biles, Dolly Parton make 2021 list". USA Today (in Lungereza). Archived from the original on 15 November 2021. Retrieved 14 November 2021.
- ↑ Yossman, K.J (30 March 2022). "Daniel Kaluuya Pens Dystopian Drama for Netflix, Michael Fassbender Exec Producing". Variety. Archived from the original on 4 April 2022. Retrieved 4 April 2022.
- ↑ Grater, Tom (30 March 2022). "Netflix Boards Dystopian Thriller 'The Kitchen': Daniel Kaluuya-Writing & Producing; Kibwe Tavares Directing; 'Top Boy's Kane Robinson Starring". Deadline Hollywood. Archived from the original on 28 July 2022. Retrieved 28 July 2022.
- ↑ "World premiere of Kibwe Tavares and Daniel Kaluuya's The Kitchen to close the 67th BFI London Film Festival" (in Lungereza). BFI. 17 August 2023. Retrieved 2023-08-17.
- ↑ "Kano to star in Daniel Kaluuya's new film 'The Kitchen'". faroutmagazine.co.uk (in American English). 2022-04-01. Retrieved 2023-08-17.
- ↑ "Daniel Kaluuya to narrate All or Nothing: Arsenal". arsenal.com. Arsenal F.C. 19 May 2022. Archived from the original on 30 June 2022. Retrieved 21 July 2022.
- ↑ Patel, Sanj (23 May 2022). "Daniel Kaluuya To Narrate Arsenal's 'All Or Nothing' Amazon Documentary". complex.com. Complex Networks. Archived from the original on 21 July 2022. Retrieved 21 July 2022.
- ↑ Kit, Borys (7 November 2022). "Spider-Man: Across the Spider-Verse Adds Daniel Kaluuya as Spider-Punk". The Hollywood Reporter. Archived from the original on 7 November 2022. Retrieved 7 November 2022.
- ↑ "New Daniel Kaluuya statue in London has everyone making the same point". The Independent (in Lungereza). 2024-10-10. Retrieved 2024-10-10.
- ↑ Grobar, Matt (August 5, 2025). "'Spider-Punk Animated Feature From Daniel Kaluuya & Ajon Singh In Development At Sony". Deadline (in American English). Retrieved August 5, 2025.
- ↑ "Table Manners with Jessie Ware Episode 3: Joe Dempsie and Daniel Kaluuya". Acast. Archived from the original on 12 June 2018. Retrieved 1 December 2017.
- ↑ ODE (12 February 2018). "Black Panther: Daniel Kaluuya gets emotional over support". YouTube. Archived from the original on 9 August 2019. Retrieved 10 August 2018.
{{cite web}}: CS1 maint: bot: original URL status unknown (link) - ↑ Grater, Tom (9 July 2021). "Arsenal Set To Be Subject Of Amazon's Next 'All Or Nothing' Doc". Deadline Hollywood. Archived from the original on 20 July 2022. Retrieved 20 July 2022.
- ↑ Shoard, Catherine (2021-04-26). "Daniel Kaluuya wins best supporting actor Oscar for Judas and the Black Messiah". The Guardian (in British English). ISSN 0261-3077. Retrieved 2024-01-18.
- ↑ Davids, Brian (15 July 2019). "'Crawl' Star Kaya Scodelario on the 'Skins' Fib That Launched Her Career". The Hollywood Reporter. Archived from the original on 24 October 2021. Retrieved 22 April 2025.
- ↑ Alter, Rebecca (18 March 2022). "Daniel Kaluuya's Alleged 'Life Strategist' Speaks Out, Sells Talismans". Vulture (in Lungereza). Archived from the original on March 18, 2022. Retrieved 14 July 2025.
- 1 2 Nathan, Sara (5 March 2022). "What is Daniel Kaluuya's tie to 'life strategist' Heir Holiness?". Page Six. Archived from the original on March 18, 2022. Retrieved 14 July 2025.
Ebijuliziddwamu w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Daniel Kaluuya at IMDb
- CS1 Lungereza-language sources (en)
- CS1 American English-language sources (en-us)
- CS1 maint: bot: original URL status unknown
- Abantu Abalamu
- Pages with unreviewed translations
- Abaazalibwa mu 1989
- Abasajja Abangereza abazannyi ba firimu
- Abasajja Abangereza ab'enzaalwa ya Africa
- Abangereza Abakulisitaayo
- Abasajja Abangereza Abakulisitaayo