David Lutalo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

 

David Lutalo
Amannya g'obuzaliranwa David Lutalo
Lw'eyazaalibwa (1986-03-08) 8 Ogwokusatu 1986 (emyaka 36)

Luwero, Uganda
Ekika ky'ennyimba z'ayimba Afro pop, Afrobeat, muyimbi wa Uganda ow'amaloboozi
Emirimu gye Muyimbi, Muyiiya era Muwandiisi w'annyimba
Emyaka gy'ayimbidde 2007–okutuusa kati
Situdiyo gy'ayimbiramu Da Hares
Webusayiti www.davidlutalomusic.com

David Lutalo (yazaalibwa nga 8 Ogwokusatu 1986), muyimbi wa Uganda, era musanyusa okuva mu East Africa, yatutumuka emyaka kkumi emabega n'oluyimba lwe olw'akyaka olwa Kapapaala mu 2008, nga lw'afulumizibwa okuva mu situdiyo ye eya "Da Hares". Yatandika okulikodinga ennyimba mu 2008 era nga alina ennyimba eziwerako mu mannya ge era n'endala z'ayimbye n'abalala nga Eddy Kenzo, Bebe Cool ne Goodlyfe Crew, Solid Star.[1]

Lutalo abanyikiddwa mu bawagizi b'ennyimba mu Uganda olw'enneyisa ye, eddoboozi ery'akawoowo, ebimufudde omwagalwa w'abangi mu kyalo ne mu kibuga. Awereddwa ekitiibwa mu bifo ebimu nga omuyimbi wa Uganda ow'omwaka mu 2014.[2][3] Mu 2013, Lutalo yegatta ku Mowzey Radio ne Weasle ab'ekibiina kya Goodlyfe n'ebafulumya oluyimba lwa Hellena.[4] Mu 2014, yayimba oluyimba n'omuyimbi omuto Maro, Mubbi bubi.[5][6] David Lutalo yafulumya vidiyo y'oluyimba lwa "Kabisi Ka Ndagala".[7][8][9] Mu Gusooka 2016, yawangula awaadi y'omuyimbi omusajja asinze n'omuyimbi w'omwaka ku mukolo gwa HiPipo Music Awards.[10]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

David Lutalo, yazaalibwa Luggya Robinson (kitaawe) ne Mastula Nassazi (maamawe) Disitulikiti y'e Luweero era nga amanyikiddwa olw'okuyimba mu lulimi Oluganda, olulimi Oluswayiri n'akatonotono mu lulimi Olungereza. Yasomera ku masomero agawerako nga Kikunyu Primary school, Balitta Lwogi Primary School gy'eyakolera ebigezo bye eby'akamalirizo ebya Primary Leaving Examination (PLE), oluvanyuma yegatta ku Kasana Town Academy Luwero mu misomo gye egya siniya ey'okuna nga yafuna satifikeeti ya Uganda Certificate of Education (UCE), era oluvanyuma David yagenda ku Busisa Grammar mu misomo gye egy'omutendera gwa A-Level gyeyakomya mu makatti era n'ava mu somero nga tamaliriza.[11][12][13][14]

Ennyimba ze y'ayimba[kyusa | edit source]

  • Kapaapala
  • Gyetugenda
  • Yamba
  • Magumba
  • Manya
  • I love you
  • Pretty
  • So Nice
  • Kwasa
  • Eat zote
  • Mile
  • Akantu
  • Nakusiima
  • Onsanula
  • Tugende
  • Ensi
  • Silivia
  • Awo
  • Tokutula
  • Am in Love
  • Kabisi Ka Ndagala
  • Mboona
  • Yankutudde

[15]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. http://www.sunrise.ug/life-style/201901/david-lutalo-from-brick-maker-to-stardom.html
  2. http://chimpreports.com/behind-the-scenes-david-lutalos-nandikulese-mu-kyalo-video/
  3. https://web.archive.org/web/20141028102649/http://www.davidlutalo.com/
  4. http://www.howwe.biz/851/hellena/45/goodlyfe-crew.html
  5. David Lutalo
  6. http://www.howwe.biz/456/mubbi-bubbi/108/maro.html
  7. https://www.timesug.com/king-of-love-music-david-lutalo-release-kabisi-ka-ndagala-brand-new-song-2021
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-09. Retrieved 2022-12-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://musiclyfer.com/kabisi-ka-ndagala-by-david-lutalo
  10. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1415974/hipipo-awards-david-lutalo-named-artist
  11. https://www.ugandanz.com/david-lutalos-journey-from-a-porter-to-a-celebrated-musician/
  12. https://flashugnews.com/who-is-david-lutalo-biography-age-family-and-music/
  13. https://theguptareport.blogspot.com/2018/02/who-is-david-lutalo.html
  14. https://mdundo.com/news/21331
  15. "Archive copy". Archived from the original on 2017-07-13. Retrieved 2022-12-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)