Jump to content

Disitulikiti y'e Ngara

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ngara District ye mu ku disitulikiti omunaana eziri mu kagera mu Tanzania. yetoloodde ebukiikakkono wedisitulikiti ye Karagwe okutuuka ebukiikaddyo wa disitulikityi ya iharamulo , obukiika kkono wa disitulikiti ya kigoma ,okudda ebukiikakkono we buvanjuba wa disitulikiti ye Muleba ne bukiika ddyo wensi ya Rwanda ne Burundi.[1]

Okusinziira ku kubala abantu okwakolebwa mu ggwanga lya Tanzania mu 2012, omuwendo gw’abantu mu Disitulikiti y’e Ngara gwali 320,056, okuva ku 334,409 mu 2002, ne 159,546 mu 1988, ng’abantu babalirirwamu 365,661 mu 2017. Omuwendo gw’abantu guli 110 inhabitants per square kilometre (280/sq mi) . Mu Ngara mulimu waadi 22, ebyalo 75, n’ebitundu by’ebyalo 389. [2] [3]

Enkula yensi

[kyusa | edit source]

Ngara esangibwa mu bukiikakkono bw’amaserengeta ga Tanzania okumpi n’ensalo za Rwanda ne Burundi. Obugulumivu bwayo 6,000 feet (1,800 m) era etwalibwa ng’eri mu nsozi za Tanzania. Disitulikiti eno eriko era obuwanvu bwa 3,305 square kilometres (1,276 sq mi) . [4]

Ngara erina sizoni nnya: sizoni bbiri ez’ekyeya okuva mu June okutuuka mu September ate January okutuuka mu February nga zirimu sizoni bbiri ez’enkuba okuva mu October okutuuka mu December ate okuva mu March okutuuka mu May. Mu biseera by’ekyeya oluusi wabaawo empewo ez’amaanyi/empewo erimu enfuufu era ebbugumu lyawukana wakati 18 and 30 °C (64 ne 86 °F), okusinziira ku ssaawa y’emisana oba ekiro. Mu biseera by’enkuba, enkuba ey’amangu n’ey’amaanyi eyinza okutonnya buli lunaku, ng’emala eddakiika ntono okutuuka ku ssaawa eziwerako. Enkuba oluusi ekwatagana n’empewo ez’amaanyi, amataba, ebitoomi, ekifu era ebbugumu liyinza okuba wakati wa 12 and 26 °C (54 ne 79). °F) .

Olulimi

[kyusa | edit source]

Olulimi olwabulijjo mu Ngara luyitibwa Kihangaza, olufanana no Rurundi ne Kinyarwanda,ennimi ze Rwanda ne Burundi. Yadde nga olulimi lwa Tanzania olutongole lu Swahili na luzungu mu disitulikiti ye Ngara tezikozesebwa nnyo mu mirimu mitongole zikozesebwa mu mawofiisi ,ne mumatendekero agawaggulu ne mubifo ebirala ebitonotono okutwa;lira awamu olungereza lutegerekeka kitono ku katale naye oluswayili lwelumanyikiddwa mu kitundu.

Yikonome

[kyusa | edit source]

Omulimu ogusokerwako kwekulima nokulunda . ebirime mulimu ebijanjaalo obutunda amapaapaali ebinyebwa emmannyi kasooli muwogo neva endiirwa enala nnyingi. ebisolo ebisinga okulundibwa mulimu ente ,embuzi ne nkoko

Ebitundu ebitonotono ebyokuddukanya emirimu

[kyusa | edit source]

Ebitundu byababaka

[kyusa | edit source]

Ku kulonda kwa palamenti, Tanzania egabanyizibwamu ebitundu. We bwazibidde mu kulonda kwa 2010 Disitulikiti y'e Ngara yalina ekitundu kimu: [5]

  • Ekitundu kya Ngara

Wabula enkiiko z’olukiiko lw’amasaza gye buvuddeko mu 2014 ziteekeddwawo ensonga okugabanyaamu disitulikiti eno mu bitundu bibiri ebigenda okubeera North Ngara ne South Ngara. Kino kikkaanyiziddwaako oba bwe kiri oluvannyuma lw’okugaba Region empya nga mu myaka egijja disitulikiti egenda kugabana ekitundu kimu ne Disitulikiti endala bbiri okuva mu kitundu ky’e Kigoma nga zino ze Kakonko ne Kibondo okwegatta ku Ngara ne Biharamulo okuva mu Kagera Region okukola ekipya Region ng’ekitebe kyayo e Nyakanazi ekwatagana gye buvuddeko era emanyiddwa ennyo nga yeegatta ku kitundu kya Kigoma ne Kagera Region.

Waadi ezenjawulo

[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 2002[update], disitulikiti ye Ngara yagabanyizibwamu waadi ezenjawulo 22:[1]  

Ababundabunda okuva e rwanda ne burundi nga bagenda e Ngara

[kyusa | edit source]

Disitulikiti ye Ngara yafuna ababundabunda nkumi nankumiokuva e burundi mu mwaka gwa 1994 nga gutandika no kuva erwand mu mwaka gwa 1994 oluvanyuima lwokubaawo ababundabunda nga bangi . Ababundabunda badduka oluvanyuma lwentalo mu Rwanda wamu n'olutalo olwomunda . Mumbeera eno disitulikiti ye Ngara yafuna obuyambio obwenjawulo okuva munsi yonna okwo gattako ne kitongole ekivunanyizibwa ku babundabunda ekiyitibwa United Nations High Commission for Refugees, World Food Program, bafuna ssente nebantu abenjawulo mu nsi yonna . obuzibu buno bwaleeta amawulireouva CNN, Time Magazine, ne mumikutu emirala mingi obuzibu bwa babundabunda bwatandika mu mwezi gwa kkumi mu mwaka gwa 1993 olwo lutalo olwali e burundi era bkyaleeta ababundabunda okugenda mu Ngara eyo gye basobola okubeera mu Lukole Refugee Camp.kampu ezenjawulo zaali zebeera banyarwanda omuwendo gwa kampu gwali gukoleddwa kutekebwamu ababundabunda abanyarwanda kampu eyali esinga obunene yali Benaco, era yali etegekeddwa okugendamu abantu abantu abatakka wansi wa 200,000 okuva e Rwanda mu mwezi gwokutaanu nga gutandika mu mwaka gwa 1994. kampu wendala ku ggulibwawo mu disitulikiti ye Ngara mu mwaka gwa 1994 mu limansi ya banyarwanda , ne Lukole nga ya barundi .[6] kampu endala entono eza barundi za ggulibwawo mu mwaka gwa 1996. Benaco ne kampu endala eza banyarwanda zaggalibwawo ng'omwaka gwa1996,gunatera okuggwako Amaggye ge tanzania wegakwataganira ne gavumenti ye rwanda nabantu abenjawulo munsi yonna bayambako kampu zino mukulabirira ababundabunda abatabalika . [7] wabula ababundabunda abamu basigala mu disitulikiti ye Ngaraokuva mu kiseera ekyo , okusingira ddala abarundi . Lukole camp eya barundi yesinga okumanyika mu kampu zonna .[8] Disitulikiti ye Ngara erina ebyafaayo ebikwata kukufuna ababundabunda. Ababundabunda abasooka batuuka nga emyaka gya 1960 gyitandika abatuusibwebaviira e Rwanda nga bagoberera obwetwaze bwensi eyo baddamu kubeera mu disitulikiti ye Ngara okumala emyaka 20 nga teddanga Rwanda mpaka oluvanyuma lwomwaka gwa 1994.[9][1][10]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&campaign=undefined&page=Ngara+District&targettitle=Disitulikiti+y%27e+Ngara#:~:text=Reference-,View,This%20reference%20is%20used%20twice%20on%20this%20page.,-Issues Cite error: Invalid <ref> tag; name "Ngara_dc" defined multiple times with different content
  2. https://en.wikipedia.org/wiki/National_Bureau_of_Statistics_(Tanzania)
  3. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&campaign=undefined&page=Ngara+District&targettitle=Disitulikiti+y%27e+Ngara#:~:text=Reference-,View,March%202013.%20p.%C2%A0164.%20Retrieved%201%20July%202022.,-Issues
  4. https://www.citypopulation.de/en/tanzania/admin/18__kagera/
  5. http://www.afdevinfo.com/htmlreports/lor/lor_tz_28_5.html
  6. https://www.hrw.org/reports/2000/tanzania/Duhweb-05.htm
  7. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&campaign=undefined&page=Ngara+District&targettitle=Disitulikiti+y%27e+Ngara#:~:text=View-,Tony%20Waters%20(2001).%20Bureaucratizing%20the%20Good%20Samaritan.%20Westview%20Books%3A%20Boulder,-Issues
  8. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&campaign=undefined&page=Ngara+District&targettitle=Disitulikiti+y%27e+Ngara#:~:text=Reference-,View,Politics%20of%20Innocence%3A%20Hutu%20Identity%2C%20Conflict%20and%20Camp%20Life..%20%20Berghahn%20Books,-Issues
  9. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&campaign=undefined&page=Ngara+District&targettitle=Disitulikiti+y%27e+Ngara#:~:text=Reference-,View,Planning%20in%20Rural%20Tanzania%2C%201994%2D1996.%22%20Human%20Organization%20v.%2048(2).,-Issues
  10. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&campaign=undefined&page=Ngara+District&targettitle=Disitulikiti+y%27e+Ngara#:~:text=https%3A//www.academia.edu/32596550/Assessing_the_Impact_of_the_Rwandan_Refugee_Crisis_on_Western_Tanzania_1994