EBYEWUNYISA KU MUSAJJA MUKASA MIKE

Bisangiddwa ku Wikipedia

ENO Y'EMBOOZI YA MUKASA OMUSAJJA AYOGERA N'EMYOYO, KATONDA KO NE SITAANI.

EMBOOZI EYEWUNYISA.

EBIKWATA KU MUKASA:[kyusa | edit source]

"Amannya nze Mike Mukasa. Obulamu bwange nina omuggugu gwenetise nga ate sigwange, wabula gwa nsi eno".

Mukasa agamba nti omwoyo gwe gwogera nemwoyo (egy'abantu n'ensolo). Kino kyamuva mu buto naddala ku myaka kumi n'ettano (15). Yayagala okukyegyamu naye kyagana kuba kiri mu butonde.

Agamba talina nnyo diini era agenda mu sinzizo naye nga yeyisa nga Katonda bwayagala. Agamba mukusoka yali amanyi ffena bwetuli abantu, bweyakizula yali amannyi mulwadde mu bwongo nga byalaba ate ensi tebiraba!!

Mukasa agamba omwoyo gwe gwogera ne Katonda, sitani ko n'egyabasoka era tayagala nnyo kuziika bafudde olwokuba aba afudde ayogera naye.

EBIKWATA KU BAFU[kyusa | edit source]

Omwoyo gwe gukyalira abafu ne bamubuliira enaku gyebalina. Ebimu ebiri mu bafu ebibaluma, tebagala kubayita sitani n'okubba ebyabaffu (ebintu) ko n'okubonyabonya abaana babwe. Agamba, "bwoffa ng'olese omwanawo nga abonanabona ddala nga talina watudde, nawe toba namirembe; bwofa omanya nti ensi eno yekyasinze okunyuma, nebwobera mwavvu assembayo" naye ng'olyeno, Mukasa agamba nti, "singa buli omu afuna omukisa naffaako nadawo, ensi eno yandibadde tetumalamu n'okuta muno olw'ebyensi."

Agamba nti okuffa obanga aloota alemedde mu kirooto, wotegeerera, bwebutayogera nabalamu; oyogera naye nga tebakuddamu. Wano wewali amaziga nga muno gwooyagala okuzaama omulaba naye ng'empuliziganya teriwo; Katonda awo yakolawo bubi.

Ebyo byebimu kubiri mu kufa.....

"Abalamu singa muba abakiriza, nabafu singa mubalaba ngababula bwebadda ekyo kyali mubutondenaye mubayita sitaani."

Mukasa awa amagezi kunsonga eno nagamba, "zaala omu-babiri, bwebiba bigaanidde ddala, ebyensi tozaala simusango era mube bakiriza. Abateeketeekedde n'emyoyo obulamu obudako lokoka"

EBIFFA KU SITAANI[kyusa | edit source]

Agamba nti sitaani musajja omulungi ddala enyo mundabika ye. Agamba yajja nga mubuliwo ng'olumu amulaba atudde muntebe oba ku buliri.

Kino kyabangawo mu kiro, ebigambo bye yamugamba nga nti, "toja kunemesa nze sitaani tebanemesa".

Agamba sitaani musajja mulungi ddala; mukyotala mu nfaananaye, alina akadokoli, muwanvu era mutonotono.

Sitaani talina nnyo buzibu eri abantu singa oba okozesa bulungi obwongo bwo. Ekiibi kyalina ayogeza magezi naba mwoji era mu nsi sitaani tayagala bagonvu; sitaani talina njala mpanvu.

Ebigendererwa bya sitaani ayagala ku gata nsi obuwangwa bugwewo, buli omu yeyise nga bwawulira; “mwerinde ogwa eddalu nga temuli balwadde mubwongo”Oyo ye sitaani.

Era Mukasa agamba kozesa bulungi obwongo bwo n'obusungu ko n'omutima buli kimu nga kikanya ne kinakyo sitaani talikuwamba. Sitaani mwoyo gubera kunsi eno era mugezi byansuso.

EBIFFA KU YESU[kyusa | edit source]

Mukasa agamba nti omwoyo gwe gwogerako ne Yesu.

Agamba nti Yesu simusanyufu nakamu, yafiira bwereere. Yaja okutereza mu n'eyisa, entegera y'abantu naye nsi yategera nnyo ebyamageero so nga tekyali ku butume kuba ekyo amanyi gakyo gali ku nsi eno; kyabona ng'ensi.

Yesu ye yajja okusomesa obutayiwa musaayi, okusadaaka n'okujawo obukyayi tube kimu ng'ebitonde ebyatondebwa omu. Bwetugamba okwagalana, tekitegeza gata mawanga oba okola emikwano mwagalane! “Ebyo ebyatondebwa omuntu bireme okubawula, okubalumya emitima era abakiriza ba Katonda babirekere ababitonda era okulokoka tekitegeza kuva mu diini yo kasita weyisa obulungi eri ebitonde n'obutalowooza nnyo ebyensi neri nyo obuggagga n'obutalowooza nnyo okwononeka mu bwongo."

"Eri gwe omukiriza, Yesu tayagala okaabe olw'embeera kakano kuba bwokaaba, obwongo tobuwa kuyiiya era obusobozi obusaba omutonzi obulina; tolowooza nga mulala yenna. Yesu wakati w'ali era teyajja lwa ddiini yonna kuba mutume wa katonda yenyini taba naludda lwa nzikiriza yonna -- lokoka mukutegeera kwobademu Yesu abe nawe."

Mukasa agamba bwati ku banabbi abeyita abatume ba Katonda nga bakakasa nti amanyi Katonda yennyini yeyagamugabira.

“Ngyagala tudde mu lujjudde lw'ensi tumanyise ensi amazima oba oli wa ggwanga ki jangu sagala mulowoze nti Katonda asosola” era agamba amanyi ye banabobbe abawa magezi basomese ensi.

"Wuliriza nnyo ebigambo okusinga ebyo ebitengula emeeme bireke kuba bikwata obwongo bwo; wuliriza ebikuzuukusa obwongo.

“Nze 'Mukasa' mu Buganda linnya nnyo era abeela jjajja wa baana, mpulira ennaku ensi okukaaba”.

EBIFFA EWA KATONDA[kyusa | edit source]

Agamba nti omwoyo gwe gwagenda ewa Katonda; yasooka nakyalirwa ekitangaala omwali nga Yesu naye nga tamunyega kigambo kyona nadayo. Yalabanga Malayika ku nsi eno naye nga nazo tezogera naye mpozi omutunurila. Naye lumu, zajja essaawa yali emu eyokumakya, yakyalirwa malayika ezamutunurila engeri eraga nti tugendde. Basanga omusajja eyamubuza, olagawa?" Koye, "ewa Katonda," k'omusajja “omwagaza kki?” Koye, “eri abantu be babonabonna”. Omusajja ono yamusongera olugalo olumulaga Katonda gyali.

Mukasa agamba yagenda okuzza amaaso nga alaba ali mulubiri ewa Katonda; eyamusongera olugalo yeyali Yesu.

Agamba nga atuse ewa Katonda, Katonda yamubuuza ”olagawa?” Koye nti, “ewa Katonda!” Ko Katonda “oli nani kati?” yasirikiriramu, Katonda namuddamu nti, “omwagaza kki?” Ko Mukasa nti, “eri abantu be babonaabona” Ko Katonda, “Genda obagambe nti teri gwesimanyi”. Ko Mukasa, “tebajja kunzikiririzamu” Ko Katonda nti, “toligyemebwa tomanyi kyoli” Ko Mukasa, “ate abo ababonaabona?” Ko Katonda, “ekyo kyokka ky’osaba? Genda byona ogya ku bimanya” Yebuzamu alimanya biki ku nsi eno!

Mukasa agamba mu ggulu ewa Katonda mu lubiri lwe oba nga ayimiridde mu bbanga ng’otambula togwa. Wakati w’olubiri lwe waliwo ekintu ekyetolovu, kinene ng’ogupiira; kitukula nga amazzi; bwokitunuramu olaba ensi yonna, awo Katonda walabira ensi zonna. Yo teli bantu wasingayo binyonyi. (Mu ggulu ewa Katonda)

Yo ewabera abantu wasingayo bakazi. Eno batya okulaba omusaayi, befula kyebagade; olulimi lwe bakozesa okusinga Lukasiru (sayini) kuba lwelutegerebwa buli kitonde.

Katonda musajja mutono, Yesu amusingako ku buneene. Katonda afanana mu nga Yesu, mugonvu osinga Yesu.

Katonda munyiivu eri abakulembeze.

Ebisingako awo bisange mukitabo ekiyitibwa “VUMBULA KYOLI” Ensi kyeki? Ensi yensisinkano, yabuli kimu gy'oli. Kirimu byewebuza byonna. Yakiwandiika alina emyaka kumi n'etaano (15 yrs), yakimala alina abiri mu munaana (28 yrs).

Agamba yetaga obuyambi kisobole okusaasana mu bantu ne mu nnimi ezenjawulo. Ayagala ba faaza, ba bishop, ba maseka, ba levulandi n'abakulu beby'obuwangwa, banabbi temuliiko. "Ngyagala kumagezi ggamwe munyambe tuyambe ensi. Guno omulimu gwa nsi si gwa Katonda, Amagezi gage naye enkola!"

Eyagala okumanya ebisigawo kuba ku +256753940995/+256788343739/ +256773940995 (wabula owekibuuzo tewandikubye).

Tusange ne KU FACEBOOK

[1]

CONTENT BY:

Jhumbar JoZe Fhu wamu ne Musaayi Mutto Ow'ebyewunyisa

KINO KIKULU: Toyozamu wadde okubifulumya ebintu bino ewantu awalala wona ewatali lukusa okuva ew'omuwandiisi. Webale nyo!!

  1. Ebisingawo bisange mu kitabbo VUMBULA KYOLI ekya Mukasa Mike yeni