EKIDDUKANO
Introduction
[kyusa | edit source]Ekiddukano kitegeeza omuntu okufuluma amazzi mu kifo ky’obubi. Omuntu bw’afuna ekirwadde kino, kitera okumala ennaku ntono era nga kisobola okuleetera omuntu okuggwaamu amazzi mu mubiri. Obumu ku bukonero bw'okuggwaamu amazzi mu mubiri mulimu nga okukogga, okupeeruuka, omutima okukubira waggulu, okukendeera ku musulo gw’ofuluma bulijjo n’obubonero obulala. Obulwadde buno buleetebwa akawuka akamanyiddwa nga " Gastroenteritis ". Obulwadde buno buva mu kulya emmere n’okunywa amazzi ebitategekeddwa bulungi oba ebitali biyonjo. Obulwadde buno bwawulwamu emirundi esatu nga; Ekiddukano ekimala ennaku entono, ekiddukano ekimala ennaku entono nga kirimu omusaayi n'ekiddukano ekimala akaseera akawera ng’ebiseera ebisinga kimala ssabbiiti bbiri. Ekiddukano ekimala akaseera akatono kitera kuleetebwa ekirwadde ky’Ekinyaga naye nga tekitera kulabika mu nsi ezaakula edda. Ekiddukano bwe kibaamu omusaayi kiyitibwa Ekiddukano ky’omusaayi (Dysentery).
Ekisinga okukireeta ke kawuka ko mu bwenda oba ekyesigama ku mubiri era kino bakiyita okuyubuka kw’olubuto n’ebyenda. Akawuka kano kalya ku mmere eyagenze wamu namazzi . ekiddukano kyomusaayi bwekiyisawo ssabiti bbiri bakiyita ekiddukano ekiremeddeko. Ekiddukano ky'amazzi kiyinza okuva ku (kkolera) oba obulwadde obuletebwa obukyafu n’ewankubadde kinno tekisangibwasangibwa mu nsi ezakulakulana edda. Omusaayi bwegubera nga weguli kino bakiyita: ekiddukano kyomusaayi. Emirubdi mingi egiyinza okuleeta kinno era nekiviiramu ekiddukano. Munno mwe muli; okuzaala kwobutundu obukola omubiri “lactose intolerance” “inflammatory bowel disease”, obujjanjabi bwa mirundi mingi ne “irritable bowel syndrome”. Mubiseera ebimu stool culture sikye kituufu ekireetera. Okwewala ekiddukano olina kukola bino; okukuuma obuyonjo, okunnya amazzi amalungi, wamu n'okunaaba engalo ne ssabuuni. Okuyonsa ekitono ennyo emyezi mukaaga (6) kwekusaliddwawo wamu n’okugemesa okusobola okwewala obulwadde. Amazzi amalungi agatasuliddwamu omunyo omutonono wamu n’amazzi kwekunjanjaba okusalibwaawo. Empeke ezilimu zinc nazo osobola okuzikozesa. Obujanjabi buno bwalagibwa nti bwakajonjaba abaana obukadde ataano (50) mu myaka abiri mw’etaano(25) egiyise. Abantu webabeera nga balina ekiddukano balagirwa okulya emmere enungi wamu n’abaana abato okuyongera okubayonsa. Amazzi agatasulidwamu amazzi n’omunyo agatundibwa gayinza obtabeerawo naye nga ate okoledde awaka osobolaokumukozesa. Okugwamu amazzi agasusse mu mubiri, “intravenous fluids” ayinza okwetagibwa. Mu biseera ebisinga, newankubadde, kisobola okukwasiganya obulungi n’amazzi g’omumwa “antibiotics” tekiteera kozesebwa, naye ate osobola okukikozesa mu mbeera endala okugeza; nga bo abalina ekiddukano kyo musaayi n’omusujja ogususse, abo balina ekiddukano ekisusse “loperamide” kiyinza okuyamba okukendeza ku bwa “bowel movement” naye ate tekikiribwa mu bulwadde obususse. Mu kakadde nga kamu n’obutundutundu musanvu (1.7) kubuwumbi butaano(5billion) buli mwaka. Kitera kubeera mu nsi ezikyakula ewali abaana abakyafuna ekiddukano emirundi esatu omwaka. Abantu abasinga okufa bali akakadde kamu n’obutundutundu abiri mukaaga (1.26) mu 2013 okuva ku bukadde bubiri n’obutundutundu ataano mu munaana (2.28) mu 1990.
Engeri y’okwewala Ekiddukano
[kyusa | edit source]Obulwadde buno tuyinza ku bweewala nga twongera ku mutindo gw'obuyonjo. Kino kisoboka nga tunywa amazzi amafumbe n'okunaabanga mu ngalo ne ssabbuuni. Bo abakyala abayonza bakubirizibwa okuyonsa okumala emyezi mukaaga kubanga kino kibayamba okuzimba abasirikale b’omubiri mu baana okusobola okulwanyisa ekirwadde kino. Abo abakwatiddwa ekirwadde kino, balina okunywa "Oral rehydration solution". Kino kiba kuba kirungo ekirimu omunnyo ne sukaali ebigereddwa obulungi era nga kiyamba okuzza amazzi mu mubiri omuntu g’afiirwa ng’afunye ekirwadde kino. Obujanjabi buno kigambibwa nti butaasizza obulamu bw'abaana abasukka obukadde obutaano mu myaka abiri mu etaano egiyise. Obulwadde bw'ekiddukano buno businga kulabibwa mu nsi ezikyakula era nga businga nnyo mu baana. Kigambibwa nti omwana alwala obulwadde buno emirundi esatu mu mwaka. Omuwendo gw'abaana abafa obulwadde bw'ekiddukano gwakendeera mu 2013 okutuuka ku baana akakadde kamu mu emitwalo abiri mu esatu okuva Ku baana obukadde bubiri mu emitwalo ataano mu munaana mu 1990. Endya embi nakyo kimu Ku biviirako Obulwadde bw'ekiddukano mu baana.