Eddwaliro ekkulu e Kawolo
Eddwaliro ekkulu ery'eKawolo nga lino limanyikiddwa nga kawolo hospital, erisangibwa mu Disitulikiti y'e Buikwe mu Central Region of Uganda . [1]
Ekifo werisangibwa
[kyusa | edit source]Eddwaliro lino lisangibwa ku luguudo lwa Kampala–Jinja Highway, mu tawuni y'e Lugazi, mu Disitulikiti y’e Buikwe, mu kilometres nga 34.5 (21 mi), mu bugwanjubabw'eddwaliro ly'e Jinja Regional Referral Hospital . [2] Kino kikunukiriza kilometres 50 (31 mi), mu buvanjuba bwa mulago National Referral Hospital.[3]
Endagiriro ya kawolo hospital ku maa bypu eri: 0°22'05.0"N, 32°56'44.0"E (Latitude:0.368050; Longitude:32.945553).4[4]
Okulambika okutwaliza awamu
[kyusa | edit source]Eddwaaliro ly'e Kawolo lyazimbibwa mu mwaka gwa 1968. Lirimu ebitanda ebiwereraddala 106. Mu mwaka gwa 2015, kawolo hospital yayingiza abalwadde abawereraddala 11,699 n’omuwendo gwabaana abazaalibwa gwali 3,784. [5] Eddwaliro lino liweereza Disitulikiti y’e Buikwe, n’ebimu ku bitundu byomi Disitulikiti y’e Mukono, Disitulikiti y’e Kayunga ne Disitulikiti y’e Buvuma, likola ku bubenje bw’ebidduka bungi ku luguudo lwa Kampala–Jinja Highway. [6]
Okuddaabiriza
[kyusa | edit source]Mu mwaka gwa 2008, gavumenti ya Uganda n’Obwakabaka bwa Spain bassa omukono ku ndagaano y’okuwanyisiganya amabanja, nga mulimu okutondawo Trust Fund . Trust Fund yali yakukozesebwa okusasula ssente zo’kuzimba n’okussaamu ebikozesebwa mu ddwaaliro . Okugula kkampuni za Uganda ne Spain ezirina ebisaanyizo okuddaabiriza kwalangibwa okuva nga ennakuz'omwezi29 April 2016 okutuuka nga 12 July 2016. Era Omuwanguzi asuubirwa okulangirirwa mu mwezi gwa September wa 2016 wamu n'okussa omukono ku ndagaano . [7]
kontulakiti eno ebalirirwamu obukadde bwa dollar y'Amerika mwenda, egenda kola kumirim gino wammanga: [8]
1. 1. . Okugaziya ekitongole ky’abalwadde abaweebwa ebitanda 2. zimba ebisenge ebipya eby’okulongosezaamu abalwadde (ekifo webalongoseza abalwadde) 3. Zimba ekifo ekipya eky’okuzaala, omuli n’ekitongole ky'abakyala abazaala nga tebanazaala4. Zimba ekifo eky’okujjanjaba abafunye obuvune 5. Okuddaabiriza amaka g’abakozi agaliwo 6. Zimba ennyumba z’abakozi empya ez’abasawo, ba nurse n’abazaalisa 7. Okugaziya n’okussaamu ebikozesebwa mu ggwanika eririwo. [8]
Laba ne bino
[kyusa | edit source]Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20160509094747/http://www.health.go.ug/projects/rehabilitation-and-construction-general-hospitals
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Jinja+Regional+Referral+Hospital,+Rotary+Rd,+Jinja/Kawolo+General+Hospital,+Kampala-Jinja+Road,+Lugazi/@0.4061222,32.9343185,11z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177e7b9ad9e6532b:0x168afcf76f804f0a!2m2!1d33.2053335!2d0.4301143!1m5!1m1!1s0x177dda625ffa4cb9:0x524c71880b3c2d08!2m2!1d32.9452085!2d0.3679214!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Mulago+Hospital,+Kampala/Kawolo+General+Hospital,+Kampala-Jinja+Road,+Lugazi/@0.409133,32.5787997,10z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbb0f51509de1:0xea12334542674d8c!2m2!1d32.5761312!2d0.3380637!1m5!1m1!1s0x177dda625ffa4cb9:0x524c71880b3c2d08!2m2!1d32.9452085!2d0.3679214!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B022'05.0%22N+32%C2%B056'44.0%22E/@0.371531,32.9499573,3232m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.36805!4d32.945553
- ↑ http://www.sustainuganda.org/sites/sustainuganda.org/files/HospitalProf_Kawolo_FINAL.pdf
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/-/688334/1313398/-/b1g1fgz/-/index.html
- ↑ "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2017-05-16. Retrieved 2024-11-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 8.0 8.1 https://www.newvision.co.ug/news/1312241/kawolo-hospital-sh22b-renovation