Edith Mary Bataringaya

Bisangiddwa ku Wikipedia

Edith Mary Bataringaya Kaijuka (1929–1977) yali Munnayuganda ow'ettutumu, omulwanirizi w'eddembe ly'ebyobufuzi ate munnabyabufuzi omuggumivu nga Uganda emaze okufuna obwetwaze. Yali omu ku baatandikawo ebibiina ebigatta abakyala ebya (Ugandan Women's Union) ne (Uganda Council of Women) ng'akolagana ne Rhoda Kalema wamu ne Theresa Mbire.[1] Yafumbirwa Basil Kiiza Bataringaya nga naye munnabyabufuzi omukuukuutivu mu Uganda naddala mu gy'enkaaga.[2]

Entandikwa y'obulamu bwe[kyusa | edit source]

Edith Mary Kaijuka yazaalibwa mu 1929 e Kabale, ekibuga ekisangibwa mu Bugwanjuba bwa Uganda.[3] Kitaawe ye yali Reverend Kaijuka, Omubuulizi w'enjiri mu Kkanisa ya Uganda (Anglican)era omusomesa mu kaalo ku Kasozi Bugongi.[3]

Gyenvudde we mu byobufuzi[kyusa | edit source]

Edith Mary Kaijuka yafumbirwa Basil Kiiza Bataringaya, mutabani wa Marko Kiiza eyaliko omukulu w'Essaza lya Bunyaruguru, kwe kukyusa erinnya lye ne lifuuka Edith Mary Bataringaya.[4] Mu budde bwe baafumbiriganwamu, Basil Kiiza Bataringaya yali akyasoma kkoosi ya Busomesa mu Makerere University - Kampala Uganda.[5][6]

Basil Kiiza Bataringaya yafuuka munnabyabufuzi omuganzi mu Uganda mu kiseera eky'amangu. Bataringaya yeesimbawo ng'Omubaka mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya DP (Democratic Party of Uganda) ku ntebe y'okukiikirira Disitulikiti ya Ankole mu Paalamenti ya Uganda mu Gavumenti ey'akabanga ey'okukyusa obukulembeze okuva mu Bangereza okudda mu Bannansi mu kalulu ka bonna akaasooka mu Uganda akaaliwo mu 1961.[7] Yafuuka akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Gavumenti eyali ekulirwa Apollo Milton Obote.[8] Basil Kiiza Bataringaya yasala eddiiro n'ava mu DP n'adda mu kibiina kya Apollo Milton Obote ekya UPC (Uganda People's Congress) nga bali mu Paalamenti. Ye yali munnabyabufuzi ow'embavu eyasooka okwabulira ekibiina kye eky'ebyobufuzi mu byafayo bya Uganda.[9] Basil Kiiza Bataringaya yafuuka Minisita ow'esonga ez'omunda era n'ayanguwa okufuuka omu ku basajja Apollo Milton Obote eyali Ssaabaminisita wa Uganda be yali yeesiga ennyo era yafuuka omu ku abo abaawanga Obote amagezi n'afuuka omu ku Baminisita ab'amaanyi mu Gavumenti ya Obote.

Edith Mary Bataringaya yafuuka wankizo mu Gavumenti ya Apollo Milton Obote nga bba Basil Kiiza Bataringaya amaze okweyunga ku UPC n'okubeera Minista w'ensonga ezoomunda. Yatambulanga ne bba era ng'ayogera ng'omukulu w'akakiiko k'abakyala ba Uganda (Uganda Council of Women) ng'ali n'abakungu b'amawanga ag'ebweru.[10] Mu lumu ku ng'endo ezijjukirwa ez'amaanyi, yagendako mu Amerika n'asisinkana n'ababaka b'ensonga ez'omunda mu Amerika era n'akyalako ne mu Disneyland.[10]

Okulwanilila edembe[kyusa | edit source]

Edith Mary Bataringaya yali mulwanirizi wa ddembe lya byabufuzi ow'amaanyi. Bataringaya Yatandikawo ekiibina ekigatta abakyala ba Uganda wamu n'akakiiko k'abakyala ba Uganda ng'ali wamu ne Rhoda Kalema ne Theresa Mbire.[1] mu 1960, wansi w'obukulembeze bwa Bataringaya, akakiiko k'abakyala ba Uganda kayisa ekiiteso nga kakubiriza nti amaateka goona agakwata ku bufumbo, okwawukana, n'okusikira ebintu gawandikibwe era gabunne egwanga lyonna nga eddala erisooka mu kutereza amateeka agaliwo kati nag'enono. Mu myaka kumi egyasooka nga Yuganda emaze okwenunula, akakkiko k'abakyala kano kayongera amanyi mu kusaba nti waberewo enongosereza mu mateeka nga gakiriza abakyala boona okubera n'enintu wamu nokusigaza abaana babwe bwe'waberewo engyawukana mu'maaka.[11] Omulimo gw'akiiko k'abakyala kano wansi w'obukulemmbeze bwa Bataringaya gwaletawo enkyukakyuka mu mateeka g'okwawukana mu maaka mu Yuganda, ekyaleeta okuwandika amateeka gano mu bulungi bwago nga gayisa omukaazi n'omusaja kyenkanyii nga wabadewo okwawukana.[12]

Okufa kwe[kyusa | edit source]

Bba wa Edith Mary Bataringaya, Basil Kiiza Bataringaya yakulemberamu okugezako okukwatta n'okusiba Idi Amin, ekyamufula omu ku bana'Yuganda abasooka okukwatibwa gavumenti ya Amin empya.[13] ngali mu komeera e' Makindye, Bataringaya yatulugunyizibwa.[14] bamala nebamusindika mu kibuga ky'embarara we bamutematemera ngali mulamu.[15] Omutwe gwe baguteka ku kiiti nebagwetoloza mu kibuga Mbarara nebamala nebagutwala mu nkambi y'amagye eya Mbarara.[16]

Edith Mary Bataringaya yafuka namwandu nakuza abaana babwe munana yeka ku taaka lyabwe e' Mbarara, nafuka omuntu Amin gweyali yekengera.[17] Bataringaya naye yamala natiibwa mu 1977 mu kiita bantu kya Amin ekyadako, kigambibwa nti yatiibwa Juma Bashir, ayali afuga ekitundu kya bugwa'njuba bwa Yuganda mu gavumenti ya Amin.[15] Omubiri gwe basanga nga bagwokyeza nga bagusude mu taaka lya Bataringaya mu Mbarara.[18] yaleka bamulekwa munana abakuzibwa kooja wabwe, Dr. Emmanuel Kaijuka.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Edith Mary ne Basil Kiiza Bataringaya balina abaana munana, Dr. Geoffrey Basil Bataringaya, Basil Bataringaya Jr., Grace Bataringaya, Kenneth Bataringaya, Jackie Bataringaya, Janet Bataringaya, Juliet Wavamunno, ne Dr. Aisha Bataringaya-Ssekalala.[19] Abaana bano bafuka ba mulekwa mu 1977 ng'abazadde babwe bamazze okutiibwa Amin. mwanyina wa Edith Mary Bataringaya, Dr. Emmanuel Kaijuka eyamala nafuka omukulu wakakiiko k'ebyobulamu (Ugandan Commissioner of Health), yeyakuza abaana bano.[19]

Mu 1985, abaana badamu nebasisinkana omulundi ogwasooka kuva maama wabwe bweyafa.[19] Abaana bano bamala nebafuna emirimu n'obulamu obusanyusa: Grace Bataringaya musaawo w'ebisoolo era ategeka ebivulu, Kenneth Bataringaya musubuzi era yalabilila emaali y'amaka gabwe, Jackie Bataringaya musawo ng'akola nekitongole kya Action Aid mu Harare, Zimbabwe, Janet Bataringaya akola by'obulamu bya boona mu Boston, Massachusetts mu Amerika, Juliet Wavamunno (née Bataringaya) musawo era akola nekitongole ky'ensi eky'ebyobulamu (World Health Organization), atte Aisha Bataringaya-Ssekalala (née Bataringaya) asoomera ku University of Western Cape mu South Africa.[19]

Ebyenzikiriza/ Ebyeddini[kyusa | edit source]

Bataringaya yali Mukatoliki ate yali yeenyigira mu mirimu gya Eklezia. Taata wa Bataringaya yali musomesa mu kanisa ya Yuganda atte ne bataringaya bamukuliza mu kanisa.[3] Bba wa Bataringaya yasooka kuba musomesa mu ssomero ly'Abakatoliki mu Ankole, era yali mulambuzi wa masomero mu Ankole nga tannayingira byabufuzi.[20] Edith Mary Bataringaya yafuuka Mukatuliki ng'amaze okufumbirwa Basil Kiiza Bataringaya ate yakola n'ebitongole by'Abakatoliki mu bulamu bwe obw'okukola bwonna, ali ne ku lukalala lw'emikwano gy'ebitongole by'Abakatoliki mu Mbarara.

Ebijulizo[kyusa | edit source]

 

  1. 1.0 1.1 https://web.archive.org/web/20190110182350/http://ugandansatheart.blogspot.com/2014/02/uah-group-of-ugandans-in-israel-during.html
  2. https://academic.oup.com/afraf/article-abstract/72/288/237/27097?redirectedFrom=fulltext
  3. 3.0 3.1 3.2 https://web.archive.org/web/20190110181612/https://mulerasfireplace.com/kihanga-boys-primary-school-remembering-my-headmasters-my-teachers-and-the-buildings/
  4. https://web.archive.org/web/20190112062127/https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1300054/basil-bataringaya-father-opposition-cross-overs
  5. Wilson, E. G. (1966). Who's Who in East Africa 1965–1966. Nairobi, Kenya: Marco Publishers.
  6. Who's Who in East Africa 1967–1968. Nairobi, Kenya: Marco Publishers. 1968.
  7. https://web.archive.org/web/20190109180951/http://parliamentwatch.ug/a-look-at-the-history-of-ugandas-parliament/
  8. Mazrui, Ali (Summer 1970). "Leadership in Africa: Obote of Uganda". International Journal. Canadian International Council. 25 (3): 538–564. doi:10.1177/002070207002500306. JSTOR 40200856.
  9. https://web.archive.org/web/20190109201741/https://mobile.monitor.co.ug/Uganda-s-political-defections-over-the-past-50-years/-/691260/2057974/-/format/xhtml/-/qgp9dj/-/index.html
  10. 10.0 10.1 https://web.archive.org/web/20190109201741/https://mobile.monitor.co.ug/Uganda-s-political-defections-over-the-past-50-years/-/691260/2057974/-/format/xhtml/-/qgp9dj/-/index.html
  11. Uganda country study. Library of Congress Federal Research Division (December 1990). This article incorporates text from this source, which is in the public domain.
  12. https://web.archive.org/web/20190321041238/https://ulii.org/ug/legislation/consolidated-act/249
  13. https://web.archive.org/web/20190110042400/https://www.monitor.co.ug/News/National/Bataringaya-risked-arrest-Amin/688334-3113094-5lfp9j/index.html
  14. Decker, Alicia C. (15 November 2014). In Idi Amin's Shadow: Women, Gender, and Militarism in Uganda (in Lungereza). Athens, OH: Ohio University Press. ISBN 978-0-8214-4502-0.
  15. 15.0 15.1 https://books.google.co.ug/books?id=EkSP9XUIAKsC&pg=PA100&redir_esc=y&hl=en#v=onepage&q&f=false
  16. "Amin's Death Roll". Transition. Indiana University Press on behalf of the Hutchins Center for African and African American Research at Harvard University. 49 (49): 17–27. 1975. JSTOR 2934890.
  17. Olowo Onyango, Eria (2010). Pastoralists in Violent Defiance of the State: The case of the Karimojong in Northeastern Uganda. University of Bergen: Dissertation for the degree philosophiae doctor (PhD) at the University of Bergen.
  18. Stokes, Brigid. Memories. Mbarara, Uganda: Daughters of Mary and Joseph.
  19. 19.0 19.1 19.2 19.3 https://allafrica.com/stories/200306100570.html
  20. Who's Who in East Africa 1967–1968. Nairobi, Kenya: Marco Publishers. 1968.