Jump to content

Ekibinja kya Bataka

Bisangiddwa ku Wikipedia
Saba Saba

Bataka Squad (eyali eyitibwa Bataka Underground) kibiina kya hip hop mu Uganda. Ekibiina kyatandikibwawo Babaluku (a.k.a. Sniperous MC), Saba Saba aka Krazy Native ne Big Poppa Momo MC. Kyatandikibwawo wakati w'emyaka gya 1990, kyekimu ku bibiina bya hip hop ebyasooka mu Uganda.

Oluvannyuma ekibiina kyeyungibwako Newton kati ali mu L.A, La Rat kati ali mu London, UK, Lyrical G oluvannyuma eyeeyunga ku Urban Thugs era oluvannyuma n'atandika okuyimba yekka. Chagga eyavaayo ne yeegatta ku Chameleone ng'omuyimbi ayimbira emabega we. Oluvannyuma Shillingz eyali amanyiddwa olw'okucangacanga olulimi lwe era nga kati abeera mu Toronto, Canada. Oluvannyuma "Farious" eyazaalibwa mu Burundi naye n'akomawo eka. Mu kiseera kino, Saba Saba, Babaluku ne mmemba omupya Tshila baasigala bakiyita Bataka Squad.

Ekigambo 'Bataka' kitegeeza bannansi. Bammemba baayagala abantu bategeere ebyafaayo byabwe. Abaatandikawo abasatu baazaalibwa era ne bakulira mu Kampala, Uganda. Ekigambo Underground kyali kigendereddwamu okutegeeza "Si kya busuubuzi". Bataka Underground yatandika n'ekigendererwa eky'okutumbula abantu b'omu Uganda nti bali mu kiseera ekipya.

Bakola ku CD eyagendererwa okufulumizibwa mu 2007

Mu 2006, ekibiina kyazannyira mu Trinity International Hip Hop Festival mu Hartford, Amerika.

Ekibiina kino era kyogerwako mu firimu ya Diamonds in the Rough: A Ugandan Hip Hop Revolution.

Engule z'awangudde

[kyusa | edit source]
  • 2007 Pearl of Africa Music Awards (PAM Awards) - Best Hip Hop Single ("Utake Anthem")

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]


Obulandira obulala

[kyusa | edit source]