Ekika ky'embogo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jump to navigation Jump to search

Ekika kino kyatandikibwawo Kyoto Kiwutta Makumbi mu mirembe gya SsekabakaKintu mu kyasa ky'ekkumi neebisatu. Wabula kiwanuuzibwa nti Ab'embogo bano baava ku kizinga Bunyama mu Ssese.Oluvannyuma lw'ensonga ezitaategeerekeka, Ab'embogo baava ku kizinga kino ne baggukira ku mwalo e Musa Nnono Mawokota. Bwe baagoba ku kizinga ekyo, Kyoto yatema ettaka ku lukalu n'aliyiwa mu nnyanja olwo, n'agatta olukalu ku nnyanja. Awo nno we yaggya erinnya lya Makumbi