Ekizibu ky'Okwerabira
Dementiakye kizibu ky'obwongo ekimala ekiseera ekiwanvu nga kigenda kinafuya okulowooza n'okujjukira kw'omuntu mu bintu by'akola mu bulamu bwe obwa bulijjo.[1]
Obumu ku bubonero
[kyusa | edit source]- okulemererwa okutereeza obulungi olulimi olwogerwa
- obwennyamivu obwa buli kiseera
- okulemererwa okufuga obulungi obwongo ku bintu ng'obusungu, essanyu, enjala n'ebirala.
Wabula, kino tekikyankalanya ntegeera ya muntu.
Ebireeta ekizibu ky'okwerabira
[kyusa | edit source]- Ekiku mu bireeta ekizibu kino kwe kuba nti omusaayi tegukyatuuka bulungi ku bwongo ekiyitibwa vascular dementia
- ekirala kwe kukyankalana oba okufa kw'obutoffaali obusirikitu obukuuma wamu n'okutambuza ebintu ebiba biterekeddwa mu bwongo obuyitibwa nerves era nga kino kiyitibwa Aizheimer's disease
- kabootongo n'ebirala.
Ekizibu kino bakikebera n'okugigezesa nga bakozesa akakodyo k'okubuuza omulwadde ebibuuzo eby'enjawulo ebitegekerwa okugezesa entegeera n'obujjukizi bw'obwongo bwe (mini mental state examination).
Engeri y'okwewala ekizibu ky'okwerabira
[kyusa | edit source]- Weewale okuba ng'omutima gwo gukubira kumukumu
- tofuuweeta (tonywa) biragalalagala nga ssigala, enjaga n'ebirala
- weewale ekirwadde kya ssukaali
- weewale omugejjo(okuyimbulukuka ennyo)[[1]]
Eddagala
[kyusa | edit source]Wabula tewali ddagala liwonya ndwadde eno ey'okwerabira, wabula waliwo eryo eritera okukozesebwa okusobola okugikkakkanyaako, gamba ng'eryo eriyitibwa donepezil.
Oyo alabirira omuntu alina ekizibu kino asaanye fune okuyigirizibwa ku ngeri gy'asaanye okumukwatamu era n'okumukuumamu nga bali mu bulamu obwa bulijjo.
Kyokka singa omulwadde akyusa enneeyisaaye n'eba ng'etakyali ya buntu, waliwo eddagala eritera okumuweebwa naye nga terisembebwa kukozesebwa,anti teritera kuleetawo njawulo nnene ate nga lyongera kukendeeza ku bulamu bwa mulwadde.
Ebibalo biraga nti ekizibu ky'okwerabira kikosa abantu abawererako ddala obukadde asatu mu mukaaga (36), naye nga businga mu bakadde okuva ku myaka nga nkaaga mu etaano okudda waggulu(65+).