Ekkuumiro ly'ebisolo erya Lake Mburo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Lake Mburo National Park
The entrance sign to Lake Mburo National Park
Lua error in Module:Location_map at line 522: Unable to find the specified location map definition: "Module:Location map/data/Uganda" does not exist.
LocationNyabushozi County, Kiruhura District,  Uganda
Nearest cityMbarara
Coordinates00°37′40″S 30°58′00″E / 0.62778°S 30.96667°E / -0.62778; 30.96667Coordinates: 00°37′40″S 30°58′00″E / 0.62778°S 30.96667°E / -0.62778; 30.96667
Area260 km2 (100 sq mi)
Established1983
Governing bodyUgandan Wildlife Authority
Template:Designation list

Ekkuumiro ly'ebisolo erya Lake Mburo.

Ekkuumiro ly'ebisolo erya Lake Mburo kkuumiro erisangibwa mu ssaza ly'e Nyabushozi , mu disitulikiti y'e Kiruhura okuliraana Mbarara mu Uganda.

Ekifo[kyusa | edit source]

Ekkuumiro lya Lake Mburo lisangibwa mu disitulikiti y'e Kiruhura mu kitundu ky'obugwanjuba bwa Uganda, mu kiromita eziri mu 30 (19 mi) mu buvanjuba bwa Mbarara ne kkiromita eziri mu 240 (150 mi) ku luguudo mu bugwanjuba bwa Kampala.

Ebisolo[kyusa | edit source]

Okuva mu 2005, ekifo kikuumibwa ng'ekifo awasangibwa empologoma.Since 2005, the protected area is considered a Lion Conservation Unit.[1]

Ekkuumiro lirimu entulege, evubu, empala, warthog, engabi, embogo n'ebinyonyi ebisukka mu 300.

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

Ekkuumiro lya lake mburo lyatongozebwa mu 1933 nga ekifo ekitakkirizibwamu kuyigga oluvannyuma ne lifuuka ekkuumiro mu 1963. Abanyankole Bahima baagenda mu maaso n'okuliisiza ensolo zaabwe mu kitundu okutuuka ekifo lwe kyalinnyisibwa ne lifuuka ekkuumiro mu 1983. Gavumenti ya Obote okusalawo kino yagenderera okunafuya Abanyankole abaali batawagira ntalo ze. Kino kyatuukira mu kiseera ky'ekittabantu nga abantu 300,000. Abalunzi b'ente abaggyibwa mu kifo ne bataliyirirwa olw'ettaka lyabwe kwe baali balundira eryali litwaliddwa oba okuyambibwako okubazza mu kifo ekirala, bangi baasigala nga bakambwe nnyo olw'okufuula ekifo kino ekkuumiro ly'ebisolo. Ettaka eririraanye ekkuumiro nalyo lyagabanyizibwamu bu poloti obutono okulimibwako emmere y'okulibwanga awaka.[2]

Mu 1985, ekisanja ky'obote ekyokubiri kyagaana era abaali abasenze b'okuttaka lya Lake Mburo b'eddiza ettaka ly'ekkuumiro era ne bagobako abakozi b'ekkuumiro, baayonoona buli kye baali bataddeko n'okutta ebisolo. Ettaka eritasukka kitundu ku ly'ekkuumiro eryasooka oluvannyuma lyaddamu okufuulibwa ekkuumiro gavumenti ya National Resistance Movement mu 1986.[3]

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Kiruhura_District
  2. Mallarach, Josep-Maria (2008). Protected landscapes and cultural amb [i.e. and] spiritual values. Heidelberg: World Conservation Union. pp. 132–134. ISBN 3925064605. Mallarach, Josep-Maria (2008). Protected landscapes and cultural amb [i.e. and] spiritual values. Heidelberg: World Conservation Union. pp. 132–134. ISBN 3925064605.
  3. Mallarach, Josep-Maria (2008). Protected landscapes and cultural amb [i.e. and] spiritual values. Heidelberg: World Conservation Union. pp. 132–134. ISBN 3925064605. Mallarach, Josep-Maria (2008). Protected landscapes and cultural amb [i.e. and] spiritual values. Heidelberg: World Conservation Union. pp. 132–134. ISBN 3925064605.