Ekkuumiro ly'ebisoro erya Murchison Falls
Murchison Falls National Park | |
---|---|
Kabalega National Park | |
Lua error in Module:Location_map at line 522: Unable to find the specified location map definition: "Module:Location map/data/Uganda" does not exist. | |
Location | Uganda |
Nearest city | Masindi |
Coordinates | 02°11′15″N 31°46′53″E / 2.18750°N 31.78139°ECoordinates: 02°11′15″N 31°46′53″E / 2.18750°N 31.78139°E |
Area | 3,893 km2 (1,503 sq mi) |
Established | 1952 |
Governing body | Ugandan Wildlife Authority |
Template:Designation list |
Ekkuumiro ly'ebisoro erya Murchison Falls
Ekkuumiro ly'ebisolo erya Murchison Falls (MFNP) kkuumiro ly'ebisoro mu Uganda eriddukanyizibwa Uganda Wildlife Authority. Liri mu bukiikakkono bw'obuvanjuba bwa Uganda nga liviira ddala ku nnyanga Muttanzige okuzingiramu Victoria Nile okutuuka ku biriyiriro by'e Karuma.
Awamu n'obwagaagavu bwa ssukweya kkiromita 748 (289 sq mi) ekkuumiro lya Bugungu ne ssukweya kiromita 720 (280 sq mi) Ekkuumiro lya Karuma, ekkuumiro liko Murchison Falls Conservation Area (MFCA).[1]
Ekifo
[kyusa | edit source]Ekuumiro lizingiramu disitulikiti za Uganda eza Buliisa, Nwoya, Kryandongo ne masindi. Olugendo ng'oli mu mmotoka okutuuka mu kibuga ekiriraanyewo luli kkiromita 72 (45MI).[2] Ekkuumiro liri kkiromita 283 (176 mi) mu bukiikakkono bw'obugwanjuba bwa kampala ekibuga kya Uganda ekikulu. Ekkuumiro liri ku buwanvu okuliraana Kibanda 02°11'15.0"N, 31°46'53.0"E (Latitude:2.187499; Longitude:31.781400).[3]
Ebyafaayo.
[kyusa | edit source]Abavumbuzi John Speke ne James Grant be bazungu abaasooka okukyala mu leero kimanyiddwa nga MFCA mu 1862. Kyazuulwa nnyo Samuel ne Florence Baker mu 1863-4. Baker ebiyiriro yabituuma Murchison Falls oluvannyuma lwa munnansozi Roderick Murchison, eya pulezidenti wa Roya Geography Society.[4]
Wakati wa 1907 ne 1912, abantu baali ku ttaka eriwerako ssukweya kkiromita 13,000 (5,000 sq mi) baasengulwa oluvannyuma lwa lw'omusujja gwa mmongoota ogusaasanyizibwa ebivu. mu 1910, Ekkuumiro ly'ebisoro erya Bunyoro lyatondebwawo mu bukiikaddyo bw'omugga Nile. Ekyo ekitundu kikwatagana n'ekitundu kya MFNP ekiri mu disitulikiti y'e Buliisa, Masindi, ne Kiryandongo. Mu 1928, ensalo zaayongezebwa mu bukiikakkono bw'omugga ennaku zino Nwoya disitulikiti.[5]
Mu 1952, Gavumenti y'abangereza yateekawo eteeka ly'amakuumiro mu Uganda. Ekifo ekyogerwako waggulu ne kituumibwa ekkuumiro lya Murchison Falls.[6]
Enkula
[kyusa | edit source]MFNP ly'ekkuumiro erisinga obunene mu uganda. Lisuubirwa okuba ku ssukweya kkiromita 3,893 (1,503 sq mi) Ekkuumiro ligabanyizibwamu Victoria Nile okuva mu buvanjuba okudda mu bugwanjuba mu buwanvu bwa kkiromita 115 (71 mi)
Ekkuumiro bwe busange bw'ebiriyiriro bya Murchison amazzi ga Nile we gayita mu mwagaanya gw'ekiwonvu kya mmita 7 (23 ft) nga tegannasaasaana mu bugazi bwa mmita 43 (141 ft)
Era mu kkuumiro okuliraana oluguudo mwasanjala olwa Masindi-Gulu Highway, bye biriyiriro by'e karuma okuli ebbibiro lya megawatt 600 erinaabeera ensibuka y'amasannyalaze esinga mu Uganda mu mwaka 2018 we gunaatuukira.
Ebisolo.
[kyusa | edit source]MFCA n'ekkuumiro eriririraanye erya Budongo birina ebisolo ebiyonsa 76 era nga lye lisingamu goonya ennyingi mu Uganda. Ebika by'ebinyonyi ebiri mu 450 nga kwe kuli n'ebyo ebisangibwa ku mazzi omuli shoe-billed stork n'ebyo 59 nga bisangibwa mu Budongo mwokka,dwarf kingfisher, Goliath heron, white-thighed hornbill ne great blue turaco[7].
Okuva mu 2005, Ekifo ekikuumibwa kitwalibwa nga ekifo awasangibwa empologoma. Mu 2010, kyali kiteeberezebwa nti entuga 250 zokka ze zaali mu kkuumiro. Ebyana by'entuga 37 byaggyibwa mu bukiikakono bw'omugga Nile ne bitwalibwa mu maserengeta mu 2016-2017 bwe bayli biweze 1,500.[8]
Ebifaananyi
[kyusa | edit source]-
Herd of African buffaloes
-
Lions in the national park
Laba ne
[kyusa | edit source]- List of national parks of Uganda
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ UWA (3 November 2016). "About Murchison Falls National Park". Kampala: Uganda Wildlife Authority (UWA). Archived from the original on 1 November 2016. Retrieved 3 November 2016. UWA (3 November 2016). "About Murchison Falls National Park". Kampala: Uganda Wildlife Authority (UWA). Archived from the original on 1 November 2016. Retrieved 3 November 2016.
- ↑ Globefeed.com (3 November 2016). "Distance between Masindi Hotel, Masindi, Western Region, Uganda and Murchison Falls National Park, Kibanda, Western Region, Uganda". Globefeed.com. Retrieved 3 November 2016.
- ↑ Template:Google maps
- ↑ Thomas Paul Ofcansky (2004). Baker, Sir Samuel White (1821–1893). Oxford Dictionary of National Biography, Oxford University Press. Retrieved 3 November 2016.
- ↑ UWA (3 November 2016). "About Murchison Falls National Park". Kampala: Uganda Wildlife Authority (UWA). Archived from the original on 1 November 2016. Retrieved 3 November 2016. UWA (3 November 2016). "About Murchison Falls National Park". Kampala: Uganda Wildlife Authority (UWA). Archived from the original on 1 November 2016. Retrieved 3 November 2016.
- ↑ UWA (3 November 2016). "About Murchison Falls National Park". Kampala: Uganda Wildlife Authority (UWA). Archived from the original on 1 November 2016. Retrieved 3 November 2016. UWA (3 November 2016). "About Murchison Falls National Park". Kampala: Uganda Wildlife Authority (UWA). Archived from the original on 1 November 2016. Retrieved 3 November 2016.
- ↑ "Murchison Falls National Park: Biodiversity". 3 November 2016. Archived from the original on 1 November 2016. Retrieved 3 November 2016.
- ↑ Expeditions, Simba Africa (21 December 2016). "Murchison falls Giraffe translocation | Trekking Giraffes in Uganda". www.africa-expeditions.com (in English). Archived from the original on 22 September 2020.
{{cite web}}
: CS1 maint: unrecognized language (link)