Eleanor Nabwiso

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Eleanor Vaal Nansibo Nabwiso[1] munayuganda omuzannyi wa firimu, mutandisi, mukulembeze era nga muzannyi wa firimu ku ttivi mu Uganda. Amanyiddwa olw'omulimu gwe yakola ku The Hostel,[2] Rain, Beneath the Lies - The Series ne Bed of Thorns nga dayirekita.[3] Era alina kkampuni eyitibwa Nabwiso Films gye yatandikawo n'omwami we Matthew Nabwiso.[4]

Obulamu n'obuvo[kyusa | edit source]

Nabwiso yazaalibwa mu ddwaliro lya Sir Albert Cook Mengo mu maka ga munnabyabufuzi eyawummulako, Rev. Dr. Kefa Sempangi ne Jane Frances Nakamya.[5] Nabwiso ye mwana owokusatu ku baana bataano. Kitaawe, eyatandikawo Ekkanisa ya Presbyterian mu Uganda, era yali wa mugaso nnyo mu buweereza eri abaana b'oku nguudo mu Uganda mu 1971 wansi w'akabonero ka The Africa Foundation.[6]

Okusoma[kyusa | edit source]

Nabwiso yamaliriza emisomo gye egya pulayimale mu Namagunga Girls' Primary School. Oluvannyuma yagenda mu Seeta High School Mukono ku O ne A Levels gye yagenda ne Sikkim Manipal University gye yafuna diguli mu bya sayansi mu IT.[7][5]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Olugendo lwe olw'okuzannya firimu n'okufulumya firimu lwatandika ng'akyali mu myaka gye egy'obutiini. Mu luwummula lwe olwa Senior Six yalondebwa okufulumya programu ya wiikendi, K-Files ku WBS TV.[5] Yazannyira mu firimu ya The Hostel eya Uganda eya Sabiiti "MMC" Moses ne Emanuel "BUUBA" Egwel ekwata ku bulamu bw'abayizi ba yunivasite mu bifo byabwe. Yazannyira mu Kyaddala omuzannyo gwa ttivvi gwa pan-African ogwa Emmanuel Ikubese ku Emmanuel Ikubese Films ne Reach a Hand Uganda nga Bursar, #Family (Hashtag Family) omuzannyo gw'oku ttivvi ogwa Jackie Mpanga, Beneath The Lies omuzannyo ogw'ekyama ogwa ttivvi wa Uganda ogwa Nana Kagga Macpherson nga Nancy, Watch Over Me nga Lynnet. Bed of Thorns (#Tosirika) ye firimu y'abakazi eya Uganda eyafulumizibwa mu Nabwiso Films.

Awaadi n'okulondebwa[kyusa | edit source]

Yawangula ekirabo kya Best Actress in TV Drama mu Uganda Film Festival Awards 2019,[8] era yalondebwa era n'awangula ekirabo ca London Arthouse Film Festivale Award, Africa Focus Award for Best Feature Film, byombi olw'omuzannyo Bed of Thorns.[3][9][10]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Yafumbirwa omuzannyi wa firimu era omuyimbi Matthew Nabwiso era balina abaana bana.[11][12]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. Eleanor Nabwiso
  2. Eleanor Nabwiso
  3. 3.0 3.1 {{cite web}}: Empty citation (help)
  4. Eleanor Nabwiso
  5. 5.0 5.1 5.2 Eleanor Nabwiso
  6. Eleanor Nabwiso
  7. Eleanor Nabwiso
  8. Eleanor Nabwiso
  9. "Eleanor and Matthew Nabwiso's fairytale". Daily Monitor (in Lungereza). Retrieved 2020-03-07.
  10. {{cite web}}: Empty citation (help)
  11. Eleanor Nabwiso
  12. Eleanor Nabwiso