Elizabeth Ibanda-Nahamya
Elizabeth Ibanda-Nahamya yali Munnayuganda munnamateeka era omulamuzi, ye, nga 22 Ogwokussattu 2018, yalondebwa nga omulamuzi wa Mechanism for International Criminal Tribunals (MICT).[1] Okulondebwa António Guterres, Secretary General wa United Nations, kwali kuzaawo MICT, okugobereza omulamuzi Solomy Balungi Bossa eyali agenze, nga alondedwwa mu kooti yaInternational Criminal Court.[1] Nga ebyo tebinabaawo, yali atuula ku High Court of Uganda, eyo gye yateekebwa ku kkooti ya International Crimes Division of that court.[1]
Ebimukwaatako n'emisomo
[kyusa | edit source]Yatikibwa okuva mu Faculty y'amateeka ku Yunivasitte y'e Makerere, Yunivasitte ya Gavumenti ya Uganda esinga obunene n'obukulu, ne Diguli y'amateeka. Yafuna Dipulooma mu kukola amateeka eya Legal Practice okuva mu Law Development Centre mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Alina Masters mu by'amateeka okuva mu Yunivasitte ya New Haven, mu West Haven, Connecticut, United States.[2] Asomye emisomo gya postgraduate courses egiwerako,[2] omuli emu ku International Development Law Organization, mu Rome, Italy mu 1992.[3]
Emirimu
[kyusa | edit source]Mu biseera by'okuteekawo Constitution ya Uganda aya 1995 Constitution, Ibanda-Nahamya yali munoonyereza ku Constituent Assembly. Era yaweereza nga omuwi w'amagezi mu by'amateeka ku Constituent Assembly Women Caucus.[1] Yakola nga omunoonyereza ku Uganda Ministry of Justice and Constitutional Affairs, eyo gyeyetaba mu ku kola omukaggo gwa Parliamentary Election Bill ne Presidential Election Bill. Mu mwaka gwa 1993, yaweereza nga legal consultant mu minisitule y'ebyenfuna mu Uganda eya Uganda Ministry of Finance.[1]
Aweereza nga omulamuzi ku kkooti ya Special Court for Sierra Leone, okuva mu 2004 okutuusa 2008 ne kkooti ya International Criminal Tribunal for Rwanda, okuva mu 1996 okutuusa 2004.[1][2]
Justice Nahamya era asomeseza ku Yunivasitte ya Ahmadu Bello, mu Zaria, Nigeria ne ku National University of Lesotho, mu Maseru, Lesotho. Yebuuziza ku World Bank[2] ne Commonwealth Secretariat.
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1475459/secretary-appoints-ugandan-judge
- ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 "Archive copy". Archived from the original on 2023-12-06. Retrieved 2024-04-16.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.idlo.int/news/story/alumni-voices-uganda-thirty-years