Endagabwolekero
Endagabwolekero[1][2] eba nnyanguyirizi[3] eraga obwolekero okusobola okulaga ebiseyeeya mu bwengula nga ennyonyi, ku mazzi nga emmeeri n'amaato, ne kuttaka nga emmotoka n'abantu abatambuza ebigere obwolekero[4] obutuufu bwe baba betaaga okukwata okutuuka gye balaga. Endagabwolekero ebaako nigina eziraga:
- Obukiikakkono[5] oba mambuka[6]
- Bukiikakkono owa buvanjuba[7]
- Obuvanjuba[8]
- Bukiikaddyo owa buvanjuba[9]
- Obukiikaddyo[10] oba maserengeta
- Bukiikaddyo owa bugwanjuba[11]
- Obugwanjuba[12]
- Bukiikakkono owa bugwanjuba[13]
Manya: Okusobola okumanya awali bukiikakkono[5] n'awali bukiikaddyo[10], obwenyi bwo butunuze buvanjuba (enjuba gy'eva), omukono gwo ogwa kkono gye gutunudde we waba obukiikakkono[5] ate omukono gwo ogwa ddyo gye gutunudee we wali obukiikaddyo[10]. Enkoona yo gy'etunudde we waba obugwanjuba[12].[2]