Endagamuwendo (digits)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa Muwanga !!Endagamuwendo(Digits) kye ki? Zino wansi z'endagamuwendo gwa namba:

Endagamuwendo 1 , 2 ,3 ,4 ,5 ,6 ,7 ,8 , 9

Mu namba 2,357 , bbiri ndagamuwendo gwa nkumu, satu ndagamuwendo gwa bikumi, taano ndagamuwendo gwa makumi ate musanvu eraga muwendo gwa namunigina(units) eziyitibwa ensusuuba(ones).

Mu namba 509 , taano ndagamuwendo gwa bikumi, zeero nkuumakifo(placeholder), ekuuma kifo kya makumi ate mwenda nsusuuba.

Mu mugereeso gwa namba(number theory), "endagamuwendo" ke “akatoffaali akazimba namba” (a digit is the building block of a number)akalaga omwendo gwa buli ndagamuwendo(digit) mu namba .

Nga namba bwe buli obutoffaali obuzimba sessomo ly’ekibalangulo, obutaffaali obuzimba namba ze endagamuweno (digits). Namba ziri buli wamu mu kibalangulo era ziyinza okusengekebwa mu biti oba emitendera egy’enjawulo, ebisonjozo n’ebinnyonnyozo eby’enjawulo.


Endagamuwendo ze tukozesa kati ziyitibwa “Namba za Kiyindi-Kiwarabu” ("Hindu-Arabic Numerals) era zifaanana bwe ziti:

0 1 2 3 4 5 6 7 8 9

Zino oyinza okuzikozesa ku bwazo okubala okutuuka ku mwenda. Okubala kkumi oba okweyongerayo, tuba tutandika n’omusimbalaala omulala, omusimbalala ogwa “amakumi”, olwo ne tuwandiika amakumi ameka ge tulina, ne tuddirira namunigina meka.

Namba “13 “etegeeza erimu ekkumi limu ne namunigina(ensusuuba) 3Kino era kiyinza okuwandiikibwa nga (1 × 10) + (3 × 1). Ekyokulabirako:"75" kitegeeza amakumi musanvu ne namunigina 5 oba(7 × 10) + (5 × 1)

Bwe tuba n’emiramwa egisukka mu 99, tuba tutandika omusumbalala omulala. Wano twetaaga okulaga ebikumi bimeka, amakumi ameka ne namunigina meka. Mu namba 194 tuba tulina ekikumi kimu, amakumi mwenda, ne namunigina nnya. Kino era tuyinza okukiwandiika nga (1 × 100) + (9 × 10) + (4 × 1). Mu namba "735" oba okiraba nti mulimu ebikumi 7, amakumi 3 ne namunigina 5,era ekiyinza okulagibwa nga (7×100 )+ (3×10 )+ (5×1).

Okutwalira awamu buli lw’oyagala okulaga namba esingako obunene, tuba tugattako omusimbalala gumu (one column) ku kkono era ne tumanya nti kino kitegeeza emirundi 10 okusingako omusimbalala oguli ku ddyo. Kati okiraba nti wetuteeka digito wa mugaso nnyo.