Enid Mirembe
Enid Mirembe, ye munnayuganda eyavuganyaako mu mpaka z'obwa nnalulungi, yayambazibwa engule eya "Miss Tourism Busoga Region" nga 26 Ogwmusanvu 2015. Mu 2016, yalondebwa ng'omu ku "The 40 Movers and Shakers of 2016", okuva mu Satisfashion Uganda, magaziini y'emisono mu Uganda.
Ebyafaayo n'okusoma
[kyusa | edit source]Yazaalibwa mu disitulikiti eye Bugiri 1993. Oluvannyuma lw'okusomera mu masomero ag'omu kitundu pulayimale ne sekendule, yaweebwa ekifo mu Makerere University, yunivaasite y'eggwanga esinga obunene n'obukadde mu Uganda. Yafuna diguli esooka mu Arts mu 2016.
Emirimu
[kyusa | edit source]Bwe yali mu mwaka ogw'okusatu ng'asoma mu Makerere University, yavuganya mu mpaka za Miss Tourism Beauty Pageant, ng'akiikirira ekitundu ekye Busoga. Empaka zaategekebwa ekitongole ekya Uganda Tourism Board ne Minisitule ey'eby'obulambuzi mu Uganda.
Mu kiseera ky'obuweereza bwe, yategeka ekikujjuko ekiyitibwa "Rolex Festival". Rolex mmere erimu amaggi agasiikidwa n'enva endiirwa eziteeredwa munda mu chapati. Rolex zisinga kuliibwa mu bibuga bya Uganda ebisinga. Omukolo gwetabwamu abatunzi b'emmere eno nga bagiteekateeka mu bungi kunguudo z'ebibuga oba tawuni. Abaguzi betoloola abafumbi eb'enjawulo,bwebalozaako awamu n'okugula nga bwebalya byebatabudde. Enid Mirembe ekiseera kye eky'obwa nnalulungi kyagwaako yasigala ategeka ebijaguzo bino.
Laba era
[kyusa | edit source]Ebyawandiikibwa
[kyusa | edit source]Enkolagana ez'ebweru
[kyusa | edit source]- Rolex Kati mu butongole ekakasidwa ng'emmere esikiriza abalambuzi nga 22 Ogwokuna 2016.