Enziring'ana y'Obubalanguzo (the Order of Operations)

Bisangiddwa ku Wikipedia

IALI NGO has been authorized by terminologist Charles Muwanga to post this article from his Luganda scientific terminology works on Luganda Wikipedia for free public consumption.

Enziring’ana y’obubalanguzo oba enziring'anya y'Obubalanguzo is mathematical Luganda for "Order of operations)

Ekimu ku bigoberero by’ekibalo ebisookerwako y’enziring’anya y’emibalanguzo (order of operations) erina okugobererwa buli mubalanguzi oba buli muyizi ng’akola ku myeyoreko egy’enjawulo:

Okubalanguza nakyenkanyampuyi z’ekibalangulo kintu kya bulijjo mu bulamu. Kyokka kyetaagisa okugoberera enziring’ana entuufu nga obaza ekikunizo osobole okutuuka ku ansa entuufu ky’ekibaririzo (arithmetic problem).

Mu sessomo ly’ekibalangulo mulimu emibalanguzo gy’ekibalangulo era ekiyitibwa obubalanguzo bw’ekibalangulo (mathematical operations) egisookerwako ena.Singa oweebwa ekikunizo nti baza 2 emirundi 3 eya kyebiriga ogatteko 2. Bigoberero ki by’okozesa wano?

Ng’ogoberera ebigoberero eby’enziring’anya y’obubalanguzo(order of operations), sookera ku bukomera (parentheses) bw’omala oba bwe waba tewali miwendo giri mu bukomera ozzaako emiwendo egy’emifunza (exponents) nga satu eya kyebiriga. Wano satu eya kyebiriga gwe muwendo ogw’omufunza. Kati bw’omala omufunza n’odda ku kugabiza n’okukubisaaamu emirundi. N’ekisembayo kwe kubaza okugatta n’okwawuza.

Wano okiraba nti ekigoberero ky’enziring’anya y’obubalanguzo (order of operations) edding'ana bw’eti:

i) Bukomera ii) Mifunzo iii) Gabiza iv) Kubisa v) Gatta vi) Yawuza


Emibaranguzo(Obubalanguzo) gino gyeyambisibwa mu kyokka ate era waliwo ebinnyonnyozo ebikwata ku kubalanuza kw’ekibalirizo okubaza:

a) Okugatta b) Okwawuza c) Okukubisa (emirundi) d) Okugabiza

Kino wansi ky’ekigoberero ky’enziring’anya y’embalanguza mu ssomo ly’ekibalirizo:

a) Balanguza namba eziri mu bukomera nga ekisooka ozzeeko emifunza. Singa wabaawo omugereko gw’obukomera ogusukka mu gumu oba emifunza egisukka mu gumu, baza nga ova ku kkono okudda ku ddyo. Eky’okulabirako, mu nakyenkanyampuyi 5+(6-1) x (8+2), wano ekisooka kyandibadde kubaza (6-1) ate ekiddako ne kiba (8 +2).

b) Ekiddako baza ebitundu eby’okukubisa n’okugabiza ebya nakyenkanyampuyi. Nga tukozesa nakyenkanyampuyi eyo waggulu, bw’omala okubaza obukomera ne emifunza, ekiddako kiba 5+5 x 10. Singa wabaawo ekikunizo eky’okukubisa oba okugabiza ekisukka mu kimu, oba olina okukibalanguza okuva ku kkono okudda ku ddyo. Olw’okuba waliwo akalaga k’okukubisaamu kamu kokka ate nga tewali ka kugabizaamu, 5 x 10 ky’ekitundu kya nakyenkanyampuyi ekiddako.

c) N’ekisembayo maliriza ekikunizo nga obaza ebitundu eby’okugatta n’okwawuza okuva ku kkono okudda ku kkono nga bwe kyakoleddwa n’okukubisa n’okugabiza.Nakyenkanyampuyi kati efaanana nga 5+50, ekitegeeza nti ansa eri 55. N’olwekyo ekigoberero ky’enziring’anya ey’emibalanguzo kigenda bwe kiti: a) Tandika n’Obukomera n’emifunzo

b) Ozzeeko okukubisa emirundi n’okugabiza

c) Osembyeyo Okugatta n’okwawuza


"Obukomera" ()

      (Brackets)

Emyeyoreko egiri mu bukomera gye gisookerwako kubanga obukomera bwawulang’anya ebitundu eby’enjawulo eby’omweyoreko.Eky’okulabirako, mu mweyoreko (x+5)x4, ekitundu x+ 5 kye kirina okusooka okukolebwako kubanga omugatte gwa x + 5 guba gukubisibwamu 4. Kino kitegeeza nti singa oba tosoose kukola ku bukomera, ttno yokka y’eba ekubisibwamu 3.

"Emifunzo:

    (Exponents)

Emifunzo giweebwa ekifo kya kubiri mu kukolebwako.Omufunzo kitegeeza okukubisa namba ne yo yennyini emirundi emigere. 3 enfundize ku 4 kiragibwa nga 3x3x3x3.

Okukubisaaamu (emirundi)

       (Multiplication)

Okukubisa y’engeri ey’amangu ey’okubaza okugatta okuzibuwavu.Eky’okulabirako 5 x 6 kye kimu n’okugamba nti 5+5+5+5+5+5.

Okugabiza

   (Division)

Okugabiza ngeri ya kwabuluzaamu namba obubinja ebya kyegabanya. Eky’okulabirako 100/4 kyenkana 25 kubanga 25 eyabuluzaamu 100 ebibinja bina ebya kyegabanya.

Okugatta

  (Addition)

Okugatta ngeri ya kuteeka wamu namba ez’enjawulo. Eky’okulabirako 5+3 kyenkana 8 kubanga 8 erimu namunigina 3 ezirinnya waggulu okuva ku 5.

Okwawuza

  (Subtraction)

Okwawula oba okwawuza mulamwa okugwatagana n’okugatta okujjako nti odda wansi namunigina engere oba kiyita okujja ku namba. N’olwekyo 8-3 ofuna 5 kubanga 5 eri namunigina satu wansi wa 8.