Esteri Tebandeke

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Esteri Tebandeke yazaalibwa enaku z'omwezi 16 mu mwezi ogw'okutaano, mu mwaka gwa 1984, nga munayuganda akola firimu, okuzizzannya, okuzina amazina wamu n'okwongera obujogolo mu bifannanyi oba mu firimu. Yatikirwa okuva mutendekero ly'eby'amakolero wamu n'okusiiga ebifaanannyi okuva ku setendekero ly'e Makerere.

Azannya mu firimu eyitibwa ebibi by'abazadde, 'oba gy'oyinza okuyita ''Sins of the Parents'' eyafulumizibwa mu mwaka gwa 2008, ''Master on Duty'' ey'omu mwaka gwa 2009, Nnaabagereka w'e Katwe , oba ''Queen of Katwe'' ey'omumwaka gwa 2016, wamu n'ekisikirize kye ekimenyese oba ''Her Broken Shadow'' ey'omu mwaka gwa 2016, nga gwemulundi gwe gweyali asoose okuzannya firimu ekwatagana ku bintu nga tebiriiwo ng'eno yali ku kulumba omulambwa nga mumuguddeko bugwi nga mulina kyemwetaaga okumugyako.

Obulamu bwe n'eby'enjigiriza[kyusa | edit source]

Esteri yazaalibwa mu Kampala mu Uganda wabula ng'alina akakwate ku ggwanga ly'abateeso. Y'ow'omukaaga, ku baana omunaana, nga famire ye ebadde ebeera mu Uganda. Esteri yasomerako ku St. Joseph's Girl's Secondary School mu Uganda, nga yeetaba nga oba okwenyigira mu mizannyo gy'amasomero, wamu n'okuzina amazina.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Okuzina amazina[kyusa | edit source]

Esteri yatandika okukola ng'omuzinyi w'amazina mu mwaka gwa 2008, ng'era akozeeko ne kampuni z'amazina eziwerako mu Uganda okuli; eya ''Keiga Dance Company,'' ''Stepping Stones dance company'', ''Mutumizi dance Company'', ''Guerrilla Dance Company'' wamu n'endala nyingi.

Abaddeko ku bikujuko eby'enjawulo, ng'ekya ''Dance Week Uganda'', ''Dance Transmissions Festival'' (nga muno mwemuli okulaga ebika by'amazina ebitali bimu), ''Bayimba International Festival'' ey'okwolesezaako ebisiige ne Umoja International Festival, gyeyali ng'omuyizi, ate oluvannyuma ng'omusomesa okumala emyaka 3, okunokolayo ebitono tono. Emirimu tegigaanibwa mu Uganda yokka, wabula abaddeko ne mu pulojekiti nga mu ggwanga lya Kenya, Rwanda, Madagascar, South Afrika, Tanzania, Amerika ne Ethiopia. Ayoleserezaako ku bikujuko bya La Mama mu kibuga New York, ekya Amerika mu mwaka gwa 2012, mu kifo ekiyitibwa Artwater Village Theatre, gyebooleseza katemba mu mwaka gwa 2013, ne mu kibuga kya New Orleans Fringe mu mwaka gwa 2014.

Gyebazannyira katemba[kyusa | edit source]

Abadde mu zannyi w'akatemba oba firimu okuva mu mwaka gwa 2008, ng'ayoleseza mu bifo eby'enjawulo, wamu n'okufulumya firimu mu Uganda. Gyeyasooka okufulumya ng'eri ku siteegi baali bagiyita, empologoma n'eky'obugaggaoba ''Lion and The Jewel'' ng'eno gyeyazannya nga Sidi ng'era yalagirirwa Kaya Kagimu Mukasa.[1] Pulojekiti oba firimu endala zebazannya kubaddeko; Maria Kizito, nga yaakulembeddemu abazannyi nga omunnabiikira eyalina obulwadde bw'omutwe oba eyali yagwa eddalu, omuzannyo ogwawandiikibwa okukenkufu w'okutendekero lya Brown University, Erik Ehn, nga yali ekwatagana ku ababiikira abaali bagenda okuwozesebwa olw'okuba baalina omukono oba baayambako ku ba Tuutsimu biseera by'ekita bantu ekyali mu ggwanga lya Rwanda. SYeeyali akulembera abazannyi mu muzannyo ogwali guyitibwa ''ooking Oil,'' oba buto ng'omuzannyoaguno gwa wandiikibwa eyali omuwandiisi w'engule Deborah Asiimwe, nga gwayolesebwa mu Uganda Uganda, ne mu ggwanga lya Amerika. Emizannyo oba pulojekiti endala kwaliko, omusawo w'obwongo eyali atawanyizibwa mu mutwe mu kufulumizibwa kwa Uganda okwa, omubiri ogw'omukazi, ng'ekifo ekyalimu olutalo mu ggwanga lya Bosnian, wamu n'omukyala eyali akooye eby'obufumbo mu ''The Marriage Chronicles''.[2] Mu mwaka gwa 2015 nga gugenderedde, Esteri yagenda mu bukiika ddyo bwa Uganda, n'ekibinja ky'abazannyi, okukungaanya engero nga balina n'esuubi ly'okubikyusa nebabizannyamu emizannyo gy'okusiteegi, nga bagya kubiraga abalabi okwetoloola ensi. Pulojeti y'olugero lw'enkata oba kiyite ''The Story Circle project'', eyali ekulembeddwa Jerry Stropnicky, akolera mu kifo ewazannyitra emizannyo gy'okusiteegi mu Amerika, kyamuwa eky'okulaba mu nkozesa y'olugero ng'engeri y'okuyambamu abantu okumannyiira embeera ey'enjawulo ebeera ebanyiga gamba ng'embeera gyebabeera bayiseemu ng'ebanyigiriza.

Abaddeko mu kulagiriza, firimu nga ziri mu kuzannyibwa, ng'era akozeeko ne mu pulojekiti y'okusiteegi oba ebifo gyebazannyira katemba, gamba nga ''Afroman Spice'' okuva mu kibiina kya Afroman ensemble, ekibiina ky'abakyala bokka ekizannya emizannyo gy'okusiteegi oba katemba. Pulojekti eno yayanjulwa mu bantu mu Kampala mu mwezi ogw'omukaaga, mu mwaka gwa 2015, ng'era okuva olwo ku bikujuko gyebanoonyeza emizannyo oba katemba w'okulukalo lwa Afrika akatale ''The Market for African Performing Arts'' (MASA) imu ggwanga lya Ivory Coast, nebakyekwata okulagibwa mu ggwanga ly'e Rwanda, Tunisia ne Niger mu mwaka gwa 2016.

Ng'omusomesa, ayambyeko okutendeka mungeri ez'enjawulo, mu pulojekti z'okusiiga ebifannanyi, n'okwagala okulala okw'okufuna obumannyirivu wamu n'okugabana kiki ky'amannyi n'abantu abalala mu bitundu eby'enjawulo, kyekimu kubimuvuga mu mulimu gwe n'okukolagana n'abantu okuva gy'atambulira mu bulamu. Obumannyirivu bwe bubaddemu okulagirira abaana okuva mu masomero ag'enjawulo okwetoloola ekibuga kya Kampala.

Firimu[kyusa | edit source]

Esteri yafuna akakisa akasooka mu kuzannya firimu eyali ennyimpi ku pulogulaamu emu eyali eyitibwa Maisha Film Lab, eyali esinziira mu Uganda, ekibiina ekyatandikibwawo omuwanguzi w'engule Mira Nair, okulaba ng'abakozi ba firimu mu buvanjuba bwa Afrika ne mu bukiika kkono bwa Asia balabika oba nga balabibwa. Yazannya mu firimu ya Judith Adong eyali eyitibwa, ebibi by'abazadde, oba ''Sins of the Parents'' mu mwaka gwa 2008, wamu ne ''Master on Duty'' mu mwaka gwa 2009 eyali eya Joseph Ken Ssebaggala. Firimu ye gye yakolako neefulumizibwa kampuni ya fiirimu eyitibwa Walt Disney Pictures, Queen of Katwe, eyalimu omuwanguzi w'engulu y'omuzannyii omukyala eyali akira ku bane Lupita Nyong’o ne David Oyelowo.[3][4] Ng'ayogera ku firimu eno, Esteri yalaga ebimu ku by'afunye mu ''Queen of Katwe'' ebisobodde n'okukyusa obulamu bwe:

"Nga firimu tenaba, nali ntidde olw'ebirooto byange kubanga byali binene nnyo.Naye kati ntidde nnyo, kuba binene nyo."[5]

Mira Nair, omu kubensinga okwenyumiririzaamu ng'abansikiriza okuyingira mu kisaawe kino eky'okuzannya firimu, mu byebasemba okuwandiika yamunyonyolako ng'omuntu awa ekitangaala."[6] N'anokolayo ebimu ku Mira Nair byeyayogera ebisinga okumannyikwa nga bigyayo amazimba oba eteeka kuneeyisa:

"Singa tetubuulira engero zitukwatako, tewali alikikola."

Kunkomerero eyo,alina obumalirivu bw'okulaba ng'akulalakulanya engero okuva munsi gyebamuzaala, eya Uganda ne kusemazinga wa Afrika, ng'endagiriro erina omulamwa ku bikwatagana byabwe, wabula nga byagalwa munsi yonna. Alina okunoonyereza kwokulaba obusobozi bw'okulakulanya ebikolebwa mu Ugandan, nga bikwatagana n'ebyabo abayiiya okuva mu buvanjubwa bwa Afrika n'okweyongerayo.

Esteri abadde ne firimu zze ng'omuzannyi, era ng'alagirira nga zizzanyibwa nga wekiragibwa mu bikujuko eby'enjawulo ng'eky'ensi yonna ekyali mu Toronto'', ''BFI London Film Festival'', ''Luxor African Film Festival'', ''Raindance Film Festival'', ''Uganda Film Festival'', eky'ensi yonna ekyali mu kibuga Durban, n'ekya Africa International Film Festival.

Esteri yali omu ttiimu ezaawangula olw'okuwangula obutaambi obwali obw'obutundu ku mikutu gya yintaneeti obwali bukulakulanyizibwa okukwatagana n'abayizi ba firimu okuva mu mawanga nga Uganda, Kenya, Ghana ne Girimaani. Pulojekiti eno baagikwatira mu kibuga Accra, mu ggwanga lya Ghana, ng'esaawa eno eri mukukolebwako. Akagoye akatono akadugavu'', oba Little Black Dress, yefirimu ye ennyimpi gyeyasooka okulagirira, ng'eno baagikwatira mu kibuga Nairobi, eky'e Kenya mu mwezi ogw'okuna mu mwaka gwa 2019. Firimu eno yayanjulwa mu lujudde mu mpaka ezaaliwo mu mutendera gw'omwaka gwa 2019 mu bikujuko by'ensi yonna ebyali ku semazinga wa Afrika, mu kibuga Lagos, mu ggwanga lya Nigeria, ne mu mpaka za ''Luxor African Film Festival'' ez'okwolesezaako firimu.

Ng'akuba obufannanyi ne budole oba katuuni, Esteri alina esuubi ly'okulaga ensi ki ki kyekitegeeza okubeera munayuganda hopes to show the world what it means to be Ugandan mu biseera ebimu.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Esteri abadde mufumbo okuva mu mwaka gwa 2011 eri Samuel Tebandeke, omunayuganda akola firimu. Ensangi zino abeera mu Kampala, ekibuga kya Uganda.

By'ayoleseza[kyusa | edit source]

Firimu[kyusa | edit source]

Omwaka Erinya Yazannya nga Omuwandiisi Eyagifulumya Eyagiragirira oba omuteesiteesi Ebigikwatako
2008 Sins of the Parents Sister Adong Judith Adong Judith Adong Judith Firimu nnyiimpi
2009 Master on Duty Vicky Joseph Kenneth Ssebaggala Joseph Kenneth Ssebaggala Joseph Kenneth Ssebaggala Firimu mpaanvu
2016 Queen of Katwe Sara Katende William Wheeler Lydia Dean Pilcher & John Carls Mira Nair Firimu mpaanvu
2016 Her Broken Shadow Adongo and Apio Dilman Dila Dilman Dila Dilman Dila Firimu mpaanvu
2019 Imperial Blue (film) Kisakye Dan Moss & David Cecil David Cecil Dan Moss Firimu mpaanvu
2019 Little Black Dress Dee Esteri Tebandeke Esteri Tebandeke & Samuel Tebandeke Esteri Tebandeke Firimu nnyimpi
2019 Family Tree Margaret Nicole Magabo Sean Kagugube Nicole Magabo Firimu nnyiimpi
TBC Downhill Catherine Bagaya Solaire Munyana & Emma Kakai Esteri Tebandeke Firimu nnyiimpi
TBC Kahawa Black Kana Wamba Samuel Tebandeke & Esteri Tebandeke Samuel Tebandeke, Esteri Tebandeke & Juliana Kabua Esteri Tebandeke Eri mukukolebwako
TBC Conversations With My Mother Arit Samuel Tebandeke Samuel Tebandeke, Esteri Tebandeke & Juliana Kabua Samuel Tebandeke Eri mukukolebwako

Egy'okusiteegi[kyusa | edit source]

Omwaka Erinya lyayo Yazannya nga Ebigikwatako
2011 Lion and the Jewel Sidi
2012 Cooking Oil Maria
2012 Maria Kizito Multiple characters [1]
2013 Cooking Oil Maria
2014 Maria Kizito Maria Kizito
2015 The Body of a Woman as a Battlefield in the Bosnian War Kate
2016 Conversations With My Mother Multiple characters
  1. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.theeastafrican.co.ke/magazine/The-lion--the-jewel-and-the-political-undertones/434746-1218576-nbo61uz/index.html
  2. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.theeastafrican.co.ke/magazine/Playwright-network-is-finally-back/434746-2411778-14tt9jiz/index.html
  3. {{cite news}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20161010125114/http://www.theinsider.ug/queen-of-katwe-ugandan-premiere-set-for-october-1/#.WAHvKaNh3eR
  4. {{cite news}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20161019000838/https://www.yahoo.com/music/queen-katwe-esther-tebandeke-working-224100032.html
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20161018092401/http://www.observer.ug/lifestyle/42-entertainment/47000-esteri-tebandeke-queen-of-katwe-changed-my-life
  6. {{cite news}}: Empty citation (help)http://www.news24.com/SouthAfrica/News/sa-film-location-irks-ugandans-20161008