Evelyn Acham

Bisangiddwa ku Wikipedia

Evelyn Acham (yazaalibwa awo nga mu 1991) mulwanirizi wa butonde okuva mu Uganda era munayuganda akwanaganya ekitongole ekya Rise Up Movement, ekyatandikibwawo mukwano gwe Vanessa Nakate.

Acham yazaalibwa mu mwaka gwa 1991. Y'omu ku ba +Tree Project, ng'ekigendererwa kye kya kusimba emiti 9,000,000. Nga 26 Ogwokutaano, 2020, Acham yali omu ku bateesa mu kibiina ekya ActionAid ne Women's Agenda's webinar series Women Leading Climate Action series, ekyalina emboozi ey'oku mutimbagano ku ngeri abakazi gye baalwanyisaamu embeera y'obudde ekyuuka mu kiseera ekya COVID-19. Era yafulumya wamu ne Inge Relph - omukulembeze w'ekitongole kya Global Choices - ne Emma Wilkin - omukuŋŋaanya wa Global Choices Tian Arctic Angels - ku 2020 Model United Nations (MUN) Impact Global Summit. Mu 2021, yeetabaa mu lukungaana olw'ekibiina ky'amawanga amagatte olwa 2021 United Nations Climate Change Conference era n'akiikirira Friday for Future Most Affected People and Areas (MAPA). Fridays for Future MAPA y'emu ku bibiina ebirwanirira embeera y'obudde ebyazimbibwa oluvannyuma lw'abalwanirizi b'obudde okusaawo okwekalakaasa okwa Greta Thunberg mu 2018.[1] Acham era yayogerwako mu mboozi ya The New York Times eya 2021 Climate Hub eyitibwa "Passing the Torch: Intergenerational Climate Dialogues" wamu ne Jerome Foster II, Aya Chebbi, Mary Robinson.

Ebirala Acham by'akola mulimu Youth for Future Africa ne Global Choices' action network "Arctic Angels".

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]