Jump to content

Felix Kulaygye

Bisangiddwa ku Wikipedia

Felix Kulayigye munnamajje ku ddaala erya Brigadier General mu jje lya Uganda People's Defence Force (UPDF). Ono era ye mwogezi w'ejje lino okuva nga 4 Ogwokubiri 2022 era nga gwe mulundi gwe ogw’okubiri okubeera mu buvunaanyizibwa buno era nga omulundi ogwasooka gwaliwo wakati wa 2005 ne 2013.

Ebyafaayo bye

[kyusa | edit source]

Kulayigye yazaalibwa mu mwaka 1964. Kitaawe ye Fredrick Semichacha ne nnyina Regina Abagirinka ku kyalo Gayaza, mu Disitulikiti y'e Masaka . Famire eno yasenguka okuva mu Disitulikiti y’e Kisoro, era n'esenga mu Disitulikiti y’e Bukomansimbi obudde buno . Ye mwana asembayo mu maka ku baana omwenda. Maama we yafa amangu ddala nga Kulayigye amaze okuzaalibwa era yakulira mu kifo ekirabirira bamulekwa e Rutshuru mu Disitulikiti y’e Kisoro.

Emisomo

[kyusa | edit source]

Kulayigye yasomera mu masomero ga pulayimale agawerako kyokka nga P7 yajimalira ku ssomero lya St. Herman Nkoni Boys’ Primary School e Masaka. Eno gyeyava okugenda ku Kabalega Secondary School n’asomerayo okutuuka lweyamaliriza siniya eyokuna nagenda ku Kololo High School gyeyamalira siniya ey'omukaaga. Oluvannyuma, yayingira Makerere University, okusoma obusomesa era natikkirwa diguli ya Bachelor of Arts in Education, mu 1989. Oluvannyuma yaddayo ku yuinivasite yeemu okusoma diguli ey'okubiri mu kuteekateekera ebyenfuna eya Master of Arts mu Economic Policy and Planning.

Obuweereza mu maje

[kyusa | edit source]

Kulayigye yeggata ku maje ga Uganda mu 1989, oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo gye egya diguli esooka ku yunivasite. Yeetaba butereevu mu kulwanagana okwali mu mambuka ga Uganda nga UPDF erwanagana nabayeekera aba Lord's Resistance Army abaaduumirwanga Joseph Kony era nga eno yali omu ku baduumizi bakabinja kabajaasi akatonotono mu lungereza akayitibwa platoon. Oluvannyuma okuva mu mwaka 2005 okutuuka mu 2013, yeyali omwogezi wa UPDF. [1] Kulayigye era yaliko akwanaganya ensonga z'ebyobufuzi mu maje mu lungereza ayitibwa Chief Political Commissar. Mu 2016, yalondebwa okubeera omubaka wa Palamenti ng’akiikirira UPDF mu Palamenti ey’ekkumi (2016 okutuuka 2021).[2] Ono y'omu era yaliko mu kiwayi kyamaje ekikuuma Pulezidenti ekyayitibwanga Presidential Protection Unit nga leero kiri wansi wa Special Forces Command mu UPDF.

Mu Gwokubiri gwa 2019, yakuzibwa okuva ku ddaala lya colonel n’adda ku brigadier, mu ntekateeka eyalimu okukuza banamaje eb'enjawulo nga bonna omugatte baasoba mu 2,000. [3]

Mu Gwokubiri 2022 omuduumizi w’amaje ow'okuntikko General Yoweri Museveni . , yaddamu okulonda Brigadier General Felix Kulayigye okwogerera ejje lya Ugana erya UPDF era nga yasikira Brigadier Flavia Byekwaso, eyasindikibwa ku misomo mu ttendekero lyamaje erya National Defence College, Njeru mu Disitulikiti y’e Buikwe . [4]

Ebirala ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Felix Kulayigye musajja mufumbo era nga mukyala we ye Justine Bagonza era balina abaana basatu ab’obuwala n’abobulenzi babiri. [5] [6]

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/An-army-spokesman-who-has-stood-tall-in-his-job/-/691232/1742014/-/wtfl79/-/index.html
  2. https://www-monitor-co-ug.webpkgcache.com/doc/-/s/www.monitor.co.ug/uganda/news/national/who-are-new-updf-mps--1642582
  3. https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-promotes-Muhoozi-Kainerugaba-Lieutenant-General/688334-4972994-mqpx8tz/index.html
  4. http://nilepost.co.ug/2022/02/04/brig-kulayigye-appointed-new-updf-spokesperson/
  5. http://allafrica.com/stories/201607080631.html
  6. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1301299/sickness-earned-kulayigye-wife